Wabaluseewo akavuyo ku ddwaliro ekkulu e Mulago oluvanyuma lw’emirambo gy’abafiira mu ggwanga lya South Sudan okukomezebwaawo.
Kino kiddiridde abe Mulago okwagaala okusooka okwekebejja emirambo , abafiirwa kyebagaanye nga bagamba nti gano malya nsimbi.
Bano bagamba nti abantu bano batwalibwa mu ddwaliro e Juba kale nga tewali nsonga lwaki babekeneenya
Emirambo nno egituuse gibadde 9 yadde nga ku lukalala…
Abantu 2 bakwatiddwa oluvanyuma lw’okusuula obubizzi 4 mu makkati g’oluguudo lwa Bombo Road.
Ababiri bano kuliko omusajja n’omukazi nga bateberezebwa okusuula obubizzi buno obusiigiddwa langi ya Kyenvu kumpi ne kanisa ya Watoto.
Akamu ku bubizzi buno kabadde kambaziddwa enkofiira wamu n'ebigambo ebivumirira entujjo ya KCCA etegekeddwa ku wiikendi eno
Waliwo n’emmotoka UAL 370S ekwatiddwa.
Gyebuvuddeko waliwo abavubuka babiri abaakwatibwa…
Palamenti emaze okuyisaamu Dr Ruhakana Rugunda nga ssabaminisita omuggya
Ababaka awatali kwetemamu bibiina abawerea ddala 217 beebawagidde Rugunda abeere ssabaminisita ku babaka 225
Sipiika Rebecca Kadaga ayisizaamu Rugunda yadde nga waliwo ekibinja ekibadde kiwakanya eky’omukulu ono okufuuka ssabaminisita nga bamulumiriza okwezibika ensimbi z’olukiiko olugatta bannakyeewa ne bannabyafuzi ku nongoseresa mu mateeka g’eby’okulonda
Kadaga agambye nti ofiisi ye yanonyereza…
Omulenzi eyazaalibwa nga talina maaso , nyindo oba mimwa wakulongoosa feesi ye eterezebwe
Yahya Zohra yazaalibwa bw’ati olw’amagumba agaana okwekola ng’ali mu lubuto
Bazadde b’omwana ono abava mu ggwanga lya Morocco balemererwa okufuna omukugu mu ggwanga lyaabwe nga kati baamututte mu ggwanga lya Australia okukolebwaako
Emiwendo gy’ebintu gyongedde okukka mu mwezi oguwedde
Kino kibaddewo yadde nga gavumenti yaleetawo emisolo ebipya naddala nga ku mafuta
Omukulu mu kitongole ekikola ku miwendo gy’ebintu Sam Kaisiromwe agamba nti yadde basanze obuzibu obutali bumu, basanyufu nti basobodde okulemesa emiwendo gino okupaaluka
Vincent Nsubuga okuva mu kitongole kino anyonyola agamba nti ebisinze obutalinnya bizimbisibwa
Aba kkampuni y’abaasi eya Bakulu bakkirizza okuzza emirambo gy’abo abatokomokedde mu kabenje akaagudde mu ggwanga lya South Sudan
Akabenje kano akagudde ku kyaalo Nesiti kaatuze abantu 35 ate nga bangi bakyanyiga biwundu
Addukanya awatuukira abasaabaze mu kkampuni eno, Ali Andama ategeezezza nti bamaze okuwereeza emmotoka egenda okuzza emirambo
Andama asabye ab’enganda z’abagenzi okutandika okukima emirambo gyaabwe okutandika n’olunaku…
Poliisi erangiridde nti akakiiko ka TAPSCOM nga kano keekaddukanya omulimu gwa Taxi ku lwa KCCA kaliwo mu bukyaamu
Kiddiridde okusisinkana abagoba ba taxi ababadde beemulugunAbagoba ba taxi balumbye poliisi ya CPS nga bemulugunya ku kakiiko kya TAPSCOM
akulira aba Taxi Mustapha Mayambala ategeezezza nti batuntuzibwa aba TAPSCOm bano nga babasaba ensimbi z'okutikka emmotoka zaabwe kyokka nga zino…
Akakiiko ka palamenti akakola ku by’obuzimbi kagaala gavumenti eyirire abasuubuzi abasengula okuva ku luguudo lw’eggaali y’omukka mu ndeeba.
Abasuubuzi abasoba mu 300 beebafumuulwa okuzimba oluguudo lw’eggaali olw’omulembe
Akulira akakiiko kano Ephraim Biraaro agamba nti kyaali kikyaamu KCCA okusengula abantu bano nga ne palamenti temanyi
Bbo abasuubuzi basanyukidde ekikoleddwa ababaka nga bagamba nti bafiirwa amaali yaali kale nga kino…
Ababaka ba palamenti okuva mu NRM bagaala enkyukakyuka mu mateeka agabafuga.
Kati okwesimbawo ku bwapulezidenti ku tiketi y’ekibiina olina okusasula obukadde 20 mu ggwanika ly’ekibiina.
Bino by’ebimu ebyatuukiddwako ab’akabondo ka NRM akawungezi akayise.
Kati agenda okwesimbawo ku bwa memba wa palamenti olina kusasula obukadde 3 nga ensimbi zino zigendereddwamu kusakira kibiina ssente zikiyimirizawo.
Nampala w’ekibiina kino Justine Lumumba agamba…
Mu ggwanga lya Liberia waliwo omwana ow’emyezi ebiri akuze okufuuka omusajja mu busekonda
Maama w’omwana ono agambye nti yabadde aweese omwana we nga bagenda okulima n’ayogerera mu mugongo nti amuse wansi
Omukyala ono agamba nti olwassizza omwana bwati mu kutya nga takakasa nti y’ayogedde, yagenze okulaba ng’afuuse omusajja omukulu.
Omwana ono wabula atandikidde mu kuyombesa jjajja we ng’amubuuza…