Abavubuka b’ekisinde kya the Jobless youth’s bongedwayo ku alimanda e Luzira ku misango gy’okukuba enkungaana ezimenya amateeka.
Munnamateeka w’abavubuka bano Isaac Semakadde ,abadde asabye abantu be beeyimirirwe wabula omulamuzi Moses Nabende n’asaba oludda oluwaabi okuleeta abajulizi mu wiiki 1 yokka, omusango guno gufundikirwe nga kati baakudda mu kkoti nga 16 December.
Kinajukirwa nti abavubuka bano baakaalakaala ne…
Amyuka akulira kkooti ewulira emisango gy’abakenuzi , omulamzi Lawrence Gidudu ,ategezezza nga eky’okukyuusa obukyusa abalamuzi ababa balidde enguzi bwekitamala wabula basaana okukangavvulwa.
Nga ayogerera mu lukungaana lw’okulwanyisa enguzi, Gidudu ategezezza nga kino bwekijja okwewaza abalamuzi abalala okulya enguzi, ssinga bala abanaabwe nga bakangavvulwa.
Gidudu era ayagala abawandiisi ba kkooti bonna bambale yunifoomu okusobola okumalawo abefuula abakola mu…
Mu disitulikiti ye Lwengo Poliisi eri mu kunonyereza ku muyizi w’essomero ow’emyaka 10 eyeetuze nga atya bazadde be okumutta lwakudda mu kibiina.
Omwana ono abadde asoma kyakuna ku ssomero lya Bishop Ssenyonga Primary school, era nga olwategedde nti ebigezo abigudde,neyejja mu budde.
Okusinziira ku mwanyina w’omugenzi , omulenzi ono yamutegezezza nga bakaddebe bwebaabadde bagenda okumutta , era…
Maama w’omwana ow’emyaka esatu addukidde ku poliisi nga yemulugunya ku bba gw’alumiriza okwagaala okumutta
Damalie Kaija agamba nti bba enzaalwa ye buyindi amutulugunya buli lw’agaana okumuwa ssente nga yatuuse n’okutegeeza nga bw’ajja okumutta n’omwana we
Kaija aagamba nti addukidde mu bitongole ebitali bimu okuli aba FIDA, KCCA, n’aba kakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu kyokka nga tayambiddwa
Okugaba endagamuntu kwandiba nga kwatongozeddwa kyokka nga tekunnatandika mu bitundu bya kampala ebisinga
Ku miruka gyonna gyetubadde, abantu abazze okukima kaada zaabwe bagobeddwa.
Muno mwemuli ab’omuluka gwa Mengo 1 , 2 ne Kisenyi era embeera yeemu
Omu ku balina okugaba endagamuntu zino Peter Angumizamu agambye nti bategeezeddwa nti balindemu okutuuka ssabbiiti ejja
Ono azzeemu okujjukiza abantu nti omuntu yenna…
Abatuuze ku kyalo Ntonyeze mu gombolola ye Bukuya mubende bavudde mu mbeera nebasanyawo amasabo g’omusamize agawerera ddala 50 nga bamulanga kuloga bantu ku kyalo n'okuganza nga baka bassajja.
Okusinzira ku ssentebe w'egombolola y'ebukuya Haj Tanula Sulaiman ,omusamize ono abadde amanyiddwa nga Mawejje yeeyambisa eddogo okusengula Fred Ssempijjamu maka ge agali ku kyaalo kino ekya Ntonyeze olwo…
Omusajja afunye obutakkaanya ne mukyala we ow’olubuto asazeewo kumukubisa kifi kya nkoko.
Omusajja ono takomye awo n’akwata omugaati n’agunyigira ku feesi ya mukyala we
Omusajja ono agambye nti mukyala we y’amusookerezza ng’amuzuukusa mu ntulo ng’amusiiga omugaati ku mumwa era akikozesezza busungu.
Abaddusi okuva mu ggwanga lya Russia abaweza ebitundu 99 ku kikumi bakozesa ebiralagarala
Bino biri mu katambi akafulumiziddwa nga kalaga nti abaddukanya ekibiina ky’emisinde mu Russia bagulira ddala ebiragala bino nebabiwa abaddusi okusobola okuwangula emidaali
N’ekibiina ky’emisinde mu nsi yonna kirumbiddwa okusirika nga bino bigenda mu maaso
Wabula aba Russia bino babyegaanye dda.
Abantu abalina endwadde ezitawona basabiddwa obutaggwaamu ssuubi bagende mu malwaliro okufuna obudabuudibwa
Omukulu mu kibiina kya Hospice Africa Uganda, Dr. Eddie Mwebesa agamba nti obujjanjabi buno buzze buleetebwa amalwaliro agatali gamu kyokka ng’abalwadde bano abagendayo batono ddala.
Dr. Mwebesa agamba nti abalina endwadde nga mukenenya beetaga okuyambako ennyo .
Abavubuka mu kibiina kya NRM tebaggwaako byebasaba
Kati waliwo ekibinja ekivuddeyo nga kyagaala abalimi nabo bakiikirirwe mu ttabamiruka agenda okubaawo nga 15 omwezi guno.
Bano bagamba nti abalimi bakola ekitundu kinene ku bannayuganda nga balina okukikirirwa nga bweguli ku bakyala, abavubuka n’abazirwanako
Abavubuka bano bakulembeddwamu Hudison Ngotowa okuva e Bulambuli,Mark Joel Byaruhanga owe Kabalore ne Kefa mafumo owe…