Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

KCCA yeddizza paaka

Ab’ekitongole kya Kampala Capital City Authority olwaleero mu butongole beddizza entambula ya Taxi mu kibuga Abasirikale b’ekitongole kino balabiddwaako ku miryango gya paaka enya okuli enkadde n’empya, eya USAFI ne mu Kisenyi. Bano babadde bambadde yunifoomu za KCCA era nga babadde ne ku siteegi ezitali zimu. Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agamba nti basanyukidde ekya ba Taxi…

Read More

TV agivuubise mu sikaati

Abantu abalimu obubbi tebalemererwa. Mu ggwanga lya Costa Rica , waliwo omukyala akwatiddwa ku katambi ng’avubiika TV mu sikaati. Omukyala ono abadde agenze mu dduka ly’ebyamasanyalaze asoose kwebuzabuuza ng’agula era ageze tebamulaba n’asitula TV n’agikuba mu sikaati. Omukyala ono amaze okukwatibwa kyokka ng’agaanye okunyonyola abapoliisi engeri gyeyakozeemu ekintu kino.

Read More

Asamoah Mulwadde

Omutendesi wa Ghana Asamoah Gyan yandisubwa omupiira gwaabwe ogusoose olw’omusujja ogumuluma Ekibiina kya Ghana eky’omupiira gw’ebigere kitegeezezza nti omukulu ono yatwalibwa mu ddwlairo ku lw’omukaaga kyokka n’asiibulwa ku ssande nga kati balinze kulaba oba anabeera n’amaanyi. Yye omutendesi wa Ghana Alain Giresse kati alina okusalawo  oba Sadio Mane asamba oluvanyuma lw’okufuna obuvune. Ghana egenda kukwata Senegal ku ssaawa…

Read More

Aba Bokoharam babasinzizza amaanyi

Abantu 20 ku abo ekinaana abawambibwa bamukwatammundu ba Bokoharam mu Cameroun bayimbuddwa Minisita wa Cameroun akola ku nsonga z’eby’okwerinda ategeezezza nti abawambibwa bayimbuddwa amaggye bwegatandise okulumba enkambi yaabwe nga kati batandise okudduka okuddayo mu Nigeria. Abasinga ku bawambibwa baana bato. Bano beebantu abakasinga okubeera abangi okuwambibwa aba BokoHaram wabweru wa Nigeria.

Read More

Abawolereza Ongwen beeyongedde

Bannamateeka abasoba mu 30 beebakasaba gavumenti okuwolereza eyali omuduumizi wa LRA Dominic Ongwen mu kkooti y’ensi yonna. Minisita omubeezi akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Henry Oryem ategeezezza bannamawulire nti bannamateeka ba bawandiikidde ssabwolereza wa gavumenti Oryemu agamba nti Ongwen wakukkirizibwa okubeera nebannamateeka okusobola okwewozaako. Ono mukakafu nti bakukolagana bulungi ne kkkooti y’ensi yonna okusindika abajulizi mu kkooti eno…

Read More

Munnamawulire eyakubwa yandisiibulwa enkya

Munnamawulire eyakubwa omu poliisi bweyali ali ku gigye yandisibuulwa olunaku lw’enkya. Andrew Lwanga tumulambuddeko olwaleero n’atutegeeza nti kati ajja atereera yadde ng’amagulu ggo gakyesibye olw’okusanyalala. Lwanga agamba nti asuubira olunaku lw’enkya okuweebwa olukalala okuli ensimbi ezimubanjibwa luweebwe poliisi esasule nga bweyasuubiza Lwanga yakubwa wamu n’owa Bukedde Joseph Ssettimba bwebaali bakola amawulire g’abavubuka abaali beekalakaasa .

Read More

Babasenze ku kibira

Poliisi mu disitulikiti ye Mukono ekutte abantu 112 abaali besenze ku kibira kye Namanve mu bukyaamu Abantu bano ng’abasinga bazirwanako , bamulekwa ne bannamwandu b’abazirwanako babadde batandise okulimira ku kibira nga bagamba nti nabo balina okuganyulwa mu kununula eggwanga. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti ekibinja kino kibadde n’ebiso, enkumbi n’ebirala ebikozesa mu kulima Ono…

Read More

yekyaaye neyetuga

Ebadde ntiisa eri abatuuze be Kyabi e Lugusulu Sembabule, omusajja ow’emyaka 33 bw’asangiddwa ku muti ng’alebeeta. Omulambo gwa Hassan Majwiga  gusangiddwa mu nimiro y’omu ku batuuze John Bbaale . Muganda w’omugenzi Boniface Bwowe agambye nti omugenzi yababulako olw’okusatu oluwedde era babadde bamunoonya okuva olwo. Bwowe agamba nti kibaweddeko bwebafunye amawulire nti ono abadde yetugira mu nsiko Omwogezi wa poliisi…

Read More

Okugema poliyo kufundikiddwa

Okugema kw’ekikungo okw’obulwadde bwa poliyo kukomekerezeddwa olunaku lwaleero. Okugema kuno okukoleddwa nju ku nju kwatandika wiiki ewedde ku lw'omukaaga era ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna kyekitaddemu obuwumbi obusoba mu 14 Abaana abali wansi w’emyaka 5 bebagemeddwa mu nteekateeka eno. Omwogezi wa minisitule y’eby’obulamu  Rukia Nakamatte agamba ebibinja b’ebyobulamu byakusindikibwa mu maka g’abazadde abaana baabwe abatanagemebwa era bakakafu nti…

Read More