Gavumenti ya Amerika ekakasizza nga akatambi akaalaze nga munnamawulire waabwe asalibwaako omutwe bwekali akatuufu.
Sotloff, 31, yawambibwa omwaka oguwedde mu Syria nga wiiki eno abakambwe ba Isis baamubaaze nga mbuzi.
Ono yalabikira mu katambi akamu omwezi oguwedde nga munne omulala James Foley naye asalibwaako obulago.
Yyo Bungereza yayise dda olukungaana olwamangu oluvanyuma lwabatujju bao okulabula nti waliwo omungereza…
Poliisi e Ssembabule eriko abantu abalala 3 bekutte nga bebamu ku kidiinidiini kya Injiri ekigaana okubala abantu.
Abakwatiddwa kuliko Winfred Tumushabe, Jonathan Tuberuka ne Devine Katushabe .
Bano baaganye okubalibwa nga beekwasa nga eddiini yaabwe bwetabakkiriza nga era okubalibwa kikolwa kya sitaani.
Akulira eby’okubala e Sembabule Frank Batte ategezezza nga bweyaloopye ku poliisi amangu ddala nga abantu bano…
Abamu ku bavuganya gavumenti bategezezza nga obutaba nabakozi bamala ku zi disitulikiti bwekikosezza enyo entambula y’emirimu.
Minister wa gavumenti ez’ebitundu mu gavumenti y’ekisiikirize , Roland Mugume ategezezza nga kimu kyakubiri ku zi disitulikiti eziri mu ggwanga bwezitalina bakozi balina buyigirize kuddukanya mirimu.
Mugume kino akitadde ku busente obutono obusasulwa abakozi nga abasinga beebalama emirimu gyino.
Agamba yadde nga…
Emu ku mmotoka eziwerekera omukulembeze w’eggwanga lya Kenya Uhuru Kenyata eyabibwa e Nairobi ezuuliddwa wano mu Uganda.
Emmotoka eno yakika kya BMW nga era yabibwa wiiki ewedde.
Akulira poliisi y’ensi yonna wano mu ggwanga Assan Kasingye agamba bagisanze esimbiddwa e Wandegeya nga era baliko abantu bebakutte.
Ategezezza nga bwebali mu nteekateeka z’okugizza e Kenya.
Kawefube w’okuzza etteeka eriwera ebisiyaga azzeemu buto
Amyuka sipiika Jacob Olanya agamba nti afunye ekiwandiiko okuva eri omubaka David Bahati ng’ayagala kuzza bbago lino
Etteeka eriwera ebisiyaga lyaali lyayisibwa kyokka kkooti n’erigoba ng’egamba nti ababaka abaliyisa baali tebawera
Oulanya kati agamba nti bakutuula enkya ku makya n’olweggulo okulaba engeri y’okwanguyaamu ebintu
Ng’enkuba ekyagenda mu maaso n’okutonnya, abazadde bajjukiziddwa ku kubeera ab’obuvunaanyizibwa okwewala abaana okubafaako mu nkuba
Kiddiridde amataba okutwala abaana babiri mu bitundu bye Bwaise ne Kabalagala.
Amyuka akulira abaziinya mooto, Hassan Kihanda agamba nti abazadde basaanye obutajja maaso ku baana baabwe nga bazannyira mu mazzi.
Kihanda agamba nti omulimu gwaabwe okuddukirira, naye abazadde bagayaliridde nnyo abaana.
Abasawo bazudde ebipya ku mwana eyazaalibwa n’amagulu ataano nga mu kiseera kino yalongoseddwa bulungi.
Okusinzira ku omukugu mu kulongossa okuva ku ddwaliro ekkulu e Mulago Doctor Nasser Kakembo, omwana yasangiddwa ng’omutiima gwe guli ku ddyo nga ne kibumba kiri ku ludda lwa kkono wabula nga kino sikyabulabe nyo gyali era nga ssi wakuddamu kulongosebwa.
Era Doctor agumizza…
Ab’akabinja ka Bokoharam bawambye ekibuga kye Bama oluvanyuma lw’okulwanagana okwa maanyi n’amaggye ga gavumenti
Enkumi n’enkumi z’abantu ba bulijjo badduse dda ekibambulira nga bweguli ne ku bajaasi
Amaggye mu butongole tegannabaako kyeganyega nga kino kyekiddirira ekya Borno obunene okuwambibwa aba Bokoharam
Omukyala asinga obukulu mu nsi yonna ng’ono nzaalwa ya Mexico yawezezza emyaka 127 ku lunaku lwa ssande
Lumbreras agamba nti yazaalibwa nga 31 ,mu mwezi gw’omunaana mu mwaka gwa 1887.
Ab’enganda ze bagamba nti ekyaama ekituusizza omukyala ono ku bukadde buno kwekulya chocolate, okwebaaka ennyo n’obutafumbirwa
Omukadde ono alina abazzukulu nakabiri 73 n’abazzukulu nakasatu 55
Abazungu bbo buli lukya bayiiya birala
Bano nno mwebagaalira ebisolo bayiiya ka taapu akakozesebwa kkapa okunaabako n’okunywa amazzi
Ka taapu kano kamaze okukozesebwaako mu mawanga agawera era yonna gyekatuuse, bu kkapa bukuba bulatti.