Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abantu bazze ku mata ga bipipa

Ekitongole ekigatta abasunda mata kigamba nti omusolo ogwassibwa ku mata amalongooseemu guleeseewo okukusa mu mulimu gwaabwe Mu mbalirira y’omwaka guno, gavumenti yalangirira omusolo gwa VAT ku mata amalongooseemu n’ekigendererwa ky’okugaziya ensawo y’omusolo. Ng’ayogerera mu musomo gwaabwe, omu ku bali mu kibiina kino Robert Walimbwa agambye nti abantu kati basazeewo kugula mata ga mu bipipa kubanga tebasobola mata…

Read More

Pulezidenti awolerezza amaggye mu NAADS

Pulezidenti Museveni ayongedde okunyonyola lwaaki enkola ya NAADS yalina okuyiibwa Ng’asisinkanye bannamaggye abagenda okulondoola enteekateeka eno, pulezidenti agambye nti ku buwumbi 200 ezaali zisindikibwa mu nteekateeka eno, obuwumbi 95 zokka zeezali zikozesebwa kati ezisigadde neziriibwa Pulezidenti agamba nti okuyingiza amaggye mu nteekateeka eno akakasa kyakuyamba nnyo okutaasa ensimbi y’omuwi w’omusolo ebadde eyiika Enteekateeka ya NAADS yatandika mu mwaka…

Read More

Pulezidenti yaweza dda emyaka

Okukubaganya ebirowoozo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga kufuuse mabeere ga mbwa Kiddiridde pulezidenti Museveni okukuza nga bw’awezezza emyaka 70 era ng’akabaga ke keetabiddwaako, abaana n’abazzukulu Olunaku lwajjo, poliisi yekutte ekibinja ky’abavubuka ababadde beekalakaasa nga bagamba nti pulezidenti alimba emyaka , ng’emituufu giri kinaana. Kati ssabawandiisi wa UYD, Charles Waswa agamba nti pulezidenti alina okussa ekitiibwa mu ssemateeka aleme kuddamu…

Read More

Omwana eyabbira-Abasomesa batuuyanye

Okuwulira omusango oguvunaanibwa abasomesa abagambibwa okulagajjalira mwana eyabbira mu kidiba ky’essomero kugenze mu maaso. Akulira essomero lya Acorn International school erisangibwa e Bukoto Aleena Lalani olwaleero yanyonyodde engeri abasomesa gyebalagajjaliramu omwana ekyamuviirako okufa Ategeezezza nti abasomesa okuli Deborah Akado ne Florence Awor beebali bakuuma abaana olunaku olwo ate nga Hussama Wagogo gwebavunaanibwa nabo yeeyali akuuma ekidiba giyite…

Read More

Asse nyina lwa bintu

omusajja eyatta nyina olw’ebintu asibiddwa emyaka 25 Allan Ahimbisibwe nga musuubuzi mu kibuga kye Mbarara yatta nyina ow’emyaka 65 ng’ayita mu bantu beyagula bamalirize omulimu guno. Oludda oluwaabi lwategeeza omulamuzi David Matovu nti yagula abatemu beyawa obukadde butaano nebalumba nyina . Bano bakuba ekituli mu nyumba nebayisaamu kalifoomu olwo nebatandika okumutema nga talwana Abajulizi 12 okuli n’ab’oluganda lwa Tumuhimbise…

Read More

Omukyala asse bba

Omukyala akkidde bba gw’alinamu abaana abana n’amukuba ekiti ku mutwe ekimusse. Bino bibadde Buloba mu disitulikiti ye Wakiso. Beatrice Mutesi y’akubye bba Charles Twebaze n’amutta. Okusinziira ku batuuze mu kitundu kino, ababiri bano baludde nga balwana kyokka nga ekibatabula buli omu ayogera bibye. Atwala poliisi ye Wakiso Norah Mpawulo atubuulidde nti omukyala ono amaze okukwatibwa nga wakuggulwaako misango ku…

Read More

Omusiguze aluguddemu

Omusajja abadde yeebase ne mukyala we mu kitanda kimuweddeko, musajja mune bw’ayingiddewo okukola emirimu gye Omusajja ono asoose kulaba kisiikirize era mu mpola n’akubira poliisi essimu okugitegeeza nti omubbi abalumbye Wabula poliisi bw’ekutte omusajja ono agitegeezezza nga bw’atali mubbi wabula abadde azze kulaba ku muganzi we kubanga abadde tamanyi nti bba gyali Poliisi etuuzizza abasajja…

Read More

Oluguudo lw’eddwaliro lwayonooneka

Abatuuze ku kyaalo Pachara mu disitulikiti ye Adjumani bakaaba luguudo lubi okutuuka ku ddwaliro lye Uderu health center II. Abantu bagamba ntu oluguudo luno kati myaka 20 ng’oluguudo lufu kyokka ng’ababatwaala tebenyeenya Oluguudo luno lulimi ekigoma wakati nga emmotoka zisanga obuzibu okutambula Omu ku batuuze William Tabu, agamba nti abasinze okukosebwa beebakyala b’embuto nga bangi bazaalira mu kkubo. Abatuuze…

Read More

TASO teggalawo

Ekibiina ekibudabuuda n’okujanjaba abantu abawangaala ne mukenenya  ekya TASO kigumizza abajanjabibwa yo nga bwebatagenda  kuggalawo . Kiddiridde amawulire agafulumye olwaleero nga galaga nti aba TASO bagenda kuggalwaawo olw'ebbula ly'ensimbi oluvanyuma lw'abagabirizi b'obuyambi okubijjamue nta. Omwogezi w’ekibiina kino Megan Katasi agamba yadde nga ensimbi okuva mu bagabi b’obuyambi zakendeera, bakyajanjaba abalina siriimu n’okusomesa abo  abatalina siriimu engeri y’okwekuumamu. Agamba…

Read More

Obupiira tebutuuka basajja

Ab’ekitongole ekitereka eddagala bagamba abo bonna abeetaga obupiira bu gali mpitawa basobola okuwaayo okusaba kwaabwe mu butongole Kiddiridde ababaka ba palamenti okuva ku bizinga okutegeeza ng’abavubi ku mwaalo gwe Senyi, Kiyindi ne Katosi bwebakozesa obuveera ne labbabbandi okwetangira ekirwadde kya Mukenenya. Ayogerera ekitongole ekitereka eddagala n’ebyobulamu ebirala, Dan Kimosho agamba nti naye enviiri zamuvudde ku mutwe bweyawulidde…

Read More