Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

aba owino bazzeemu okusonda

Abasuubuzi mu katale ka St Balikuddembe olwaleero basisinkanye okuteesa ku ngeri gyebanasasulamu obuwumbi obusoba mu busatu zeebeewola mu DFCU nga kati zituuse ku buwumbi 6. Abasuubuzi bano batudde ku mpiso nga bandifiirwa ettaka lyebaagula mu Kisenyi okusengukirako nga bwebazimba akatale olw’ensonga y’ebbanja lyebafuna okwetuuma Akulira abasuubuzi Godfrey Nkajja agambye nti babaawa okutuuka mu mwezi gwa November omwaka…

Read More

Ekijjukizo e Namugongo kutambudde

Okuzimba ekifo ky’ebyafaayo eky’omulembe ku kiggwa kya bakulisitaayo e Namugongo kutambula bulungi Ssabasumba wa kkanisa Stanley Ntagali olwaleero ategeezezza bannamawulire nti obukadde 172 zeezakakunganyizibwa okuwagira omulimu guno. Ntagali mugumu nti omwaka ogujja wegunatuukira ng’empagi 47 ku ludda lwa bakulisitaayo n’abakatolika ziwedde Ssabalabirizi eyawummula era nga y’akulembeddemu enteekateeka z’okuzimba Mpalanyi Nkoyooyo agambye nti basuubira pulezidenti Museveni okutongosa omulimu omwezi…

Read More

AMafuta g’ettaala gandisigala ku buseere

Ebbeeyi y’amafuta g’ettaala yandisigala waggulu yadde nga emisolo gyagiddwaawo. Minisita akola ku by’ensimbi Maria Kiwanuka agamba nti gavumenti terina kya maanyi ky’eyinza kukola kukendeeza mafuta kubanga emiwendo gitambulira ku bwetaavu bw’ekintu Gavumenti wabula yasazeewo okujjawo omusolo ku mafuta g’ettaala oluvanyuma lw’abantu abatali bamu okuguwakanya Kiwanuka agamba nti omusolo ogwandivudde ku mafuta baali bakugulamu solar mu byaali nga kati…

Read More

Tumwebaze eyise ba meeya

Minisita wa kampala Frank Tumwebaze ayis eolukiiko lwa ba meeya ba divizoni mu kibuga nga luno lwakuteesa ku kwekumulugunya okuliwo ku nzirukanya y’emirimu Meeya we Nakawa Ben Kalumba atutegeezezza nti bakukozesa akakisa kano okutuusa amaloboozi gaabwe ku birudde nga bibaluma Kalumba agamba nti era bakwanja ensonga y’enkola empya ezizze mu kibuga  gy’agamba nti yabaleka nga tebalina byebakola…

Read More

abakyala tebalina kusasulwa- Ba ddembe lya bakyala

Okuwulira okujulira okwatwaalibwa abakyala wansi w’ekibiina kya MIFUMI nga bagaala eby’okusasula abakyala nga babawasa biveeyo Kkooti etaputa ssemateeka yagoba okusaba kwa bano ng’egamba nti kiri mu nnono abakyala okusasulwa kale nga tewali nsonga lwaki kivaawo. Aba MIFUMI bagaala kkooti esazeemu ebyasalibwaawo kkooti nga bagamba nti abasajja bajooga abakyala kubanga baba babasasudde Munnamateeka w’abakyala bano Ladslous  Rwakafuzi  ategeezezza abalamuzi…

Read More

Empeke ezikaawa bigenda

Ekitongole ekikola ku by’eddagala mu ggwanga kikakasizza abawangaala n’akawuka ka mukenenya nti empeke ezikaawa bakuziwona akadde konna Kiddiridde abantu bano okwemulugunya ku bika by’empeke zino bibiri nga bino bikaawa okukira omususa Akulira ekitongole kino Gordon Ssematiko agamba nti baakoma okuyingiza eddagala lino mu mwaka oguwedde ng’ezirimu zeezisemba Sematiko akikkatiriza nti empeke eziriko akabubi ka sukaali ziri ku katale…

Read More

Ebbula ly’obupiira, akaveera keekakola kati

Ebbula ly’obupiira bu galimpitawa litabuse mu bizinga nga kati abavubi bakozesa buveera Ebizuuliddwa akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’abavubi biraga nti abavubi bano bakwata obuveera buno nebabwenaanika nga basibyeeko obuguwa oba labbabbandi  olwo nebakola ebyaabwe Akulira akakiiko kano Dr.Lulume Bayiga agambye nti kino kisinze kubeera ku mwaalo e Katosi, e Senyi ne Kiyindi. Dr Lulume agamba nti…

Read More

South Sudan efuumudde abagwiira

Eggwanga lya South Sudan lifuumudde abagwiira bonna abakolera mu ggwanga lya South Sudan. Muno mulimu ne bannakyeewa ng’emirimu gyonna gigenda kuddamu bantu baabwe okuva nga 15 omwezi ogujja. Okusinziira ku mukutu gwa AFP, gavumenti ya South Sudan mu kiwandiiko ky’efulumizza etegeezezza nga kino bwekikoleddwa okuwa bannansi emirimu Mu bagobeddwa era mulimu abakola mu mabanka, mu kkampuni z’obwa nnanyini,…

Read More

Okufa kw’abakyala b’embuto- obukiiko tebukola

Minisitule y’ebyobulamu erangiridde enteekateeka y’okukyuusa mu bukiiko bw’obulamu ku byaalo. Minista omubeezi akola ku bujjanjabi obusookerwaako Sarah Opendi agamba ekigendererwa kwongera muwendo gw’abakyala abagenda mu malwaliro nga bali mbuto Minisita agambye nti kino kijja kuyamba okukendeeza omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya nga kati balinnye okutuuka ku 17 buli lunaku Opendi agamba nti ab’ebyaalo bino bakutambula nga bakunga abakyala…

Read More