Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

FUFA ne Maroons bakuteesa

Akulira FUFA  Moses Magogo ne  Maroons FC bawereddwa omukisa ogusembayo okuteeseza ebweru wa kkooti Omulamuzi wa kkooti enkulu Steven Musota enjuuyi zombi aziwadde amagezi okusooka okugezaako okuteesa nga bayambibwaako minisita omubeezi akola ku byemizannyo Charles Bakkabulindi Bano baakudda mu kkooti ku lw'okuna okunyonyola omulamuzi webatuuse Magogo ne FUFA bakubwa m u mbuga z'amateeka aba Maroons FC abeemulugunya ku…

Read More

Empaka za puulu zigyiddwaako

Empaka z'omuzanyo gwa Golf eza Tasker Malt Uganda Open zigyiddwaako akawuuwo olunaku lwa leero wano mu Kampala. Empaka ezitegekeddwa ku Uganda Golf Club era zeetabiddwaamu abazanyi abawerera ddala ebikumi bisatu nga  zitandise  na kwegezaamu eri abazanyira ensimbi wamu n'abayiga. Olunaku lwenkya,lweziddamu ng'abazanyi okuva mu mawanga okuli Kenya,Tanzania,Rwanda,Zambia,South Africa n'abalala okulaba anawangula empaka ez'omulundi ogwe 72nd . Okuyingira kwa bwereere eri…

Read More

Abalwanirira eddmebe ly’abaana sibamativu

Abalwanirira eddembe ly’abaana mu ggwanga baagala ebibonerezo ebikakali bibinikibwe kwaabo abasingisibwa ogw’okukukusa abaana. Omulanga guno wegujidde nga abaana abakukusibwa okutwalibwa mu mawanga amalala beyongera buli lukya era gweralikiriza. Akulira ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abaana ekya  ANPPCAN Uganda chapter, Anslem Wandega, ategezezza nga omwaka oguwedde kitundu ku bantu  408 abaakukusibwa okutwalibwa ebweru w’eggwanga bwebaali abaana. Agamba ekizibu ky’okukukusa abaana bwekiri…

Read More

Munonyereze ku byaapa

Ababaka abatuula ku kakiiko k’ebyenjigiriza baagala okunonyereza kutandike ku byaapa by’ettaka ly’amasomero wano mu Kampala. Ababaka bano bali mu kuteesa ku nsonga ezikosa ebyenjigiriza wano mu Kampala nga era bagamba kisaanidde kubanga kikosa n’abayizi buterevu. Ensonga eno ereeteddwa omubaka wa  Kalungu y’obugwanjuba bwa Joseph Sewungu asabye KCCA okwanja ebyaapa by’amasomero gonna agali wansi waayo byebalina. Sewungu era ayagala…

Read More

Mutunde emigabo gyemwagula mu UMEME- abakozi batabuse

Ekibiina ekitaba abakozi ekya central organization of free trade unions  kikaladde nga kakano kyagala ekitavvu ky’abakozi NSSF  kitunde emigabo gyona gyekyagula mu kkitongole kya UMEME awataali lukussa Akuklira ekkibiina kino Peninah Tikamwesiga agambye nti amakubo agaayitwamu okuggula emigabo gino nga tebeebuzizza kubakozi makyamu, kale nga buli ekyagenda mu maaso kisaana kikome kati Kakati ono takomye awo wabula…

Read More

Abakinjaaji e Lyantonde beediimye

Abakinjaagi ba lufula enkulu e  Lyantonde bavudde mu mbeera nebeekalakaasa lw’abatwala ekibuga kino okwongeza ensimbi ezibajibwako buli nsolo esalibwa. Bano bagaanye okusala ekisolo kyonna nga era abaguzi b’enyama bakonkomaliridde ku zi Bucha. Bano bemulugunya nti tebeebuuzibwako nga aba Tawuni kanso bongeza ssente zino nga kati buli nte esalibwa ejibwako 2000 okuva ku 1000 sso buli mbuzi kati…

Read More

Ebye Katosi Mukono bikyalanda

Eby’amancoolo mu kuzimba  oluguudo oluva e Mukono okudda e Katosi bikyalanda.   Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku by’okuzimba kaabuse mpaawo kituukiddwako oluvanyuma lwa minisita avunanyizibwa ku by'enguudo  Abraham Byandala obutaba nabiwandiiko biraga engeri obuwumbi 24 gyebwaweebwayo eri abafere abeefuula aba kampuini enkozi y’enguudo okuva mu Amerika. Omubaka wa Nakifuma, Eng Sekitoleeko Kafeero y’aleese ekiteeso okuggalawo enteeganya zino okutuusa…

Read More

Akooye amazzia amabisi

Ebibbisa abantu tebiggwa mu nsi eno, Mu kibuga Lextington mu America, omusajja akwatiddwa lwakumenya nyumba ya Neyiba ng’ekimutwalayo kunaaba ku mazzi gookya Ryan Carpenter  ayise mu dirisa okutuuka mu nyumba Omusajja ono bw’abuuziddwa lwaki amenye enyumba ya Neyiba agambye nti abadde akooye okunaaba amazzi amabisi

Read More

Egy’ebika gyesibye- tebalabiseeko

Mumpaka zemipiira gyebika bya Baganda  olunaku lwa’leero.Ennyonyi Nyange telabiseeko mukisaawe ewankulukuku nga ebadde erina okukwatagana nekika kyo’Mutyima Omuyanja. Abakulira ekika kye’Nyonyi bo bategezezza nga bwebafuna amawulire gomupiira guno ekikerezi. Mungeri yemu akakiiko akategesi kemipiira gino,kategezezza nga emipiira egitazanyibwa week ewedde olwokutataganyizibwa kwenkuba,gyakuzanyibwa olunaku lwenkya kulwokubiri mukisaawe ewankulukuku. Emipiira gino kuliko e’Kkobe ne Ntalaganya wamu Namazzi Gekisasi nga gasamba…

Read More