Poliisi eriko abasajja babiri abateberezebwa okubbira mu taxi b’etaasizza okuttibwa
Abasajja bano bakwatiddwa ababodaboda ababasimbyeeko wali ku nkulungo ye Mulago.
Abasajja bano babadde balondoolwa Robert Mukasa gwebanyazeeko ensimbi obukadde mukaaga akawungeezi akayise, era bwabasanze e Wandegeya nabateekako bodaboda okubagoba .
Aduumira poliisi ye Kimwanyi Mulago Sylvester Mukula atubuulidde nti poliisi weetukidde ng’emiggo gyebabasimbye giwera
Minisitule ekola ku by’enjigiriza eyongezezzaayo nsalessale w’abayizi okussa emikono ku ndagaano y’okwewola
Akakiiko akasakirira ebyenjigiriza ebya waggulu kategeezezza nga bwekajja okusigala nga kassa emikono ku ndagaano zino
Endagaano eno eyoleka eri abayizi gyebanaasasulamu kyokka nga ku lw’okutaano lwa ssabbiiti ewedde, bangi ku bayizi abaasaba ensimbi zino baali tebannassa mikono ku ndagaano
Akulira akakiiko kano Micheal Wanyama agamba nti…
Kaliisoliiso wa gavumenti ategeezezza nga bwewaliwo ekibondo ky’abakozi ba gavumenti nga bano ogwaabwe kwakulya nguzi
Irene Mulyagonja agamba nti ekibinja kino kiyingidde minisitule ezitali zimu nga kikozesa amakubo ga takinologiya ow’omulembe okunyagulula eggwanga
Mulyagonja okwogera bino abadde atongoza enteekateeka emanyiddwa nga Strengthening Uganda’s Anti-Corruption Response ng’eno gavumenti ya Bungereza y’egiwomyeemu omutwe
Mu nteekateeka eno, Bungereza mw’eyise okuwaauo obuwumbi…
Pulezidenti Museveni agamba nti wagenda kubaawo enkyukakyuka ez’omuggundo mu kitongole ekisikiriza banaggagga mu ggwanga
Kino kigendereddwaamu kulaba nti bamusiga nsigo bakoma okubonabona n’obukwakkulizo obusukkiridde mu kutandikawo bizinensi.
Pulezidenti okwogera bino abadde asisinkanye bannayuganda ababeera emitala wa Mayanja mu kibuga Texas.
Pulezidenti agamba nti bataddewo emeeza ey’enjawulo egenda okukola ku bamusiga nsigo okuva ebweru mu minisitule ekola ku nsonga…
Omuntu omu afiridde mu muliro ogukutte enyumba mu disitulikiti ye Mukono
Omugenzi ategerekese Yudah Kibuuka omutuuze we Walusimbi e Nama Mukono.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti okunonyereza okukoleddwa kulaga nti omugenzi kirabika yeerabiddeko akasubbaawa
Omusajja ono yasangiddwa mu nju ye nga mufu wajjo nga tewali kiyinz akutaasibwa
Daily monitor olwaleero eyongedde okusiima abasajja n’abakazi b’oyitako nga batunda amawulire ku nguudo
Buli anatunda empappula za Dailymonitor eziwera wakufunanga ekirabo
Bano era olwaleero babaera baddizza abantu ebirabo ebitali bimu omuli manvuuli, emijoozi , amabaafu n’ebirala
Ekibiina ekiddukanya liigi y’eggwanga kiyimirizza omupiira wakati wa tiimu ya Simba FC ne Sowana
Kino kikoleddwa okusobozesa bannabyamizannyo okukungubagira Fahad Musana eyafudde wakati mu mupiira gwa Mancity ne Chelsea.
Musana yakutuse mu kaseera Mancity weyateebedde goolo yaayo.
Akulira Uganda pulimiya liigi Bernard Bayina amaanyi agamba nti bakuwerekera omugenzi okuziikibwa e Iganga.
Wajja kubaawo era okusirikiriramu okusabira omugenzi.
Omukazi abadde akooye okukwanibwa olutaggwa asazeewo okufuna ebbeere ery’okusatu
Jasmine agambye nti abasajja bamukwana nnyo ng’abadde ayagala kusalako abamu ng’afuna ebbeere ery’okusatu.
Okumusaako ebbeere lino asasudde emitwalo gya doola 2
Ab’ebyobulamu mu disitulikiti ye Lwengo benyamidde olwa kabuyonjo z’olubatu eziri mu bitundu ebitali bimu
Akulira okulondoola ebyobulamu mu disitulikiti ye Lwengo David Mugabi agambye nti okunonyereza kwebaakoze kulaga nti abantu ebitundu 20 ku kikumi beebalina kabuyonjo.
Ono agamba nti ebimu ku bifo ebisinga okuba obubi kwekuli Kingo, Kisekka ne Lwengo Rural.
Ono agamba nti abantu bangi bakyaama mu…
Abakugu bazudde enkola abasawo gyebayinza okukozesa okutegeera abaana abazaaliddwa n’ekirwadde kya mukenenya.
Minisitule y’ebyobulamu etongozezza enkola eno ekozesa ekyuuma eky’omulembe
Minisita akola ku byobujjanjabi ebisookerwaako Sarah Opendi agamba nti luli kibadde kibatwalira ssabbiiti bbiri ekitono ennyo okukebera omwana kyokka nga kati kyakumala ssaawa busaawa.
Omu ku bakulembeddemu okuzuula ekyuuma kino Dr Laurdes Nadala agamba nti abaana abaweza ebitundu…