Omuwendo gw’abalwadde bwa TB ogweyongedde mu disitulikiti ye Lira gutandise okweralikiriza abasawo
Ebivaayo biraga nti disitulikiti eno terina waadi zissibwaamu bantu balina kafubo kale nga kyangu okusiiga ate abatabulina.
Addukanya emirimu gy’ekibiina kya Pentecostal Assemblies of God health unit Benjamin Okwir agamba nti disitulikiti yonna terina na ambulensi etambuza bakyala bagenda kuzaala.
Wano abajapan webasinzidde nga bayita mu…
Akulira oludda oluvuganya gavumenti asiimye gavumenti olw’omulimu gw’ekoze mu kulwanyisa obulwadde bwa Ebola ne Marburg
Ng’ayogerako eri bannamawulire ku palamenti, Wafula Oguttu agambye nti minisitule yakola bulungi okwanguwa mu kuddukirira embeera ng’essaawo okukebera abantu ku kisaawe Entebbe ne ku nsalo.
Ono agamba nti Uganda efuuse eky’okuyigirako eri amawanga amalala agakyatoba n’ekirwadde kino.
Uganda omwaka guno yalumbibwa ekirwadde kya…
Mu Kenya miranga oluvanyuma lwabamukwata mundu okutta abalombe 36 mu kibuga kye Mandera.
Gyebuvuddeko oomuntu omu yatiddwa mu kibuga kyekimu.
Obulumbaganyi buno bukoleddwa abalombe nga bawumuddemu mu weema zaabwe nebabakuba amsasi agabajje mu budde.
SSabbiiti ewedde , aba Alshabaaba batta abantu abasoba mu 20 mu bulumbaganyi obwakolebwa ku baasi.
Entiisa ebuutikidde abatuuze mu gombolola ye Kitenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi oluvanyuma lwa waragi okutta omu ku batuuze.
Omugenzi ategerekese nga John Muyombya 35 omutuuze kukyalo Kasebwera
Omugenzi abadde mupakasi ku kyalo kino nga akolera abantu obulimulimu wabula nga olunaku lwajjo lwonna y’alumaze yekamirira enkagaali nga era abadde azzeyo n’amakya galeero mu bbala yeyongeremu akagiraasi wabula waragi…
Oluvanyuma lw’okumala omwezi mulamba mu kkomera e Luzira olw’oluyimba lwe olulimu obuseegu, omuyimbi Jemimah Kansiime bangi gwebamanyi nga Panadol w'abasajja awonye kaduukulu.
Omulamuzi wa kkooti ye Makindye Richard Mafabi panado w’abasajja amukirizza yeyimirirwe ku kakadde akatali kaabuliwo nga bbo 2 abamweyimiridde buli omu abadde wa bukadde 2 nazo ezitali zaabuliwo.
Kati Panadol ono alagiddwa okuddamu okweyanjula mu…
Abasuubuzi mu katale ke wakisekka bali mu kwekalakaasa nga balumiriza abakulembeze baabwe okubalyamu olukwe ku ky’okukulakulanya akatale kaabwe.
Bano balumiriza ababakulembera okukwatagana n’abagala okubatwalako akatale kaabwe.
W’owulirira bino nga bagadde amaduuka gonna nga era n’ebyentambula bisanyaladde ku luguudo lw’e kyaggwe.
Yyo poliisi nga ekulembeddwamu John Ruhweza yatuuse dda okwewala effujjo lyonna.
Mungeri yeemu yye omwogezi w’abasuubuzi bano Simon Peter…
Ekisaganda eky’endaga Muntu ezisoose okukubwaawo kyakugabibwa olunaku lw’enkya
Pulezidenti Museveni y’agenda okugaba endaga Muntu zino.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga, abagenda okusooka okufuna endagamuntu beebo abeewandiisiza mu kibuga
Amyuka omwogezi wa minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga Benjamin Katana buli kimu kiwedde nga kaadi zakukimibwa ku miruka abantu gyebewandiisiza.
Edda abaana nga balwaawo okutandika eby’ekikulu.
Ssi bweguli ennaku zino , mu ggwanga lya America, omwana ow’emyaka ena awandiise ebbaluwa ng’asuuta akawala bwebasoma era eno erese bangi nga bawunikiridde.
Maama w’omwana ono Jennifer skinner, y’assizza ebbaluwa eno ku mukutu gwa yintaneti mu kwewunya kyokka wetwogerera ng’ekutte bangi omubabiro
Mu bbaluwa eno, akaana kano katenderezza kaako okuba akalungi okukira…
Waliwo ka pajama k’abasajja akakoleddwa nga kano omusajja bw’akambala taggwaamu maanyi ga kisajja
Abakoze akawale kano beeba kkampuni ya Belly Armor esangibwa mu Manhattan Newyork.
Ka pajama kano era kayamba abasajja abateeka amasimu mu mpale obutakosebwa masanyalaze gavaamu
Ka pajama kano kagula doola 49 nga mu za wano gye mitwalo 132,300.
Gavumenti y’eggwanga lya South Africa egobye okusaba mu mateeka okukoleddwa muk’omugenzi Nelson Mandela nga ye Winnie Mandela okwezza amaka ga bba ag’omukyaalo
Mu mpappula z’atadde mu kkooti , Madikizela Mandela agamba nti enyumba eno omugenzi yali yagissa mu mannya ge.
Enyumba eyogerwaako ebalirirwaamu obukadde bwa doola 4 mu emitwalo 30.
Madikizela Mandela namwandu ow’okusatu yali yayawukana ne bba…