Abateberezebwa okubeera abatujju abakwatbwa gyebuvudeko mu Kisenyi olwaleero basimbiddwa mu kkooti era nebasindikibwa ku alimanda
Bano batuusiddwa wakati mu bukuumi kasiggu ku kkooti enkulu olw’eggulo lwaleero.
Babadde 10 nga kuliko abasomali 9 ne munnakenya omu ategerekese nga Mohammed Yusuf Farah.
Ku ba somaali abasimbiddwa mu kkooti kuliko abakyala babiri nga ku bano kwekuli Yasmine Adrai aden ne Ahmed…
Mu Georgia omukazi abadde anonyezebwa poliisi yekukumye mu woveni eyokya.
Ono poliisi ebadde ewmuwenja olw’ebbanja asangiddwa nga atuuyanidde yenna mu Oven gyeyekukumye oluvanyuma lw’amaka ge okuzingibwako.
Desma KaShay Brown, 25, yakozesa kaadi ya munne eya banka olwo n’atumya engoye za doola 428.
Poliisi ezze emuyigga kwekusalawo okwesonseka mu oven olutuukiddwako.
Eyo nno y’ensi.
Mu mawulire g’ennaku Taata wa David Sejusa abanji gwebamanyi nga Gen Tinyefuza Mzee Simon Peter Rwajojo afudde.
Ab’oluganda lw’omugenzi bategezezza nga omugenzi bwasizza omukka ogusembayo nga bukya olwaleero mu ddwaliro ekkulu e Mulago mu ward 6 gyeyatwalibwa nga ekirwadde ky’omutima kimuli bubi.
Omwogezi w’eddwaliro ly’emitima Chris Kwesiga agamba Muzeeyi Rwajojo azze ajanjabibwa mu ddwaliro lino naye nga…
Poliisi e Mbirizi mu disitulikiti ye Lwengo eriko omusajja gwetaasizza okugajambulwa abatuuze nga bamulumiriza okutta munne omwezi oguwedde.
Kigambibwa nti Kabenge yatta Samuel Moses omwezi oguwedde bweyali ava okulaba omupiira mu kibanda olwo n’amalamu omusubi nga era poliisi ebadde emuwenja.
Waliwo omutuuze atemezza ku poliisi nga abatuuze bwebabadde bakkaklanye ku Kabenge nga bamuwuttula nayo n’eyingirawo okumutaasa.
Omwogezi wa…
Omubaka omukyaala owa Kampala Nabila Nagayi awagidde eky’amyuka loodi meeya Suleiman Kidandala okujira nga atuula mu kifo kya mukamaawe Erias Lukwago yadde yamugobye.
Nabilah agamba tewasaanye kubeerawo kubuzabuzibwa ku kya Kidandala okujira nga akola nga loodi meeya kubanga bannakampala beetaaga okuweerezebwa.
Bino webijidde nga wakyaliwo okulumangana ku city hall olwa loodi meeya Lukwago okugoba omumyuukawe nga ate…
Kamalabyonna wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga asabye abantu okulwanirira byebagaala
Katikkiro abagamba nti omuntu yenna aba alina okuzibiriza okufuna by’ayagala n’okukkiriza nti kisoboka
Bino katikkiro abyogeredde ku ssomero lya St Henrys ku lugendo lwe olw’okusonda ettofaali mu gombola ya Makindye saabagabo
Katikkiro era eno gyasinzidde n’ategeeza nti ebiseera nga Uganda ne Buganda eby’omumaaso biri mu baana nga…
Emirimu gizzemu okusanyalala ku luguudo lwa Nasser oluvanyuma lwa poliisi okukuba omukka ogubalagala mu basuubuzi ababadde bekalakaasa lwa bbula ly’amasanyalaze.
Bano batadde emisanvu mu luguudo wakati ssaako n’okukuma omuliro nga kino kisanyalazza nnyo eby’entambula.
Kino kiwalirizza poliisi okubagumbulula era gyebigweredde kubakubamu mukka gubalagala.
Lwo oluguudo lubadde lukyagaddwa olw’effujjo erikoleddwa.
Wiiki ewedde abasuubuzi bekalakaasa ku nsonga yeemu .
Waliwo abalongo ba nabansasaana abazaaliddwa mu ddwaliro lye Soroti.
Esther Akello ow’emyaka 19 mutuuze ku kyaalo Omulala mu gombolola ye Asuret e Soroti
Abaana bano beegattira ku bubina.
Atwala eddwlairo lino Dr Emmanuel Batibwe agambye nti omuwala ono bamuwadde ekitanda olunaku lwajjo ng’olubuto lumuluma kyokka n’alemererwa okusindika,kwekumulongoosaamu abaana bano.
Omukyala ono yeetaga obukadde 10 okulongoosa abaana bano kyokk ang’abasawo…
Abadde ssabaminista John Patrick Amama Mbabazi atuuse mu palamenti wakati mu mizira okuva mu babaka ba palamenti.
Mbabazi ayambadde essuuti ya blue n’ettaayi ya kyenvu ayaniriziddwa babaka banne era emirimu wano gisanyaladde.
Ayiseewo butereevu okutuuka ku ntebe y’okusatu w’atudde
Mbabazi leero lw'asoose okutuuka nga palamenti nga ssi mukulu bukyanga agobwa
Mbabazi agamba nti kimukakatako okusigala ng’akiikirira abantu be Kanungu…
Olwaleero kizuuse nti ababaka abamu tebalina mbalirira ya nsimbi ezibaweebwa okutambula
Akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’ababaka olwaleero kassiddwa ku ninga okunyonyola lwaki kasirika ng’ababaka balyazamaanya ensimbi z’omuwi w’omusolo.
Ensimbi eziwerera ddala obukadde 40 zeezitaliiko mbalirira nga zino zaali zakutambuza babaka okugenda emitala w’amayanja
Omuwandiisi wa palamenti, Jane Kibirige ategeezezza nti bafubye okugamba ababaka bano okuzza ensimbi…