Minisitule y’ekikula ky’abantu eteeredwa ku ninga olw’obutakola kimala kulwanyisa kisaddaaka baana mu ggwanga.
Akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’ekikula ky’abantu akakola ku kwemulugunya kw’abantu ab’enjawulo kategezezza nga minisitule bw’etudde obutuuzi nga abaana b’eggwanga bongera okussaddaakibwa awatali mateeka gakugira kivve kino.
Ssentebe w’akakiiko kano Margret Komuhangi mwenyamivu olwa minisitule eno obutakola kimala ku nteekateeka z’okulwanyisa ekivve kino…
Okuwulira omusango gw’omuserikale wa poliisi avunanibwa okutulugunya bannamawulire kwongezeddwayo okutuusa nga February 4th.
Joram Mwesigye nga y’aduumira poliisi ya Old Kampala amakya galeero alabiseeko maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Sanyu Mukasa wabula munnamateeka wa gavumenti Lilian Omara n’ategeeza kkooti nga omujulizi omukulu bw’akayaali mu ddwaliro ly’e Nsambya gy’akyajanjabibwa.
Mwesigye agambibwa okukkakkana ku munnamawulire Andrew Lwanga…
Amasomero g’obwa nnanyini gakyagenda mu maaso n’okukola obulungi okusinga aga gavumenti yadde nga aga gavumenti gatuuza abayizi bangi
Ku baana abatuula , abayizi okuva mu masomero g’obwannanyini abasoba mu 35,400 pupils beebayitidde mu ddaala erisooka okuva ku bayizi ba gavumenti 25,500 abavudde mu masomero ga gavumenti
Mu ngeri yeemu era abayizi 6500 bokka beebagudde okuva mu masomero…
Mu ggwanga lya China,omukyala akutte bba ng’ayenda amusazeeko obusajja n’amuleka ng’ataawa
Omukyala ono nno tasaaga kubanga yadde omusajja ono bafubye okumutaasa, amulumbye ne mu ddwaliro n’agezaako okubusalako ogw’okubiri
Omukyala ono okutabuka agudde ku bubaka, bba bw’abadde yeweereza ne muganzi we .
Omukyala ono okukola kino akozesezza makansi era nga n’ogw’okubiri bw’akasazeeko akakasuse okuyita mu dirisa embwa n’ekalya
Company ya Planet Fitness Club e’Naalya ewadde team yegwanga eyomuzannyo gwokubaka eya She Cranes ebikozesebwa okuli Amazzi,ebibala wamu ne Gym ebigenda okubayambako mukutendekebwa nga betegekera empaka zekikopo kya world cup ya Netball mu gwanga lya Australia omwaka guno.
Akulira kkampuni eno Martin Juuko ategezezza nga kino bwebakikoze okuyambako team yabakyaala eno okukuuma emibiri gyaabwe nga miramu…
Minisitule y’ebyobulamu yakutandika ku lw’omukaaga okugema abaana obulwadde bwa poliyo okwetoola eggwanga lyonna.
Minisita w’ebyobujjanjabi ebisookerwaako Sarah Opendi agamba nti kawefube asakiriddwa ekibiina ky’ebyobulamu eky’ensi yonna wakuwemmenta obuwumbi obusukka mu 14
Agamba nti bagenda kubeera n’okugema mu disitulikiti eziwerera ddala 41 n’ezo eziri ku nsalo kubanga abazirimu bali mu bulabe bw’okufuna obulwadde buno.
Kawefube ono agenda okutandika ku…
Minisitule ekola ku kikula ly’abantu egamba nti etandise kawefube w’okuwera abasawo b’ekinnansi nga abe Tanzania bwebakoze
Akakiiko ka palamenti akakola ku nsonag z’ekikula ky’abantu egamba nti kino kyekyokka ekijja okuyambako okukendeeza omuze gw’okusaddaaka abaana
Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku kikula ky’abantu, minisita Rukia Nakadama asabye ababaka okubawagira mu kulwanyisa abasawuzi abavaako okutta abaana.
Ono wabula agamba…
Aba bodaboda abasoba 30 abayooleddwa mu kikwekweto ku bamenya amateeka olwaleero bavunaaniddwa mu kkooti ya Buganda road.
Aba bodabobda bano bagguddwaako gwakuvuga piki ezitaliiko yinsuwa are nga tebalina pamiti, n’okuvugisa ekimama.
Balabikidde mu bibinja bisatu mu maaso g’abalamuzi okuli Joan Aciro, Sanyu Mukasa ne Pamela Lamunu Ocaya.
Abasinga ku bano bakkirizza emisango nebasalirwa okuwa engassi wa wakati w’emitwalo…
Omupoliisi eyakuba munnamawulire emiggo yeyimiriddwa oluvanyuma lw’okulabikako mu kkooti ya Buganda road olunaku lwaleero.
Jorum Mwesigye agguddwaako misango gyakulumya Muntu, okumutusaako ebisango n’okwonoona ebintu.
Kigambibwa nti emisango gino yagizza nga 12 omwezi guno bweyali mu maaso g’ebbaala ya Florina esangibwa ku luguudo lwe Namirembe.
Avunaniddwa kukuba munnamawulire Andrew Lwanga n’okwonoona camera 2 okuli eya Lwange ne Joseph Sematimba…
Omusajja ow’emyaka 50 eyatuula ne muwala we ow’emyaka 13 ebigezo e Mayuge amuwangudde ng’ayitidde mu ddaala lisooka
Awali Tezikuba nga mutuuze ku kyaalo bufulubi afunye obubonero 11 ate muwala we Janat Mukisa ayitidde mu ddala lya kubiri n’obubonero 20.
Tumusanze mu maka ge ng’ali mu kuddabiriza nju ye ate nga muwala we abadde awaata lumonde wa kyamisana
Bano…