Eky’abakulu mu poliisi okwekobaana n’abazzi b’emisango okunyagulula abantu tekakyaali kaama.
Abadde aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi agamba nti waliwo ba Mafia mu poliisi ng’amakanda bagasimba wabweeru wa CPS nebanyagulula abantu abeetaga obuyambi
Kaweesi agamba nti abafere bano bakolagana n’abakulu mu poliisi
Kaweesi era mu ngeri yeemu akuutidde amuddidde mu bigere Haruna Isabirye okwongera okukolagana n’abantu…
Naggagga Hassan Basajja Balaba alagiddwa okusasula obukadde 124 eri omulamuzi George Wilson Kanyeihamba
Kanyeihamba yawaaba Basajja Balaba lwakumugoba ku bwa ssenkulu bw’ettendekero lye erya Kampala International University mu bukyaamu.
Ekiragiro kino kiyisiddwa omulamuzi Yasin Nyanzi oluvanyuma lwa Kanyeihamba okuleeta obujulizi obulaga nti yagoba mu bukyaamu
Omulamuzi agambye nti Basajjabalaba alina okusasula olw’okuswaza Kanyeihamba, kubanga bannamawulire bawandiika nnyo ku…
Kkooti enkulu egobye okusaba okwassibwaayo abawakanya okulondebwa gwa William Gabula Nadiope nga Kyabazinga wa Busoga
Omulamuzi Godfrey Namundu agambye nti abalangira omwenda bonna tabasobola kuba nga baakola nsobi kale nga y’ensonga lwaki tasobola kuyimiriza kyebaasalawo
Omulangira Edward Colombus yeeyakulemberamu abagenda mu kkooti nga bagaala okutuuza Nadiope kuyimirizibwe
Ebisaliddwaawo kooi birese aba Nadiope bajaguza era nga bakyesunga omukolo ogugenda…
Gavumenti ya Kenya akkirizza okuliyirira abasuubuzi bonna abafiirwa amaali yaabwe mu kwekalakaasa okwaali mu Kenya nga balonda omukulembeze mu mwaka 2007.
Mu kulonda okwaaliwo, abantu abawera bafiirwa ebintu byaabwe nga muno mwemuli ne bannayuganda ate ng’abantua basoba mu 1000 bbo balusuulamu akaba
Ssabawandiisi w’omukago gw’amawanga ga East Africa Richard Sezibera ategeezezza bannamwulire nti bakyakola ku bisembayo nga…
Abantu ababeera mu mawanga ga East Africa akyasanga obuzibu okukola emirimu kyeere nga teria bakua ku mikono.
Bino biri mu alipoota efulumiziddwa ng’alaga nti yadde ekigendererwa ky’omukago kwanguya mirimu, kitono ekituukiddwaako kubanga abakozi bakyasanga emiziziko miyitirivu
Abakoze okunonyereza aba SEATINI Uganda bagamba nti endagaano ezizze zikolebwa ziyamba bakugu kyokka nga’abasuubuzi oba abakozi abalala ssi bakugu
Akulira ekibiina kino…
KKampuni ya Cain Hoy akakasizza nga bw’eyagala okugula kiraabu ya Tottenham Hotspur.
Ekiwandiiko ekivudde mu kkampuni eno kitegeezeza nga kyatandise dda okuteesa ku ky’okugula kkampuni na ssente mmeka
Aba Kiraabu ya Spurs olunaku lwajjo bawakanyizza ebigambibwa nti bagitunda
Ebyewunyisa tebiggwa mu nsi
Mu ggwanga lya America omusajja eyasanyuka ennyo nga mukyala we afunye olubuto bitandise okumuggwaako
Harry Asby etandise okufuna obubonero bwonna omukyala bw’afuna ng’ali lubuto okuli n’okusesema
Omusajja ono ayoyeza ddala ng’ali olubuto nga kati atandise n’okumera amabeere
Omusajja ono yye agamba nti yasooka kunyiiga kyokka kati musanyufu nti asobodde okumanya mukyala we obuzibu bw’ayiseemu
Abantu abalina omusaayi gw’ekika kya AB bali mu bulabe bw’okwerabirarabira
Ekika ky’omusaayi guno nno tekitera kulaba era nga kigambibwa nti ku buli bantu 100 abakirina baba nga bana
Ebizuuliddwa byegasse ku byasooka nga biraga nti ekika ky’omusaayi gw’omuntu kimussa mu bulabe bw’okufuna obulwadde bw’omutima era ng’ekika ekyatunuulirwa kyekya AB
Abakugu bagamba nti engeri y’okukuumamu obwongo nga tebwerabira mwemuli…
Abanonyereza okuva mu Cambridge ne Paris bagamba nti omuntu nebweyebaka obwongo busigala bukola.
Okuzuula bano bano bagezesezza abantu nga batunula kyokka nga nebwebeebase, basigadde baddamu bituufu.
Bagamba nti ate obwongo bw’omuntu nga yeebase buba bwoogi nnyo nga busobola n’okukola egimu ku mirimu egisinga okuba emizibu
Kati abanonyereza bano batandise okunonyereza okuzuula engeri omuntu gy’ayinza okukozesaamu obwongo buno mu…
Mu ggwanga lya America, omusajja abadde agufudde omuze okusiiga abalala obulwadde bwa Mukenenya alagiddwa obutakola kikolwa kino
Omusajja ono webamuloppedde mu kkooti nga yakasiiga abantu munaana mu bbanga lya myaka ena.
Omukulu ono amanyiddwa nga AO okusinziira ku biwandiiko bya kkooti era alagiddwa okugenda afuna obudabuudibwa ku ngeri y’okubeeramu n’ekirwadde kino nga tanyigidde abalala ekivaako okubutambuza
Abakulu mu…