Abantu bangi boogera bubi eky’okwagala abantu bebakola nabo naye nga bangi bakikola
Kigambibwa okuba nti ku buli bantu 20 b’osanga, 1 aba yaganza omuntu gw’akola naye
Kigambibwa okuba nti abantu bangi batuuka n’okuviiramu webatalaga nga byonna babikola okubuzabuuza abalala ku mirimu gyebakolera.
Wabula okunonyereza kuno okukoleddwa mu Bungereza kulaga nti omukwano gwekika kino teguwangaala nga gufa olw’engambo.
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bakangudde eddoboozi ku kya gavumenti obutabaako ky’ekolera abakuumi abatta abaali beekalakaasa olw’ensonga za Buganda.
Okwekalakaasa kuno okwaddirira omutanda okugaanibwa okugenda e Bugerere kwaleka abantu abasoba mu 20 nga battiddwa
Omunonyereza n’ekibiina ekirwanirizi ky’eddembe ly’obuntu ekya Human Rights Watch Maria Burnett agamba nti yadde gavumenti esuubizza okuvunaana abakuuma ddembe abatta abantu mu kwekalakaasa kuno, teri…
Kkooti eyisizza ekiragiro ekiyimiriza okutunda ettaka okutudde essomero lya Kampala City Parents School.
Omuwandiisi wa kkooti y’ebyobusuubuzi Thaddeus Opeseni y’ayisizza ekiragiro kino.
Ettaka lino banka ya Uganda Development bank ebadde yalyezza oluvanyuma lw’essomero okulemererwa okusasula obukadde 700 zeeryewola
Ettaka eryogerwaako lisangibwa Kibiri mu disitulikiti ye Wakiso
Ekiragiro ekiyisiddwa kyakugendera ddala mu maaso okutuuka nga 24 omwezi ogujja omulamuzi Henry…
Abaabala abantu e Masaka bavudde mu mbeera nebekalakaasa lwa musaala
Abantu bano bakungaanidde mu kibuga kye Nyendo nga bagaala kusasulwa nsimbi zaabwe
Abantu bano ng’abasinga bayizi ba matendekero agawaggulu bagamba nti beerekerezza okusoma okusobola okufuna ku ka ssente kyokka nga kyannaku nti tebaasasuddwa
Bano nno balayidde obutawaayo byebasoloozezza mu bantu okutuuka nga basasuddwa
Wabula eyakulembeddemu okubala abantu e Masaka,…
Abasibe babiri ababadde batoloka mu kkooti mu ggwanga lya South Africa bakubiddwa ebyaasi ebibattiddewo.
Abasibe bano babadde balindiridde kuwulira misango gyaabwe kyokka nebagwa ku mmundu ebadde mu kipipa kya kasasiro.
Bano batandikiddewo okuwanyisiganya amasasi ne poliisi era gyebigweredde nga battiddwa
Bino bibadde ku kkooti enkulu mu kibuga Mthatha.
Emu ku kkapa eyakasinga obunene mu nsi yonna etandise okusala amasavu
Kkapa eno etandise na kudduka misinde.
KKapa eno emanyiddwa nga King Leo esangibwa mu kibuga Tennesse
Ya myaka 10
Eyali akulira ekitavvu ky’abakozi Richard Byarugaba ategezezza nga bwewaliwo akakundi k’abamafiya abeesomye okulemesa pulojekiti z’ekitavvu kino.
Bwabade alabbiseeko mu kakiiko ka parliament akalondoola enonga zino, byalugamba agambye nti waliwo banakigwanyzi abataagaliza nkulakulana mu kitavvu kino, nga bano bazze bateekawon obusonga songa kko nokukwata ensi=obi mubuli kikolebwa
Byarugaba ategerezeza ababaka nti olwebyokwerinda kano akabinja tayagala kusooka kukaatuila, wabula…
Ab’oludda oluvuganya gavumenti tebalina ssuubi mu nkyuukakyuuka za poliisi ezaakoleddwa akawungezi akayise.
Olunaku olw’eggulo ssabapoliisi w’eggwanga yakyuusizza abaserikale abenjawulo nga kati abadde aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi y’akulira ebikwekweto byonna nga Haruna Isabirye yeyazze mu kifo kye.
Kati Grace Turyagumanawe abadde akulira ebikwekweto yasindikiddwa kukulira bikwekweto mu poliisi ya East Africa.
Minisita w’ebyokwerinda mu gavumenti…
Eddwaliro lye Mulago lifunye ebyuuma ebikozesebwa abantu abalina obulemu ku mibiri nga bibalirirwaamu obukadde 26.
Ebyuuma bino biwereddwaayo ekitongole kya rehabilitation worldwide okuva mu Bungereza.
Kino kiddiridde abangereza 13 okujja okulaba nga bayambako abalina obulemu okubanguyiza obulamu.
Muno mulimu amagulu, emikono, eby’ensingo, n’ebirala bingi
Omusawo omukugu ku byamagumba, Denis Nsimenta agambye nti ebikozesebwa bino bya bbeeyi nnyo era bangi…
Akakiiko ka palamenti akakola ku mbalirira y’ensimbi y’omuwi w’omusolo kakunyizza abakungu okuva mu ddwaliro e Mbale olw’ebigambibwa nti babadde basasula abasawo b’empewo.
Kiddiridde omubazi w’ebitabo bya gavumenti okulaga nti ensimbi eziweza obukadde 19 zaweebwa abakozi abataliiyo
Ssentebe w’akakiiko kano Alice Alaso agambye nti kyannaku nti gavumenti yafiirizibwa ensimbi empitirivu ng’ezo nga gavumenti terina ky’ekoze
Alaso alagidde abakulira akakiiko…