Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Okwebaka kikulu

Ekimu ku bisinga okuyamba abaana okukwata byebasoma kwekwebaka. Okunonyereza okukoleddwa ku baana 216 kulaze nti abaana abeebaka bakwata mangu ate tebeerabirarabira Abakoze okunonyereza kuno bavudde mu America ng’era bawadde abazadde amagezi okufissaawo akadde basomere abaana baabwe emboozi nga bagenda okwebaka. Bano bagambye nti okwebaka kikulu nnyo eri abaana abato ate okusinga abakulu.

Read More

Gula Coke w’erinnya lyo

Okimanyi nti kati osobola okunywa soda wa cocacola ng’aliko erinnya lyo Aba kkampuni ya century bottling company abasobola soda wa Coke baleese akapya nga kati osobola okufuna soda ng’aliko erinnya lyo ate ku bbeeyi yeemu. Amannya gano balonze kw’ago agasinga okutuumibwa ag’olungereza n’ekinnansi. Ng’atongozeza kawefube ono agenda okubumbujjira emyezi ena, omukungu mu kkampuni eno Brandon ssemanda agambye nti…

Read More

Bannamateeka batabuse ku ssabalamuzi

Ekibiina ekigatta bannameteeka ekyaUganda Law Society kirangiridde nga bwekitagenda kwetaba mu mikolo gyakuggulawo mwaka gwa mateeka omuggya Bano beemulugunya ku kubulawo kwa ssabalamuzi omujjuvu. Akulira bannamateeka bano Ruth Sebatindira atandise okukunga bannamateeka bonna obutetantala kwetaba ku mikolo okulaga nti ssi basanyufu ne kya pulezidenti Museveni okulwaawo okulonda ssabalamuzi. Omukono guno ogugenda okubaawo ku lw’okutaano gwakukulemberwaamu akola ng’amyuka ssabalamuzi…

Read More

Aba poliisi bakyalidde munnamawulire

Abakulembeze ba poliisi bakyaliddeko munnamawulire wa WBS eyakubiddwa Andrew Lwanga. Lwanga yakubiddwa akulira poliisi ya kampala mukadde Joram Mwesigye bweyabadde akola egyabulijjo egy’okuwereeza abantu. Abapoliisi abakyaalidde Lwanga bakulembeddwaamu omwogezi wa poliisi Fred Enanga ne banne okuli akola ku mbeera zaabwe n’omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango. Embeera ya Lwanga tennatereera ng’akyaali munafu ddala. Bbo ab’ebibiina ebirwanirira eddembe…

Read More

Abasawo b’ekinnansi bawerebwe

Akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’ekikula ky’abantu kagaala wabeewo emmeeza eyetongodde okukola ku nsonga z’abaana abasaddakiibwa Ababaka bano bagamba nti emisango gy’okusaddaaka abaana gyaddala kale nga wandibaddewo okuyimukiramu okulaba nti kyonna ekisoboka kikolebwa okubikendeezako Ng’ayogerako eri bannamawulire, akulira akakiiko kano Margret Kyomuhangi era agamba nti abasawo b;ekinnansi basaanye okuwerebwa kuanga beebakulembeddemu okutuma abantu okusaddaaka abaana Ono era…

Read More

Omupoliisi asibiddwa gw akirereesi

Waliwo omupoliisi ekwatiddwa ogwa kirereesi era n’asindikibwa e Luzira. John Wapokira  alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda road Pamela Ocaya amusindise e Luzira. Omupoliisi ono bamusanga atambula fa ku luguudo lwa Colville mu kibuga n’akwatibwa ba poliisi nanne Asindikiddwa e Luzira nga wakudda mu kkooti nga 27 omwezi guno okuwulira omusango gwe kutandike

Read More

Eyatunda kalittunsi wa gavumenti asibiddwa emyaka 2

Eyali akulira ekitongole ky’ebibira mu ggwanga Damien Akankwasa asibiddwa emyaka ebiri lwakuvvoola ofiisi ye Omulamuzi wa kkooti ekola ku gy’obukenuzi Sussane Okeny y’asibye Akankwasa ng’agamba nti afunye obujulizi bwonna obukakasa nti Akankwasa yadda ku miti gya kalittunsi egiwera omutwaalo mulamba n’agitunda nga buli gumu gugula emitwalo 2. Kkooti era ekizudde nti Akankwasa yagaana okuwuliriza atwala eby’okusimba emiti…

Read More

Ongwen egeda mu kkooti y’ensi yonna- Museveni

Omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Museveni  ategezezza nga omuyeekera  Ongwen eyewaddeyo bw’alina okusindikibwa mu kkooti y’ensi yonna avunanibwe . Minisita w’ensonga z’amawanga g’ebweru  Okello Oryem ategezezza nga pulezidenti Museveni bw’ayagala Ongwen amateeka gamulamule ku misango gyeyazza wano mu Uganda, e Congo ne mu Central African Republic. Ategezezza nti yadde nga Uganda erina obusobozi bw’okuwozesa Ongwen, emisango gyeyazza gyali gisukka…

Read More

Kyambogo etikkidde- bafunye ensimbi endala

Gavumenti ewaddeyo ewaddeyo obuwumbi 75 eri yunivaisite ye Kyambogo okuddabiriza amaterekero g’ebitabo,awagezesebwa ebisomesebwa ssaako n’ebifo ewasiigibwa ebifananyi. Kino kyasanguziddwa minisita w’ebyenjigiriza Jesica Alupo ku mattikira g’ettendekero lino ag’omulundi ogwokuminogumu. Alupo ategezezza nga omukulembeze w’eggwanga bw’agenda okutongoza okuddabiriza kuno mu myaka 3. Alupo era atenderezza nyo obukulembeze bw’ettendekero lino yadde nga bafunye okusoomozebwa okwamanyi omwaka oguwedde. Olunaku olwaleero okuva mu…

Read More

Bannamawulire batabuse

Bannamawulire ku palamenti  batabukidde akulira ekibiina ekibataba mu ggwanga Robert Kagolo nebamulemesa okwogerako gyebali ku bya poliisi okukuba bannamawulire. Bannamawulire balumiriza Kagolo okusinziira  ku TV emu n’ategeeza nga ekibiina bwekijja okuyamba bannamawulire bokka abali wansi w’ekibiina kino. Wabula Kagolo bino byonna abyegaana . Bino okubaawo nga bannamawulire kyebajje basibire poliisi ekikookolo olwokutulugunya bannamawulire okutuusa nga ssabapoliisi w’eggwanga atunudde…

Read More