Emirimu ku kkooti ye Nakawa gikyatambula kasoobo yadde nga babadizza amazzi gebaali baabasalako.
Olunaku olw’eggulo emirimu gyazingamye oluvanyuma lw’akulira abalamuzi ku kkooti eno Lilian Nahamya okwongezaayo emisango gyonna okutuusa nga babadizza amazzi oluvanyuma lw’okumala wiiki 3 nga teri yadde ettondo ly’otuzzi.
Olunaku olwaleero abakozi okuva mu kitongole ky’amazzi n’emidumu gyakazambi bakedde ku ssaawa nga 12 ez’okumakya nebazzaako…
Mu ggwanga lya China , waliwo omukyala asazeewo okussa sitoovu mu mmotoka ye ng’ayita nayo olw’obutiti obususse
Omukyala ono agambye nti kino kijja na kumuyamba okwefumbira ku mmere obutafa njala
Sitoovu eno essiddwa mu mutto gw’emabefa ng’erina omudumu ogufulumya ekikka okuyita mu luggi lw’emotoka.
Kkooti ya Cityhall etaddewo olunaku lwa nga 22 omwezi guno okusalawo oba abasomesa ku ssomero lya Acorn International School Bukoto bewozaako.
Abasomesa abogerwaako beebali ku ssomero nga bebi ow’emyaka ebiri n’ekitundu ebbira.
Oludda oluwaabi luleese abajulizi mukaaga okubadde n’omusawo eyekebejja omulambo gw’omwana Michelle Baraza nga yakafa
Omwana ono yabbira mu mwaka gwa 2012 bweyali ku ssomero gyayali yakasomera…
Abasomesa okuva mu bibiina 48 bazize ensimbi ezabaweereddwa okwekulakulanya nga bagaala ziyite mu bibiina kyaabwe
Kiddiridde ab’ekibiina ekigatta ebibiina ebiwola ensimbi ekya gavumenti okutegeeza nga bwekyabadde kisindise ensimbi mu basomesa bano.
Ssaawandiisi w’omukago gw’abasomesa bano, James Tweheyo agamba nti minisitule y’ebyenjigiriza ebuzabuuza abantu kubanga bbo tebannakwaata yadde ku kikumi.
Tweheyo agambye nti batandise kawefube w’okutandika banka eyaabwe okwewala…
Ab’ekibiina kya DP bategeezezza nga bwebalia betegefu okuddamu okukolagana ne Alhajji Nasser Ntege Ssebaggala eyalekulidde ogw’okuwa pulezidenti Museveni amagezi.
Sebaggala yali munna DP omugundiivu kyokka n’abalekulira oluvanyuma lw’okuwangulwa mu kalulu ka 2011.
Akulira DP Nobert Mao agamba Ssebaggala asobola okuddamu okubetaggatako ssinga ava mu kibiina kye.
Sebaggala yalangiridde nga bw'ayabulidde pulezidenti Museveni kubanga tawuliriza magezi g'amuwa
Waliwo omukulembeze w’abayisiraamu omulala attiddwa mu ngeri etategerekeka
Shiek Hajji Muha Sebugwaawo attiddwa ekibinja ky’abagoba ba bodaboda bw’abadde agenze ewa Muganda we okufuna ku nsimbi okwejjanjabisa
Muganda w’omugenzi Haruna Jagwe agamba nti omugenze amukubidde ng’asaba amutaase kubanga abadde afunye obuzibu oluvanyuma lw’okufuna obutakkaanya n’owa bodaboda abadde amusaabaza.
Kigambibwa okuba ng’obuzibu buvudde ku wa bodaboda gw’akozesezza okugaana emitwaalo 3…
Eb’eddwaliro lye Mulago balumirizza abafumbo abagamba nti baacanze omwana waabwe okubeera abalimba era abeenonyeza ebyaabwe
Nga boogerako eri bannamawulire, abe Mulago bategeezezza ng’omukyala ono bweyasindikibwa abe kawaala abaali bamulemereddwa kubanga omwana yali amaze okufa.
Ono kigambibwa okuba nga bweyatuuka e Mulago yakolebwaako era nebamutegeeza nti baali bataasa bulamu bwe kubanga omwana yali yafudde dda.
Akulira eddwaliro lye Mulago,…
Waliwo ekibinja ky’abasawo nga kwogasse abalwanirira eddembe ly’obuntu abalumbye eddwaliro ekkulu e Mulago nga baagala okunyonyolwa lwaki okucaangacanga abaana mu ddwaliro lino kususse nga abazadde baweebwa n’abaana abatali baabwe.
Kino kiddiridde omwami Fred Sunday ne mukyaalawe Province Atwongire okulumiriza nga bwebaweebwamu omulambo gw’omwana omulala mu kifo ky’omwana waabwe gwebazaalira mu ddwaliro lino.
Ekibinja kino kikulembeddwamu ekibina ekilwanirira…
Abayizi abasoma obusawo nga bayambako okujanjaba mu ddwaliro ekkulu e Mulago bediimye nga kanaluzaala ava ku butasasulwa nsako yaabwe.
Bano nga basoba mu 150 bagamba nti tebanasasulwa nsako yaabwe eyakakadde akamu n’ekitundu okuva mu mwezi ogw’ekkumi omwaka oguwedde.
Abayizi bano kuliko abagaba eddagala, abalongoosa n’abajanjabi ababulijjo bagamba betaagibwa okukola essaawa ezisoba mu 12 buli lunaku kale nga…
Abakulembeze mu disitulikiti ye Paliisa balaze okutya olw’abantu abalwaala ekirwadde ky’ekibumba ekya Hepatatis B okweyongera.
Okusinga amagombolola okuli Petete, Opwateta ne Kameke gegasinze okukosebwa nga era abantu 10 bebalwala ekirwadde kino nga 3 baba bayi.
Akulira eby’obulamu mu mu disitulikiti eno Anthony Kalele agamba ekisinga okwenyamiza kwekuba nga abantu mu kifo ky’okugenda mu malwaliro bawoza babaloga nebeyunira…