Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Kadaga alemeddeko- Gabula ye Kyabazinga

Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga alabudde omulangira Edward Columbus ku kweyita Kyabazinga wa Busoga Kiddiridde ssabalangira wa Busoga, Daudi Kaunhe Wakooli okulangirira Wambuzi ku bwa Kyabazinga n’amuwa n’ebikozesebwa byonna. Ng’ayogerako eri bannamawulire, Kadaga agambye nti Kyabazinga ali omu yekka nga Gabula Nadiope era oyo yenna omulala eyeeyita kyabazinga asaanye kukwatibwa Bbo abawagizi ba Wambuzi tebannapondoka nga n’olwaleero…

Read More

Omwana afiiridde mu muliro, bana bataawa

Entiisa ebuutikidde abatuuze be Kirumba Rakai, omwana bw’asirikkidde mu muliro ogukutte enyumba Omwana afudde abadde wa myezi ena. Kigambibwa okuba nti maama w’omwana ono jane Namanda akolezezza ekibiriiti kyokka akasigaddewo n’akakasuka nekakwata mpola nga tategedde Erikka eribadde lifuluma mu nyumba lyelizuukusizza omukyala ono gy’abadde kyokka nga tasobodde kutaasa mwana Omuwandiisi w’ekyaalo Secretary Gerald Juuko agambye nti babadde tebasobola kutaasa…

Read More

Ab’amaggye g’omukago bakwata abakazi mu somalia

Alipoota efulumiziddwa ekibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya Human Rights Watch eraze nti ab’amaggye g’omukago mu ggwanga lya Somalia baava dda ku mulamwa nebadda mu kukakaka abakyala omukwano Amaggye gano kigambibwa okuba nga gakoseza amaanyi nga gakozesa akakisa nti abantu bano baba mu bwetaavu. Omu ku bawala ebasobezebwaako, nga wa myaka 15 yalombozze ng’abakulu bano bwebasooka okumusikako akatambaala…

Read More

Babiri battiddwa e Namayingo- abalala 18 bakwatiddwa

Ab’obuyinza mu disitulikiti y’e Namayingo bakutte abakulembeze b’enzikiriza ya Injiri 18 lwakutaataganya nteekateeka yakubala bantu. Enzikiriza eno erudde nga yekiika mu nteekateeka za gavumenti nga yalemesa n’abagoberezi baayo okwewandiisa okufuna endagamuntu. Omubaka wa pulwzidenti mu kitundu kino  Mpimbaza Ashaka agamba bano bakwatiddwa nga bagaana abagoberezi baabwe okubalibwa nti kikolwa kya sitaani era baakugweera mu geyeena singa babalibwa. Bano…

Read More

Okuwola abayizi ensimbi- abasoba mu 1000 bamaze okuyitamu

Abayizi  1269 bebakakasiddwa okuwolebwa ensimbi za gavumenti okweyongerayo okusoma mu matendekero agaawaggulu. Abalenzi bali 986 nga bakola ebitundu  77.7%  sso nga abwala bali  283 by’ebitundu 22.3% . Bbo abayizi 4 abalina obulemu ku mibiri gyaabwe bonna abaasabye, baakakasiddwa. Bano balondeddwa okuva mu disitulikiti 108  wabula e Buvuma, Buliisa ne Nakapiripirit teri avuddeyo. Abasinga ku bano baasaba amasomo agataliiyo sso…

Read More

Okujjukira okwekalakasa mu Buganda- aba DP bakukungubaga

Bamusaayi muto ba DP e Kayunga bategese okusaba okujjukira abaafira mu kwekalakaasa okwafumbekera ebitundu bya Buganda mu mwaka 2009. Nga boogerako eri bannamawulire, abavubuka bano era basabye gavumenti okufulumya omuwendo gw'abantu abaafira mu kwelakaasa kuno Basabye era ne ssabanyala baker Kimeze okwetonda olw'okuvaako okuyiwa omusaayi Bino bbo bizze nga Kimeze yakajaguza nga bwegiweze emyaka 6 bukyanga yeerangirira ku…

Read More

Abatunda firimu batabuse

Abatunzi ba firimu wano mu kampala abasoba mu 50 bakedde kugumba ku kkooti y’eby’obusuubuzi wano mu Kampala nga omusango ku tteeka ly’ebiyiiye eby’obwongo erya Copy right gutandika okuwulirwa. Abasuubuzi bano baduuse zambwa baabo ku kkooti oluvanyuma lwa poliisi n’abazanyi ba firimu  okutandika okuggala amaduuka gaabwe nga babalumiriza okusala mu cinema zaabwe awatali lukusa. Ssentebe w’abatunda firimu zino…

Read More

Okubala abantu kwongezeddwayo

Okubala abantu kwongezeddwayo olunaku lumu okutuuka ku sande ya weeki eno. Okubala kubadde kulina okukomekerezebwa olunaku lw’enkya nga 6. Akulira entekateka z’okubala abantu Francis Mashate agambye nti kino kikoleddwa oluvanyuma lwabamu ku babala abantu okusaba bongezebweyo akadde okumaliririza ebitundu byabwe. Mashate era agambye nti enkuba efudemba obutasalako ng’ekoseza ebitundu ebiwerako nayo ebaletedde okwongezayo okubala abantu. Mu bitundu ebimu nga …

Read More

Eyagwa ku kabenje atandise kwogera lu china

Omusajja amaze wiiki nnamba ng’azirise oluvanyuma lw’okugwa ku kabenje agenze okudda engulu ng’ayogera lu China. Ben McMahon okuva mu Australia atiisizza  abenganda ze bw’atandise okwogera byebatategeera Ono ng’alaba abantu bamutunuulira mu ngeri eyewunyisa, abasabye ekkalamu n’awandiika wansi kyokka ng’era mu lu China Bakadde be bagamba nti omwana waabwe tayogerangako lu china yadde okulowandiika

Read More