Minisitule ekola ku byobulamu esuubizza okufuan eky’okuddamu eri empeke eziweweeza ku bulwadde bwa Mukenenya ezikaawa
Abantu abakozesa eddagala lino bangi beemulugunya nti emu ku empeke zebamira zikaawa ekivaako bangi obutagimira
Kati Minisita w’ebyobulamu Dr Rukahana Rugunda agamba nti ensonga eno yabatuukako era tebatudde bayiiya eky’okukola
Empeke zoogerwaako kuliko tenofovir ne lamivudine nga zino teziseerebwa kyokka nga zikaawa okukira…
Akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya kateekateeka kuvaayo n’enkola empya ezitunuulidde abantu abali mu bulabe okufuna obulwadde bwa mukenenya.
Ssentebe w’akakiiko kano Prof Vinand Natulya agamba nti bakizudde nti abantu bano okuli abavubi, bamalaaya n’aba bodaboda beebasinga okutambuza obulwadde.
Prof Natulya agamba nti kati bagenda kunyikiza enkola y’okukebera abantu bano nga bonna abasangibwa n’obulwadde bakussibwa ku ddagala
Bino…
Ekibinja ky’abasiramu ekisooka abagenda okukola Hijja kisibulwa olunaku olwaleero ku Muzikiti e Wandegeya.
Abalamazi abasoba mu 1000 bebagenda okutukiriza empagi ey’okutaano mu diini y’obusiraamu e Makka ne Madiina.
Okusinziira ku Mwogezi w’ekitebe ky’e Kibuli sheikh Hassan Kirya, abalamazi bano basubirwa okwongera okusabira eggwanga okubukalamu emirembe
Omufubutusi w’embiro okuva mu ggwanga lya South Africa nga omulema Oscar Pistorius, asingisiddwa omusango gw’okutta muganzi we mu butanwa.
Bwabadde awa ensalaye, Omulamuzi Thokozile Masipa ategezezza nga ono bweyeyisa mu ngeri y’obulagajavu n’akuba amasasi mu lujji lwa kabuyonjo ewaali muganzi we Reeva Steenkamp n’amutta.
Yye Pistorius azze yeewozaako nga bweyakuba ebyasi bino nga ateebereza nti mubbi y’eyali…
E Lyantonde abali b’enyama bakonkomaliridde ku midaala oluvanyuma lwa lufula enkulu okugalwa lwa bukyaafu.
Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno Suleiman Tuguragara y’alagidde lufula eno eggalwe lwa abakinjaaji kwemulugunya entakera ku zi kabuyinjo ezitalina mazzi n’obukyaafu obususse.
Bano wiiki ewedde abakinjaaji bediima okusala ensolo yonna lwabukyafu mu bwakifo kino.
Abakinjaaji nga bakulembeddwamu Wahabu Matovu baategeeza nga bwebasasula ssente…
Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Lt Col. Paddy Ankunda agamba nti enyonyi eno enywaanyi kika kya L39 ebadde ekozesebwa kutendeka
Ankunda agambye nti okunonyereza kukyagenda mu maaso ku nsonga eno kyokka nga yye munnamaggye abadde avuga akyajjanjabibwa .
Omu ku beerabiddeko n’agage, Robert Ocen agambye nti alabye nyonyi kukka ku misinde era ekiddiridde kwekatta wansi n’ekwata omuliro.
Ocen agamba nti…
Abantu abana abagyiira mu nyumba e Kawmokya bonna bafudde
Abagenzi kuliko Shaudin Kasambira ow’emyaka 5, Shamira Namubaale ow’emyaka 10, Shadia Kayaga ow’emyaka 7 ne kitaabwe ow’emyaka 45 ngono yinginiya Tabu Kasambura.
Enyumba yaabwe yakwata omuliro ku bbalaza nga guno gwaava ku kasubbaawa akalekebwa abaana abaali basoma ebitabo
Abantu okuva mu maka 200 beebatabaliddwa mu kubala abantu okwakakomekkerezebwa
Ab’ekitongole ekibala abantu ekya Uganda Bureau of Statistics beebategeezezza bati
Akulira ekitongole kino Ben Mungyereza agamba nti abantu mu maka agoogerwaako, beebamu ku b’ekidiini ekitakkirirza mu kubala bantu ate abalala bbo tebaali waka.
Mungyereza wabula akikkatirizza nti wabula kino tekigenda kutatagaanya nteekateeka ya kutegekera ggwanga.
Omuntu buli lw’amira ennyo amakerenda g’otulo aba yessa mu bulabe bw’okuwutta
Okuzuula bino abanonyereza batunuulidde abantu abawera mu ggwanga lya Canada nga bano baali bakozesa nnyo amakerenda gano okufuna otulo
Kigambibwa okuba nti ku buli bantu 100 abamira empeke zino, abaweza ebitundu 51 ku kikumi bawutta
Abasawo bakomekkerezza nga bagamba nti mu bulamu, omuntu yandewaze okumira amakerenda kano…
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti abantu abamu badda engeri nga bagenda mu maaso n’okubalongoosa yadde baba basirisiddwa
Okunonyereza okuzudde bino kukoleddwa ku bantu ababadde balongoosebwa 300 .
Ku buli bantu emitwaalo 19 abalongoosebwa, omu adda engulu nga bakyamukolako
Kino kibaawo ku naddala ku bakyala abaali balongoseddwaako nga bazaala oba abo abamira amadagala g’amaanyi
Abakugu bagamba nti yadde tekitera kubaawo, abasawo…