Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Emirimu gisanyaladde e Moyo- kwekalakaasa

Emirimu gisanyaladde mu tawuni ye Moyo oluvanyuma lw’abantu abasoba mu 1000 okukumba wakati mu kwekalakaasa nga bawakanya eky’abakulembeze baabwe abaakwatibwa poliisi ya South Sudan wiiki ewedde. Bano bakutte ebipande okuli obubaka obuvumirira ekikolwa kino olwo neboolekera ensalo mu kitundu kye Afoji . Omubaka omukyaala ow’e Moyo Anne Auru nga y’akulembeddemu abeekalakaasi ,agamba baagala gavumenti eyingire mu nsonga…

Read More

Omulogo agobeddwa ku kyaalo

Abatuuze mu tawuni kanso ye  Kijura mu disitulikiti ye Fort portal  bagobye omukazi ow’emyaka 25 ku kyaalo lwa bulogo. Ono ataasiddwa poliisi ku batuuze ababadde baagala okumulesa emmere nga bamulanga kubaama nkola ya kalogo kalenzi. Omukazi ono nga wanzaalo 3, abasajja ku kyaalo bamulumiriza okubaloga nebaggwamu amaanyi g’ekisajja nga n’abakyaala banatera kubanobako olw’obuteesobola. Ono takomye ku basajja, n’abakyaala…

Read More

Abadde katikkiro abanja

Oluvanyuma lwa Busoga okufuna Kyabazinga omujja, Issabalangira w’obwakyabazinga  David Kawune Wakooli  akwanze palamenti ekiwandiiko nga ayagala kugabana ku bukadde 350 ezigenda okuweebwa Kyabazinga William  Gabula Nadiope. Kawune agamba akoze nga Kyabazinga okumala ebbanga awatali musaala gwonna  kale nga yetaaga okusasulwa. Kawune aludde ng'akola nga Kyabazinga bukyanga eyaliko Henry Wako Muloki okufa. Ono era asabye

Read More

Aba Taxi bazzeemu okugugulana

Endoolito mu mulimu gwa Taxi ssi zakugwawo kati. Amakya galeero badereeva mu paaka enkadde ku siteegi okuli Nateete, Nalukolongo ne Ndeeba bagaanye okusasula siringi 1000 ez’okutikka buli taxi. Bano bagamba ensimbi zino zimenya mateeka nga n’abakakiiko ka TAPSCOM abazisolooza bagyibwawo oluvanyuma lw’entegeregana wakati wa KCCA ne badereeva. Bano bagamba basasula emitwalo 12 ezabuli mwezi kale nga tebajja kusasula…

Read More

Pulezidenti eri abakulembeze b’ennono- mwegatta

Pulezidenti Museveni asabye abakulembeze b'ennono okukozesa obuganzi bwaabwe okugatta abantu mu kifo ky'okubaawuula Ng'ayogerera ku mikolo gy'okutuuza Kyabazinga William Gabula Nadiope, Pulezidenti agambye nti akimanyi nti obwakyabazinga buliko byebubanja kyokka ng'ebyo bitono byetaaga kuteesa. Ku ky'okuyooyoota ekitundu kye Bugembe , Pulezidenti agambye nti kino kijja kukolebwa kyokka n'asaba bamuweemu akaseera katono. Kyabazinga omuggya era amuwadde n'amagezi okulaba nti…

Read More

SSabassajja kabaka ayozayozezza Gabula

SSabasajja Kabaka  akunze abaganda okuweerera abaana n’okubakuuma nawookera wa Mukenenya Ssabasajja byonna abyogedde alabiseeko eri Obuganda ku mikolo gy’okusiima abayizi abayimba n’okuzina ku Ssomero lya St Peters Primary school e Luweero Omutanda agambye nti kikulu emiti emito okugikuuma kubanga gwe musingi gwa Uganda ne Buganda Omutanda era asinzidde ku mikolo gino n'ayozayooza omulangira William Gabula Nadiope olw'okutuuka ku…

Read More

Abatta nabo bajja kuttibwa

Pulezidenti Yoweri alabudde abatta bannayuganda abatalina misango Ng’ayogerera mu missa y’okujjukira omubaka eyasooka okuva mu kitundu kya Westnile, Pulezidenti agambye nti omukulu Gaspero Oda yattibwa amaggye ga UNLA nga talina musango kyokka ng’abamutta nabo tebaafuna mirembe Pulezidenti omugenzi amwogeddeko ng’omusajja eyali omwesimbu era atali mwangu kujjibwa ku mulamwa Gaspero Oda nga yali munna DP kakongoliro eyali amaze mu…

Read More

Abagwiira bayooleddwa

Abagwiira abawerera ddala 45 beebakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa ekitongole ekikola ku bantu abafuluma n’okuyingira eggwanga Ekikwekweto Minisitule ekikoze mu bitundu bye kampala William nabugabo ne coin investments Omwogezi w’ekitongole kino Jacob sinmunye agambye nti ekikwekweto kino kikoleddwa oluvanyuma lw’okwemulugunya ku bantu abayingira mu ggwnaga mu ngeri etategekeka ebitaggwa

Read More

America asattidde ku batujju

Eggwanga lya America lirabudde abantu baayo abali mu Uganda obutava waka Bano bayise ku mukutu gwa Twitter nebategeeza nga bwewaliwo kyebekengedde ku batujju kyokka nga tebatudde America era esabye abantu baayo abatali waka okuddukira mu bifo ebikkakkamu okulaba nti tewabaawo buzibu bwonna Mu kusooka era ab’ekitebe kya America mu Uganda bategeezezza nga abakuumaddembe mu Uanda bwebaliko ebikwekweto byebakola…

Read More