Polisi ye Luweero etandise omuyiggo gw’abooza emmotoka abatomedde abantu 3 nebabattirawo.
Kigambibwa nti bakanaabe bano basimbudde emotooka ekika kya Saloon UAD 436W gyebabadde bayoza, era nebatomera omukyala n’omwana we wamu n’omugoba w’akagaali ku kyalo Piida ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bwa Ssavana n Lameck Kigozi agambye nti abafudde kuliko…
Amaggye ne poliisi wetwogerera nga beebulunguludde amaka g’abadde ssabaminisita John Patrick Amama Mbabazi.
Emotoka za poliisi bbiri zisimbye ebweru ate nga munda namwo mulimu bannamaggye ne poliisi.
Amaka agoogerwaako gasangibwa ku luguudo olumanyiddwa nga Kal e Kololo.
Amaggye gakulembeddwaamu Brig Leo Kyanda nga bano tukitegedde nti bagezaako kujjako Mbabazi bakuumi bannamaggye okuzzaawo aba poliisi
Okusinziira ku muwala wa Mbabazi,…
Palamenti olwaleero esuubirwa okusiima ttiimu y’abakyala ey’okubaka eya she cranes.
Ttiimu eno yakomyewo okuva e Botswana nga eyiseemu okuzanya mumpaka z’ensi yonna mu Australia Omwka ogujja oluvanyuma lw’okuwangula enzanya zaayo zonna.
Poliisi e Mbale ekyanonyereza ku kufa kw’omukulembeze w’essomero lya Nabumali High school.
Olunaku olw’eggulo John Mungoma yafudde mungeri etategeerekeka nga abamu bagamba nti yesse.
Omwogezi wa poliisi mu bugwanjuba bw’eggwanga Diana Nandawula agamba yadde nga abasinga balowooza yejje mu budde, ab’enyumba y’omugenzi babisambajja nga bagamba weyafiiridde y’abadde akyaali ku ddagala olw’obukosefu.
Kati ab’oluganda baawereddwa amagezi okwongera okukebeza omulambo…
Poliisi ye Matete mu disistulikiti ye Ssembabule eri ku muyiggo gw’abatemu abatanategeerekeka abaalumbye omuvuzi wa Bodaboda abaamuwutudde nebakuliita ne pikipikiye UED 217D..
Ben Africa alilojja nti yawonedde watono okufa oluvanyuma lw’abasajja 2 okumulumba nga annyuka nebamukuba mizibu olwo nebakuulita ne pikipikiye.
Dalauusi Jumba nga ono ye ssentebe wabavuzi ba bodaboda e Mateete agamba munnaabwe ono yataasiddwa abant…
Poliisi ekyayiiriddwa okwetolola essomero lya kigezi high oluvanyuma lw’olutalo wakati w’abayizi aba O ne A level.
Olunaku olw’eggulo abayizi b’ebibiina ebyawansi baatabuse oluvanyuma lw’abanaabwe okubayeeya okwambala empale enyimpi ekyaviiriddeko olutalo.
Bano nabo baasazeewo okwambala empanvu okwenkanakana n’aba A-level abakulu kyebattakirizza olwo embooko n’evuga n’ejinja neritandika okwesooza mu bbanga.
Aduumira poliisi ye Kabaale Arop Bosco agamba basazeewo abakulira essomero…
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyaalo Buduma mu disitulikiti y’e Jinja oluvanyuma lw’okutemulwa kw’omusuubuzi omututumufu.
Omugenzi Steven Mugabe asangiddwa nga omulambo gwe gwonna gujuddeko ebiwundu
omulambo gw’omgenzi gubadde gugangalamye mu kitaba ky’omusaayi mu nyumba y’abaliraanwa nga gutemeddwako omutwe n’emikono.
Ssentebe w’egombolola ya Busagala Abdullah suuta agamba omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Jinja okwongera okwekebejebwa.
Eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya yatandise dda kakuyege w’okwesimbawo ku bwapulezidenti mu 2016.
Bukenya olwaleero atongozza ttiimu y’abantu abagenda okumuyambako okuwenja akalulu okwetolola eggwanga.
Ekibinja kino mulimu abavubuka, nebannabyabufuzi abakuukutivu nga bano baakukuyega bannaabwe mu bibiina by’obufuzi ebyenjawulo.
Bino Bukenya abyasanguzizza mu lukungaana lw’abannamawulire nga aggulawo ofiisi ye e Rubaga.
Bukenya akyalemeddeko nga bwagenda okwesimbawo mu 2016 avuganye…
Abantu abalalu gyebali mu nsi eno
Omusajja asazeewo okugenda mu dduuka lya Mark and Spencer n’aliyimirira wakati olwo n’atandika okukojowa
Asoose kwetoloola dduuka kino nga tannatandika kukojowera bintu birimu era bya pawunda 280 byebyonoonese.
Omusajja ono ekyewunyisizza nti olumaze n’afuluma nga talina ky’aguze
Bino byonna bikwatiddwa ku lutimbe lwa CCTV era ng’omuyiggo okumukwata gugenda mu maaso.
Oluvanyuma lwa kkooti okukaliga omukyala Jacqueline Uwera Nsenga , ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abakyala ebyenjawulo bivuddeyo okusiima kkooti olw’ekibonerezo kino.
Omukyala Regina Bafaki nga ono y’akulira ekibiina ekya ACFODE agambye nti kino ekibonerezo kyabade kisaana ku muntu ng’ono, kuba kigenda kuwa abalala eky’okuyiga obutenyigira mu bikolwa nga bino
Kinajjukirwa nti akawungeezi akayise, Nsenga yakaligiddwa emyaka 20 , oluvanyuma…