Amagye ga UPDF agali mu ggwanga lya Central gakyetaaga obuyambi.
Okusaba kuno kukoleddwa bana diini abegatira mu kibiina kya Acholi religious peace initiative, oluvanyuma lwabamu ku bali bawambiddwa abayeekera ba LRA okusisinkana abenganda zabwe.
Ssabawandiisi w’ekibiina kino Bishop Baker Ochola agambye nti kikyali kizibu kinene nyo okukuuma abantu, olwobulumbaganyi obukolebwa bayekera mu ggwanga lya Congo ne Central…
Abalwadde abalina obulemu,abasoba 500 bebafunye obujanjabi obwobwerere okuva mu ddwaliro lye Mulago, mu kawefube awomeddwamu omutwe abasawo okuva mu ggwanga lya Bungereza.
Akulemebddemu abasawo bano Dr. Trudy Owens agambye nti abalwadde bano bawereddwa ebintu omuli engatto z’abalema, obugaali n’ebintu ebirala.
Wabula Dr. Owen, alaze okutya olw’omuwendo gw’abantu abalina obulemu ku mibiri okweyongera mu ggwanga.
Banansi b’eggwanga lya Turkey 49 abali bawambibwa banalukala aba Islamic state mu ggwanga lya Iraq kyadaaki batereddwa.
Bano batuuse dda mu ggwanga lya turkey era ngakati bali mu kibuga Ankara.
Abantu bano bawambibwa okuva mu kibuga Monsul mu mwezi gw’omukaaga omwaka guno.
Banalukala aba Islamic state bongedde okufuuka ekyambika mu mawanga omuli Iraq ne Syria, era nga kino…
Okugobwa kwa Mbabazi kyongedde okukakasa ekigendererwa kya pulezidenti Museveni eky’okwesimbawo nga tavuganyiziddwa mu kibiina.
Omukwanaganya w’emirimu ku kibiina kya Citizens Coalition for Electoral Democracy in Uganda, Crispy Kaheru agamba nti kuno kwetegekera kalulu ka 2016.
Wabula alabudde nti kino kyolese okuyuza mu kibiina olw’abagaala ekibiina kino ekifo kino okweyongera buli lunaku.
Kaheru era agamba nti ekibiina kya NRM…
Bannansi ba Scotland bagaanye okwekutula ku Bungereza ku kalulu k’ekikungo akakubiddwa bannansi.
Abalonzi 31 ku 32 basazeewo okusigala wansi wa Bungereza
Ssabaminisita wa Bungereza David Cameron agambye nti musanyugu nti Bungereza yakusigala kitole era eggwanga lyakweyongera okwegatta.
YYe omukulembeze wa Scotland akkirizza ebivudde mu kalulu kyokka n’analangirira nga bw’agenda okulekulira
Mu ggwanga lya Sierra Leone abantu bassiddwaako natti okutambula okumala ennaku ssatu n’okigendererwa ky’okulemesa ekirwadde kya Ebola okubuna
Abantu bangi babadde batya okutambula okugenda mu malwaliro okufuna obujjanjabi kyokka nga katia basawo bakuva nju ku nju
Abasawo abasoba mu mitwalo esatu era bagaba ssabbuuni n’okusomesa abantu ku ngeri y’okwewalamu keirwadde kya Ebola
Ate mu ggwanga lya Guinea, emirambo…
Abali mu lutalo lw’okulwanyisa okufuuweeta sigala basabye palamenti okwanguyiriza okuyisa etteeka erinayongera okukugira okumukozesa .
Nga boogerako eri bannamawulire, abakulu bano bagambye nti ekya kkampuni ezimu ezikola taaba okuggalawo kigendereddwaamu kuwa gavumenti birowoozo birala ebe ng’ebivaako.
Ebbago ly’etteeka ku taaba lyakukaliga abakola taaba n’abamunywa ekyeralikirizza kkampuni ezitali zimu
Akulira ekibiina ekirwanyisa taaba ekya Centre for Tobacco Control in…
Kkooti Enkulu mu Kampala eragidde bawanyondo ba Kkooti bakwate omuyimbi Eddy Kenzo olw’okulemererwa okusasula amabanja.
Okusinzira ku kiwandiiko kya kkooti nga kiriko omukono gw’omuwandiisi Muhammad Kasakya, Kenzo alina okukwatibwa obutasukka bbalaza ssabbiiti ejja
Kkooti eragidde atwala poliisi y’oku luguudo lwe Jjinja mu kampala okukwatagana ne ba wanyondo bakwate omuyimbi Kenzo olw’okulemererwa okusasula obukadde buna ezamuweebwa okuyimba mu…
Abantu babiri beebattiddwa ku kyaalo Eria ekisangibwa e Moyo
Atwala poliisi mu kitundu kino Josephine Angucia agambye nti bano balumbiddwa mu maka gaabwe
Abantu abalala abasoba 10 beebakoseddwa ate enyumba bbiri neziteekerwa omuliro
Abagenzi bategerekese nga Grace Ajua omusudaani ne Annet llilia.
Abantu bataano bbo tebamanyiddwaako mayitire
Tewali muntu yakwatiddwa.
Ekifo kye moyo kibaddemu entalo ng’ebuzibu bwonna buva ku ntalo.
Abadde ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi avuddemu omwaasi ku by’okumugoba ku kifo kino.
Mbabazi yeebazizza pulezidenti Museveni olw’okumussaamu obwesige n’amuwa omukisa okuwereeza bannayuganda.
Mbabazi agambye nti wakusigala ng’aweereza eggwanga lye mu ttuluba lyonna ly’anaasobola.
Mu ngeri yeemu ayozayoozezza Dr. Ruhakana Rugunda olw’okulondebwa okumusikira n’agattako nti mukakafu nti alina obusobozi obutambuza eggwanga
Mbabazi yeeyazizza abantu b’akoze nabo emirimu okumala…