Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Atuze abaana be

Poliisi e Nakasongola ekutte omusajja akkakkanye ku baana be babiri n’abatta Omusajja ono abaana abasibye miguwa mu bulago n’abatta Ronald Batte kigambibwa okuba nga yagenze ewa mukyala we eyanoba Teopista  Ndikibuliirako ani, n’amusaba abaana bamulabeko, wabula olw’okwekengera   yasazeewo okutegeezaako poliisi. Ayogerera poliisi mu kitundu kino Lameck Kigozi atubuulidde nti oluvanyuma lw’okunoonya, basanze abaana bano nga bakengejjera ku miti…

Read More

Panadol w’abasajja bimutabukidde

Omuyimbi  Jemimah Kansiime eyakazibwaako  Panadol wa Basajja ebintu byongedde okumwononekera, oluvanyuma lw'omulamuzi okumuzzaayo ku alimanda e luzira Kinajjukirwa nti Kansiime omwezi oguwedde yavunaanibwa n’omukwasi w’enyimba  Didi Mugisha eyatanzibwa emitwalo 20 nga kanaluzaala yava ku luyimba lweyatuuma Nkulinze , olugambibwa  okubaamu ebikolwa ebyekiseegu ebitagambika. Ono olwaleero alemereddwa okuleeta abantu abamweyimirira ku musango gw’okwolesa obuseegu era omulamuzi Richard  Mafabi…

Read More

Ababaka ba Buganda bandibonerezebwa

Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga alagidde ababaka okuva mu kabondo ka Buganda okunyonyola lwaaki babuuzeewo bonna mu lutuula lwa palamenti oba ssi kkyo bakubonerezebwa Kiddiridde nampala w’abavuganya Cecilia Ogwal okwemulugunya ku kubula kw’ababaka bano Ogwal agambye nti yawuliddeko nti ababaka bano abawerera ddala 99  bagenze wa Gen Salim Saleh e Kapeeka okulambula faamu ye ng’alumiriza nti…

Read More

Akuuma kano akakwese mu mpale

Bw’oba olowooza  nti abapakira ebintu bya supamaketi mu mpale bali mu Uganda wokka musaaga. Mu ggwanga lya Amerika, waliwo omusajja akwatiddwa ku kamera ng’akweeka akuuma ekasala embaawo mu mpale Ekyewunyisa nti abakozi abalabye omusajja ono ku kamera bafudde nseko nga balaba engeri gy’abadde atambula ng’ajagaana era n’abaddukako. Kyokka bano bakubye enduulu mangu omusajja ono n’akwatibwa era ategeezezza poliisi…

Read More

FIFA esongeddwaamu olunwe ku World Cup

Okunonyereza ku nguzi egambibwa okufumbekera omulimu gw’okulonda anakyaaza empaka z’ekikopo ky’ensi yonna zeyongeddemu kigoye wezinge Kati omu ku bakulemberamu okunonyereza atankanye okunonyereza kuno. Omusajja ono ng’ayita mu munnamateeka we Michael Garcia agambye nti alipoota eyakolebwa FIFA erimu ebituli bingi Alipoota eyakolebwa FIFA yejjereza eggwanga lya Russia ne Qatar,abagenda okutegeka empaka zino mu mwaka gwa 2018 ne 22 Alipoota eno…

Read More

Abakyala 13 bafa e Mayuge buli mwezi

Abakyala 13 beebafa buli mwezi mu disitulikiti ye Mayuge Abakyala bano bafiira mu mikono gya ba mulerwa Bino biri mu kunonyereza okwakoleddwa ettendekero lye byobulamu e Makerere era ng’okufa okusinga kuva ku kuvaamu omusaayi omungi n’ebizibu ebijjawo awo mu kuzaala Omu ku banonyereza Betty Kawala, nti buli gombolola lifaamu omukyala buli mwezi ate ng’awamu basukka nawo. Kawala agamba nti…

Read More

Aba Ebola bangi bakebereddwa

Abantu abali mu mitwaalo 10 beebakeberebwa ekirwadde kya Ebola ku kisaawe Entebbe bukyanga kukebera kuno kutandika mu mwezi gw’omunaana. Omukulu ku minisitule y’ebyobulamu Dr. James Sekajugo agamba nti ku bano 15 beebekengera kyokka ng’oluvanyuma basiibulwa oluvanyuma lw’okukakasa nti ssi balwadde Omulimu guno gwakamalawo obukadde 20 ezakozesebwa mu kugula ebisabika byebakozesa okukebera abantu n’okusasula abakozi. Yye omukulu mu kitongole…

Read More

Abapoliisi bakugobwa lwa nguzi

Aba poliisi bonna abakola ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu bakukyusibwa mu kawefube w’okujjamu abalya enguzi. Ekigendererwa kutereeza poliisi ekola ku by’entambula y’ebidduka oluvanyuma lw’okwemulugunya nti bano tebalidde nguzi woowe Kamisona atwala entambula y’ebidduka mu ggwanga Steven Kasiima agamba nti bakakyuusa ba ofiisi 114 ku luguudo luno nga kati bagenda kudda ku baduumizi. Nga bavudde e…

Read More

Musisi alemedde ku baTaxi- mujja kulonda

Ekitongole kya Kampala Capital City Authority kifulumizza amateeka aganagobererwa ba dereeva ba Taxi mu kulonda abakulembeze Bino bigenda mu maaso yadde ng’aba Taxi baalonda abakulembeze baabwe gyebuvuddeko Akulira abakozi mu kibuga Jenifer Musisi agamba nti okulonda kuno kwakwetabwaamu ba dereeva bokka abawandiisibwa okuva mu paaka mukaaga zebamanyi Musisi agamba nti okulonda okwasooka tebakumanyi n'asaba aba Taxi okujjumbira

Read More

Bannamaggye bawandiisiddwa okufuna endagamuntu

Bannamaggye abakaakkalabiza egyaabwe mu ggwanga lya Somalia olwaleero bawandisiddwa okufuna endagamuntu Bano abasoba mu 200 bawandiisiddwa mu disitulikiti ye Nakaseke Abajaasi bano baali tebawandiisibwa olw’ensonga nti baali ku mirimu era nga bakozesezza kaadi zaabwe ez’amaggye mu kubawandiisa Aduumira amaggye Gen Katumba Wamala agambye nti ayagala abajaasi bonna abali mu Somalia bawandiisibwe ng’okuwnadiisa tekunnafundikirwa Uganda erina abajaasi abasoba mu 6200…

Read More