Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Eyawamba abaana atuyaana

Omukazi avunaanibwa okuwamba abaana b’eyali muganzi we asabye kkooti emuwewulire ku kibonerezo ky’egenda okumusalira. Jamilah Nabatanzi  ow’emyaka 21 y’alajanidde omulamuzi wa kkooti ya Mwanga  Morris Ezra Obura oluvanyuma lw’okukkiriza omusango guno. Oludda oluwaabi lurumiriza nga  Nabatanzi  bweyawamba abaana 3 nga 17 November omwaka guno okuva ku ssomero lya  City Parents School n’abakukulira e  Ndejje. Wabula Nabatanzi agamba yakola…

Read More

Omusajja asse mukyala we

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo  Nabaiza  e Kyengera oluvanyuma lw’omusajja okugwa mukyaalawe mu bulago n’amutuga n’agezaako n’okutta omwana waabwe atemera mu myezi nga 2 naye gw’abadde ayimbyemu akagwa. Kabongo nga mukongo y’atuze mukyala we oluvanyuma lwa landiloodi okubalagira okwamuka ennyumba ye mu kiro ekikeesezza olwaleero lwabutasasula . Oluvanyuma Kabongo ono naye yeyimbyemu ogwakabugu yetuge wabula omugwa negukutuka…

Read More

Ttiyagaasi ku ssaawa ya kwiini

Poliisi ekubye omukka ogubalala mu bagoba ba taxi ababadde baggye emmotoka zaabwe okuva mu paaka ya USAFI okuzizza ku siteegi ya Kisansa. Abakoseddwa bebakwata olw’eMuyenga ne Kabalagala abakedde okuggya emmotoka zaabwe mu USAFI nga bekwaasa  balabidde ku banaabwe abe Gaba nabo abazzeeyo mu paaka yaabwe Mu ngeri yeemu, ba dereeva bano bagamba nti tebakola ssente mu USAFI…

Read More

Poliisi etabuse ku bakozi,

Poliisi egenda kutandika okwetegereza kkampuni zonna ezigaba abakozi b’awaka Bino biddiridde akatambi k’omukozi we waka eyalabiddwaako ng’atulugunya omwana n’atuuka n’okumutambulira ku mugongo Jolly Tumuhirwe eyasoose okukaka omwana okulya yamukasuse wansi olwo n’atandika okumukubisa tooki nga tannamuwalampa ku mugongo kumulinnyako, ekikola ekyalese buli omu ng’asanyaladde. Akulira ekitongole ekinonyereza ku misango Grace Akullo agamba nti bakuyita mu kitongole kyaabwe ekikola…

Read More

bano hockey bamuzannye bali buswa

Kati bw’oba olowooza nti abatalina nsonyi baweddeyo, ate n’owulira bino. Mu kitundu kya Nottingham mu Bungereza, tiimu nnamba ey’omuzannyo gwa Hockey eyingidde mu kisaawe ng’ri bukunya Eno era ekwataganye n’endala nga nayo eri buswa Bano basoose kwekubisa bifananyi era nebasimbula nga teri yadde eyebwaalabwaala. Abavubuka bano bagambye nti kino bakikoze kubanga bakkiriza mu kwetaaya

Read More

Enseneene zaaze

Bannakampala ennaku zino ekibali ku mumwa nseneene Zeyongedde obungi nga kati mu katale ke Nakasero ekikopo ekitali kikongole kigula wakati we 2000ne 2500  ate nga ekikongole kiri wakati wa 6000 na 8000. Ate yyo mu Owino ekikopo ekitali kikongole kya 1000 nga enkongole kiri wakati we 4000 ne 5000. Twogeddeko n’omu ku bazitunda nga mu wiiki eno agamba…

Read More

Museveni yepenye abavuganya ne bannakyeewa

Pulezidenti Museveni yepenye okukubaganya ebirowoozo ku kawefube w’okusaba nti okulonda kube kwa mazima na bwenkanya Teri era mukulu yenna kuva mu gavumenti yeetabye ku mukolo guno yadde nga pulezidenti yakakasizza nti y’ajja okuggulawo. Munnawulire wa pulezidenti Museveni Tamale Mirundi agamba nti mukama we abadde n’eby’okukola bingi era nga yawaayo dda ebirowoozo bye ku kulonda era ng’abadde takakasa…

Read More

Teri kutunda nyanja- bannabutonde baboggodde

Enteekateeka za gavumenti okutundako ekitundu kye Nyanja Nalubaale eri bamusiga nsigo zijjeemu bannakyeewa omwaasi. Minisita omubeezi akola ku by’obuvubi, Ruth Nankabiriwa yakakasizza nti bamalirizza enteekateeka z’okutundako enyanja okuleeta ensimbi mu ggwanika ly’eggwanga Nankabirwa agamba nti omugagga yenna anatwala enyanja wakuyiiya by’ayinza okukolerako omuli okulimira mu biyumba, okutandika olubalama lw’enyanja oba okutumbula eby’obulambuzi. Akulira ekibiina ekigatta abalwanirira obutonde bw’ensi…

Read More

Eby’eggaali birimu kigoye

Bannayuganda bandikwata emisolo egiwera okuwa kkampuni egenda okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka Bino byogeddwa ababaka okubadde Theodore Ssekikuubo, Wilfred Niwagaba, Abdu Katuntu ne Barnabas Tinkasimire nga balabiseeko mu kakiiko akanonyereza ku mivuyo egyetobese mu kuzimba oluguudo luno. Ababaka bano bagamba nti engeri kkampuni y’aba China gyeyawebwaamu kontulakita aliko akabuuza nga n’ekiragiro kya kkooti ku kkampuni eno kyayisibwaamu amaaso. Bano…

Read More

Bamusse, omulambo nebagusibira mu nju

Ebadde ntiisa, abatuuze bwebagudde ku mulambo gwa munnaabwe abadde yabula nga gusibiddwa mu nju ye Omugenzi ategerekese nga Lawrence Mulumba, omutuuze ku kyaalo Kasasa mu gombolola ye Kakuuto, Rakai. Omulambo gwa Mulumba gusangiddwa abatambuze abawulidde ekisu nga bano beebawaabye eri poliisi n’emenya olujji Omusajja ono yali yayawukana ne mukyala we ng’abeera yekka era nga kigambibwa nti yattiddwa ab’emitima…

Read More