Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Lukwago Agobye Kidandala

  Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago agobye Sulaiman Kidandala ku bumyuka bwa loodi meeya. Bino Lukwago abirangiridde mu lukungaana lw’omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti wali ku luguudo lwa Katonga. Lukwago alumiriza  Kidandala okukukuta ne minisita wa Kampala Frank Tumwebaze wamu ne bakansala abamu okwagala okumutuuza  agire nga akola  nga loodi meeya, Lukwago w’atali. Wabula abbo bakansala bazze begaana eby’okwagala…

Read More

Ssekandi amezze Mbabali

  Omumyuuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka abuukira mabega nga jjanzi. Kkooti etaputa ssemateeka egobye omusango ogubadde gumuvunanibwa  munnamateka Jude mbabali nga amulanga kukozesa mmotoka za gavumenti mu kuwenja kalulu.  Mbabali y’addukira mu kkooti eno nga ayagala Ssekandi agobwe mu palamenti nti yadiibuuda ensimbi y’omuwi w’omusolo emmotoka bweyaziteekamu amafuta g’obukadde obusoba mu 100.  Abalamuzi bonna abataano nga bakulembeddwamu Remmy…

Read More

Mbabazi agobeddwa ku bwa Ssabaminisita

    Pulezidenti Museveni agobye John Patrick Amama Mbabazi ku bwa Ssabaminisita namusikiza abadde minisita w’eby’obulamu Dr.Ruhakana Rugunda. Omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo akasizza kino wabula tawadde nsonga lwaki pulezidenti anaabidde Mbabazi mu maaso. Rugunda kati afuuse ssabaminisita wa Uganda ow’omukaaga mu gavumenti ya NRM. Mbabazi y’azaalibwa nga  16 January 1949 . Ono  munnamateeka era munnabyabufuzi omukuukutivu. Abadde ssabaminisita wa Uganda okuva…

Read More

Abagwiira abalala bakwatiddwa

Abagwiira abawerera ddala 20 beebayooleddwa ekitongole ekikola ku bafuluma n’okuyingira eggwanga Abakwatiddwa kuliko abayindi 6, aba Pakistan 2, aba Vietnam 6 n’omungereza omu. Omwogezi w’ekitongole ekikoze ekikwekweto, Jacob Siminyu agamba nti bano bonna bajjiddwa mu kitundu kya bannamakolero giyite Industrial area mu kampala Simunyu agamba nti kati basatu ku abo beebakwata 71 ssabbiiti ewedde baddiziddwaayo ewaabwe.

Read More

UNEB afunye ssentebe

Pulezidenti Museveni akakasizza Prof. Mary Okwakol  ku bwa ssentebe bw’ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB Prof Mary Okwakol yasooka kulondebwa okugira ng’ayambako oluvanyuma lw’okulekulira kwa Fagil Mande mu gw’okutaano. Omuwandiisi w’ekitongole ky’ebigezo Mathew Bukenya y’akakasizza amawulire g’okukakasibwa bwa Okwakol Bukenya agambye nti essaawa yonna ono agenda kukwasibwa ebikola.

Read More

Nigeria etulugunya abasibe

Okutulugunya abasibe kifuuse kya bulijjo mu poliisi ye Nigeria . Ab’ekibiina ekya Amnesty international bagamba nti abapoliisi n’amaggye bakozesa enkola ezitali zimu okutulugunya abasibe omuli okukuba, okutungulamu abasibe enjala n’okubakuula amannyo nga bakozesa magalo n’okubakabasanya mu by’akaboozi. Omu ku bakazi abagambibwa okubba mu kibuga Lagos  agamba nti bamukabasanya mu mukwano n’okumukuba ttiyagaasi mu mbugo. Gavumenti ya Nigeria tennabaako…

Read More

Omwenzi bamukutte

Omusajja abadde yeebase ne mukyala we mu kitanda kimuweddeko, musajja munne bw’ayingiddewo okukola emirimu gye Omusajja ono asoose kulaba kisiikirize era mu mpola n’akubira poliisi essimu okugitegeeza nti omubbi abalumbye Wabula poliisi bw’ekutte omusajja ono agitegeezezza nga bw’atali mubbi wabula abadde azze kulaba ku muganzi we kubanga abadde tamanyi nti bba gyali Poliisi etuuzizza abasajja bano bombi kyokka…

Read More

Maneja wa Cardiff alekulidde

Maneja wa tiimu ya Cardiff City Ole Guna Sosha  alekulidde ekifo kino nga teginnawera mwenda mu ntebe. Okulekulira kwa Sosha kulangiriddwa oluvanyuma lw’okusisinkana ssentebe Dalman. Aba Cardiff bali mu kifo kya 17 mu zababinyweera  nga bakawangulwa emipiira esatu ku mipiira musanvu gyebakasamba Mu kadde kano omuzibizi Danny Gabbidon ne Scot Yanga beebakutte enkasi

Read More

Kenzo yetondedde Kasuku

Kyaddaaki Munnamawulire waffe wano ku Dembe FM Kasuku Kuku wazabanga atabaganye n’omuyimba Eddy Kenzo eyakuyimbira akayimba ka sitya loosi. Ababiri bano babadde ku mbiranye oluvanyuma  lwa Kenzo okulumba Kasuku mu lukungaana lwa bannamawulire mu baala lya Loftaz  nga amulumiziza okumwogerako ebyakalebule. Kasuku yaddukira mu mbuga z’amateeka nga era Kenzo abadde asulirira kukwatibwa. Wabula abategesi b’ebivvulu mu kibiina kyaabwe…

Read More

Omubbi w’emmotoka mukwate

Poliisi erwanyisa ababbisa emmundu ekutte omusajja agambibwa okuba omubbi w’emmotoka e Kawempe Ono akwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa oluvanyuma lw’abalozezza ku bukambwe bwa bano okwekubira enduulu ku poliisi. Akwatiddwa ategerekese nga Sayid Luzze omutuuze w’omu kirokole mu Kawempe Atwala eby’okunonyereza mu poliisi eno, David Wasonga, emmotoka emu nayo bajizudde nga emaze n’okutemebwaako enamba

Read More