Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Bukomansimbi bayisizza etteeka eri abakozi bonna okutuula ewaka nga 6 October balanyise ekirwadde kya kiwotokwa ekimazeewo ebitooke n’ekirwadde ky’emmwanyi.
Enteekateeka eno erangiriddwa ssentebe wa disitulikiti Hajji Muhamad Katerega bweyategezezza nga bwewatali kukola ku lunaku olwo abalimi basobole okulwanyisa ebirwadde bino.
Ategezezza nga ebikolo byonna ebirina ebirwadde bino bwebigenda okwokyebwa biziikibwe okwewala enddwadde zino…
E Butalajje omusajja agambibwa okutta mukyalawe yewaddeyo eri poliisi avunanibwe.
Badru Mwima 30 agambibwa okutematema Juliet Khainza oluvanyuma lw’okumumma akaboozi olwo nadduka zambwa neyewaayo eri poliisi.
Kino kyajje abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebe wa LCIII Patrick Hiire nebalumba poliisi emubawe bamwekolereko.
Akulira okunonyereza ku misango ku poliisi ye Butalejja Vicent Otyeng agamba omukwata ono wakutwalibwa mu kkooti evunanibwe.
Eby’eyali ssabaminisita w’eggwanga bikyalanda.
Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga baagala okunonyereza ku misango gyonna egy’obulyake egyali mu ofiisi ya Ssabaminisita ekiseera Amama Mbabazi kyabadde ssabaminisita.
Bano bagamba nti ekisanja kya Mbabazi nga ssabaminisita kifumbekeddemu obuli n’enguzi n’obulyake kale nga okunonyereza kwetagisa.
Bano bajukizza obuwumbi obusoba mu 200 ezaali ez’okuddukirira abaakosebwa olutalo mu bukiika kkono bw’eggwanga ezabulankana, obukadde 160…
Pulezidenti Museveni agamba nti ekibiina kya NRM ssi kyabagaala omuzannyo.
Ono agamba nti oyo yenna adda mu muzannya, wakiri ave mu kibiina.
Pulezidenti Museveni bino abyogedde ayogerako eri abantu abamwanirizza okuva mu Amerika olunaku lwaleero.
Pulezidenti akunze abavubuka okwekolamu omulimu bafune mu nteekateeka za gavumenti omuli n'egenda mu maaso ey'okuwa abavubuka ensimbi.
bannakibiina kya NRM beebategese akabaga akamwaniiriza nga…
Minisitule ekola ku by’enjigiriza etaddewo obuwumbi obusoba mu butaano okuzimbira abasomesa ba pulayimale amayumba
Kino kiddiridde okwemulugunya ku basomesa abangi abeepena okusomesa olw’engendo zebatindigga okugenda okusomesa naddala mu byaalo.
Minisita ow’ebyenjigiriza ebya waggulu, J.C Muyingoagamba nti nga kino kiwedde, amaanyi bakugateeka ku basomesa aboosa kubanga tewakka kubaawo kyekwaaso kyonna.
Minisita agamba nti teri kikosezza byenjigiriza ng’abayizi n’abasomesa aboosa
Abantu okuva mu maka agasoba mu 200 basenguse okudda mu maka gaabwe e Buduuda
Bano beebamu ku bava mu maka 600 abasengulwa nebatwalibwa e Kiryandongo oluvanyuma lw’okusengulwa ettaka eryabumbulukuka ku lusozi Elgon
Ssentebe wa disitulikiti John Baptist Nambeshi agamba nti abantu bano bagamba nti ettaka gyebatwalibwa ssi jjimu kale nga tebasobola kulima
Nambeshi agamba nti abantu bano basazeewo…
Omusajja akutte ku katima mu maaso g’omu poliisi emirundi ebiri aggaliddwa lwakukyankalanya mirembe mu kitundu
Malcolm Gill, okuva mu kibuga Dalton akkiriza nti omukka gumutoloseeko ng’abadde takyasobola kwekuniza
Omupoliisi gw’akosezza y’amukutte n’amutwaala mu kkomera era n’asimbibwa mu mbuga z’amateeka
Amaloboozi agasaba nti abadde ssabaminisita Amama Mbabazi ayogera ky’ayagala geeyongedde
Munnamateeka wa gavumenti empabuzi, Medard Lubega SSegona agamba nti Mbabazi wakutuntuzibwa ekiyitiridde ssinga asalawo okusirika nga keekadde alangirire oba wakwesimbawo kitegerekeke.
Ssegona agamba nti Mbabazi wakukolebwa buli ekimuswaaza n’ekigendererwa ky’okumumalamu amaanyi
Wabula yye omubaka we Mityana mu bukiikakkono . Godfrey Kiwanda agamba nti Mbabazi yandibadde abivaako kubanga eby’okwesimbawo…
Banakibiina kya NRM mu district ya Kampala ne Wakiso bekozeemu omuli okwaniriza omukulembeze w’eggwanga olunaku lw’enkya ku kisaawe Entebbe,ngakabonero akokumwebaza okulonda Dr. Ruhakana Rugunda ku bwa Ssabaminister.
Bano nga bakulembeddwamu minister akola kuno naguli Richard Twodong era bategezeza ng’omukulembeze w’eggwanga bweyaweseza eggwanga ekitibwa mu lukungaana lw’ensi yona kubutonde bw’ensi olwabadde mu ggwanga lya America.
Ssentebe w’egombolola ye…
Amaggye g’eggwanga gatankanye ebyafulumira mu alipoota eyakolebwa ekibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya e Human rights Watch ku Somalia
Alipoota eno yayoleka nga ab’amaggye ga UPDF bwebadda ku bakyala ate beebalina okukuuma nebabavvoola omuli n’okubakaka omukwano.
Ng’ayogerako eri bannamawulire Gen Katumba Wamala ng’ono y’aduumira amaggye agambye nti elipoota eno teyandibadde mbi naye abajaasi ebatwalira wamu
Kyokka ono agamba nti…