Akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi akulukusizza amaziga ng'omukyala eyafiiriddwaako omwana, amulombojjera ebintu nga bwebyabadde.
Madina Namutebi abadde ne bba basisinkanye Musisi okufuna ebbaluwa omuli obweyamo nti KCCA yakubaliyirira n’okubonereza omuntu eyakoonye omwana waabwe
Bakadde b'omwana kati basazeewo nti bagende baziike nga bwebalindiridde ebinaava mu KCCA
Ensonga z’omwana z’omwana ono zongera kulanda nga zituuse ne mu palamenti.
Ababaka mu…
Ettendekero lye Ndejje liggaddwa okumala ebbanga eritali ggere.
Kiddiridde abayizi okwekalakaasa nga bawakanya eky’okwongeza ebisale.
Mu nsimbi ez’ongezeddwa kwekuli ez’okuddamu empappula okuva ku mitwalo 5 okudda ku 10 ate ng’okwewandiisa okukola ebigezo kati bakusasula emitwalo 20 okuva ku mitwalo 10.
Abayizi bagamba nti zino nyingi nnyo tebazisobola
Bbo nno ab’ettendekero balabye tebabisobole, kwekuggala ettendekero era ng’abayizi bonna bawereddwa essaawa…
Baasi esoose obutakozesa mafuta ng’ekozesa kazambi olwaleero etandise okutambuza abantu
Baasi eno etuuza abantu 40 ekoleddwa ba yingiya okuva mu Bungereza
Abagikoze kyebagaala kwekukendeeza ku mafuta agakozesebwa mu byentambula n’okukendeeza ku motoka ezifulumya erikka
Tiimu y’eggwanga elya Uganda Cranes akomawo ku butaka olunaku lwenkya
Abazannyi bano bakutonnya ku kisaawe ku ssaawa musanvu n’eddakiika 35
Yye kaputeni wa wa tiimu y’eggwanga Andy Mwesigwa tagenda kukomawo ng’azzeeyo butereevu eri tiimu ye eya Kazecstan
Tiimu eno jjo yakubiddwa goolo 2 ku bwereere mu mupiira ogwaleese bannayuganda nga bawotose
Ensonga za Mukenenya ku bizinga yyo ekutte wansi ne waggulu
Kati nno abakyala abakola ku myaalo kizuuliddwa nti bangi okufuna ku byenyanja bino basooka kwebaka na basajja ababivuba.
Bino byatuuddwa ab’ekibiina ky’obwa nnakyeewa ekikola ku bya bavubi ekya Uganda fisheries and fish conservation Association ekikolera e Kasenyi ku mwaalo.
Akulira ekibiina kino Seremos Kamuturaki agambye nti bakizudde nti…
Kkooti eragidde kkampuni ya Warid okusasula ab’ekibinja ky’abazinyi n’abayimbi ekya obsessions
Bano bakuweebwa obukadde 60 olwa warid okukozesa enyimba zaabwe nga tebafunye lukusa
Akulira kkooti ekola ku byobusuubuzi David Wangutusi agambye nti Warid yamenye amateeka ku biyiiye liyite Copyright bweyakozesa enyimba za Obsessions ttaano namba nga tebasabye mu mwaka gwa 2008
Warid kati eyagulwa Airtel era yakusasula ensimbi…
Ababaka ba palamenti abakulemberamu okwemulugunya ku ngeri ensonga z’okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka gy’ekwatiddwaamu olwaleero balabiseeko mu kakiiko akassibwaawo okunonyereza ku nsonga eno.
Ababaka bano okubadde Theodore Sekikubo ne Abdu Katuntu baliko ebiwandiiko byebawaddeyo eri akakiiko kano.
Ng’awaayo ebiwandiiko bino, omubaka Sekikubo agambye nti kino bakikoze okuwaayo obujulizi, ababaka babuyitemu webansisinkanira ssabiiti ejja nga baliko webatuuse
Agambye nti ku…
Poliisi n’era erinye okulinya eggere mu nteekateeka zabannakisinde kya 4GC abakedde okugenda ku kitebe ky’a minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga okukwanga bekikwatako ekiwandiiko nga babanja omuyambi wa Dr. Kiiza Besigye nga ono ye Sam Mugumya.
Poliisi ekedde kusalako luguudo lwa sir Apollo wakati mu kulindirira bannakisinde kino.
Bano nga bakulembeddwamu eyali ssenkagale wa FDC Dr Kiiza Besigye batuuse…
Poliisi ye Butenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’ababbi ba nkuyege tetya ssabo abaalumbye e Kanisa ya Kitasa nebabulawo n’ensimbi ezitanamanyibwa muwendo.
Bwana Mukulu w’ekigo ky’ekanisa eno Rev. Fr. Aloysius Kamulegeya ategezezza nga ababbi bano bwebaamenye ofiisi y’omuwandiisi nebabbamu ssente ezawereddwawo abagoberezi.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Noah Sserunjoji agamba ababbi ennaku zino tebakyatiira…
Abasuubuzi be Kyengera ku lw’e Masaka baguddemu ekyekango oluvanyuma lwamunaabwe okugwa mu mwala n’afa.
Omukyaala ono ategerekeseko erya Nabukeera y’abadde adda ewaka ekiro ne munne ku bodaboda ebkuba n’ebasalako boda n’eremerera omugoba waayo nebagwa mu mwala amazzi negabatwala.
Munne yazuuliddwa amangu ddala wabula ye Nbaukeera azuuliddwa nga bukedde oluvanyuma lw’okukulukusibwa mukoka.