Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

South Sudan yefuludde- Teri kugoba bagwiira

Gavumenti y’eggwanga lya South Sudan yefuludde n’esazaamu ekiragiro ekigoba abagwiira bonna . Minisita wa South Sudan akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Benjamin Barnaba Marial ategeezezza nga bwebatagenda kugoba mugwiira yenna kubanga baaniriza buli Muntu Olunaku lwajjo gavumenti ya South Sudan yalangiridde nti egenda kugoba abagwiira bonna ekitagendedde bangu bulungi Muno mwemubadde n’ababaka ba palamenti okubadde Geoffrey Ekanya, Peter…

Read More

Ekisanja eri Kaihura- Ababaka boogedde

Ababaka mu lukiiko olukulu olw’eggwanga bavuddemu omwaasi ku ky’okwongera Gen Kale Kaihura ekisanja nga senkaggale wa poliisi Abakulembeze mu poliisi bayongedde gen Kaihura emyaka 3 ng’aweereza eggwanga nga kati palamenti y’esigadde okumuyisaamu Kaihura kino kijja kumufuula ssabapoliisi eyakasinga okuwangaalira ku kifo kino Yadde ababaka abamu bagamba nti kino kirungi, , abalala basabye ababaka abagenda okusunsula okulaba nti beetegereza…

Read More

Katikkiro ayanjizza ebye bulaaya

Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga olunaku olwalwero ayanjulidde obuganda byeyajja mu olutabalo emitala wa Mayanja gy’abadde ng’akungaanya ettofaali Katikiro agambye nti  ensmbi ezisoba mu bukadde 435 zeezakunganyizibwa mu ssabbiiti ebbiri zeyamaze emitala w’amayanja. Wano w’ansizidde n’asaba abantu ba Ssabasajja okwongera okuyigira ku mawanga g’abazungu, okukuuma ennono wamu n’ebyobuwangwa byaabwe. Mayiga era agambye nti abaganda balina okwewala okwekwasa…

Read More

Endagamuntu ziwedde

Gavumenti emalirizza okukubisa endaga muntu akakadde kalamba . Omwogezi wa minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Pamela Ankunda agamba nti okugaba endagamuntu kwakutandika omwezi ogujja Ankunda agamba nti abamu ku bawandiisa abantu tebaafuna byonna byetaagisa nga y’ensonga lwaki bakereeye Ajjukizza bannayuganda wabula nti okwewandiisa okufuna endagamuntu kukyagenda mu maaso ku magombolola okutuuka mu mwezi gw’okubiri omwaka ogujja.

Read More

Abasawo mu by’endya balimba abantu

Abasawo mu byendya basaanye okussibwaako amateeka amakakali kubanga bangi babuzabuuza abantu Mu Lukiiko olwegattiddwaamu abasawo abakola ku by’endya okuva mu mawanga ga East Africa, abakugu mu by’endya bagambye nti abasawo bangi tebalina bukugu mu byandya nga byebawa abantu ate biyinza okusajjula embeera Akulira abakugu mu by’endya, Fredrick Kizito agamba nti tewali mateeka makakali ku basawo b’ekika kino…

Read More

Tiketi za 5000

Fufa efulumizza ebisale byomupiira gwabato abali wansi wemyaka 17 ogw’okudingana wakati wa Uganda ne Zambia . Omupiira guno gwa ssabbiiti ejja ku kisaawe e Nakivubo. Okuyingira kwa shs 5,000 ne shs 20,000 eri abakungu Zambia yakuba Uganda week ewedde goals 2-0 mu mupiira ogwasooka mukibuga Lusaka. Anayitawo,wakwetaba mumpaka ezakamalirizo ezigenda okubeera mugwanga lya Niger omwaka ogujja.

Read More

Omwenge gubizadde eddubu

Abantu abagaala omwenge gyebali nga gubasingira emmere Mu kibuga Valencia ekya Spain, omusajja elumbiddwa enyonta y’akenge, asazeewo okusiba eddubu lye ku kitaala ky’okukkuba olwo neyesogga bbaala Eddubu lino ly’abadde atambula nalyo lirabiddwaako nga likooye era ekivuddemu neyebaka Nga wayise akabanga, zireese waddanga ono atandikiddewo okwekalakaasa nti babadde babbye eddubu lye

Read More

Omwana akazizza ssentebe

Omuyizi ow’ekibiina ekisooka ku ssomero lye Namwaya erisangibwa e Tororo awunikirizza abantu bw’alumbye ssentebe wa disitulikiti ng’ayogera n’amubuuza lwaki essomero lye teririna kabuyonjo SSentebe Emmanuel Osuna abadde akyaddeko ku ssomero lino okulaba oba abayizi balya ekyemisana Omwana ono ow’emyaka 8 ategerekese nga Massey Omalla ayambalidde ssentebe  ng’agamba nti kabuyonjo gyebaalina yagwa kyokka nabatafuna ndala era ng’obulamu bwaabwe…

Read More

Gabula ayongedde okunyweera

  Kkooti etaputa ssemateeka egobye okusaba okwakoleddwa ekibinja ky’abasoga nti William Nadiope Gabula aleme kukola mirimu gya bwa kyabazinga Abalamuzi abasatu abatuula mu kkooti eno nga bakulembeddwamu Remmy Kasule bategeraganye okugoba okusaba kuno oluvanyuma lw’abakussaayo okulo Wilson Muwereeza ne James Kawuuta bonna obutalabikako mu kkooti. Abalamuzi bagamba nti ebbaluwa obubaluwa gyebaafuna tebasobola kugyesigamako kufuna lunaku lulala lwakuwulira kusaba…

Read More