Supamaketi ya Uchumi egaddewo ettabi lyaayo wali ku Freedom City lwabutakola magoba.
Akola nga akulira supamaketi zino mu ggwanga David Mugo agamba suopamaketi eno baalibasuubira nti engeri gyeeli ku luguudo olutambuza abantu abanji bali baakukola nnyo, wabula sibwegubadde.
Mugo agamba okuva mu 2012 bwebagulawo, babadde nakola loosi kale nga tebayinza kugenda maaso nakufiirizibwa.
Wabula bbo abakozi bonna bakutwalibwa…
Uganda ekwata kya kubiri mu East Africa mu kulya enguzi
Burundi y’esooka mu
Bino biri mu alipoota efulumiziddwa aba transparency international ey’omwaka 2013
Amawanga 177 geegatunuuliddwa nga Uganda eri mu kifo kya 140 mu nsi yonna, Kenya y’eddako awo okulya enguzi, Tanzania n’eddako ate nga Rwanda y’esinga obutabaamu nguzi ng’eri mu kifo kya 49 mu nsi yonna
Wabula yadde…
Embalirira y’ekitongole kya KCCA eyisiddwa wakati mu bbugumu mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga
Ababaka abakulembeddwaamu omubaka Medard Lubega Sseggona basimbidde ekkuuli embalirira eno olw’ebingi byebabagamba nti bibadde bissiddwamu ensimbi
Ababaka abalala era beemulugunyizza ne ku kya KCCA obutafa ku bannabyabufuzi nga tebebuuzibwaako.
Wabula abavuganya ababadde bawakanya embalirira eno babadde batono era bw’etyo n’eyisibwa.
Ababaka kino olubaddewo nebekandagga nebafuluma nga bagamba…
E Bweyogerere mu zooni ya Kakajjo omukozi w’awaka asse omwana wa mukama we n’amalamu omusubi.
Omwana atiddwa wa mwaka gumu n’ekitundu ng’amutuze butuzi.
Ne maama w’omwana ono adduse.
Aduumira poliisi ya Kira division Peter Nkulega atubuulidde nti abazadde bano babadde n’oluganda ku mukozi ono kale nga y’ensonga lwaki badduse n’ekigendererwa ekitaasa omukozi
Mu kaseera kano omulambo gw’omwana gutwaliddwa mu…
Abavubuka okuva e Tooro bazzeemu buto okubanja ebyaabwe
Abavubuka bano basooka kwekubira nduulu palamenti nga babanja ebintu byaabwe byebagamba nti gavumenti yabyezza mu mwaka gwa 1966.
Akulira abavubuka bano Richard Murungi agamba nti gavumenti yakazza ebyapa bitaano byokka ku byaapa 75 byebabanja
Murungi alumiriza nti babanja byaabwe
Omuwendo gw’abawa pulezidenti amagezi gususse obungi
Akakiiko akakola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga keekakoze okusaba kuno mu kiwandiiko kyaako ku bakulu bano
Mu kadde kano abawa pulezidenti amagezi bali 102 nga n’abamu byebakola tebimanyikiddwa
Ng’awaayo alipoota y’akakiiko mu palamenti, akulira akakiiko akakola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga Col. Fred Mwesigye agambye nti emirimu gy’abagezi bano tegirambikibwa bulungi ae ng’egimu gifanagana…
Amaggye gasaanye okuyingira mu lutalo ku bulwadde bwa Ebola okwetoloola ensi yonna.
Abakoze okusaba beeb’ ekibiina kya medicine Medecins Sans Frontieres.
Bano balumbye abakulembeze mu nsi yonna obutakola kimala kulwanyisa Ebola
Ekibiina kino amawanga ga nagwedda gasuddeyo gwa nnagamba okuyambako amawanga g’obugwanjuba mu kulwanyisa obulwadde buno.
Abantu abasoba mu 1550 beebakafa bukyanga bulwadde buno bubalukawo mu ggwanga lya Guinea…
Akakiiko ka palamenti akakola ku byobulamu kagaala gavumenti okussaawo ensimbi z’okulwanyisa envunza mu ggwanga
Minisitule ekola ku byobulamu egezaako kulaba nti eweebwa obuwumbi bubiri okulwanyisa obulwadde bw’envunza obwatandika ng’obw’olusaago.
Okusinziira ku minisita akola ku byobujjanjabi ebisokerwaako Sarah Opendi, ensimbi zino zakukozesebwa okugula eddagala erifuuyira envunza zino
Akulira akakiiko k’ebyobulamu Dr Kenneth Omona agamba nti ensimbi zino era zisaanye…
Omuwendo gw’abakyala abalina ekikulukuto gweyongera buli lukya nga buli lunaku wabaawo omuntu omupya afuna ekirwadde kino
Atwala ekiwayi ekikola ku bulwadde bw’ekikulukuto, Dr Benard Opar kino akitadde ku basawo abamanyi ekirwadde kino abatono nga kizibu abalwadde bonna okukolebwaako
Opra agambye nti eggwanga lyonna lirina abalongoosa obulwadde buno 20 nga bakolaku balwadde 1000 bokka
Ono ayagala kati wabeewo okutendeka…
Poliisi esuubizza obukuumi eri Kyabazinga wa Busoga omujja William Gabula Nadiope ku lunaku lw’okumutuuza ku namulondo.
Buno bwebumu ku bubaka obuyozayoza Kyabzangi okuva eri ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kaihura.
Obubaka buno buweereddwayo aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi nga era Kayihura ategezezza nga obwakyabazinga bwebwafunye omukulembeze gwebajja okolagana naye.
Ono alabudde abo bonna abteekateeka okutaataganya emikolo…