Emirimu gisanyaladde ku ddwaliro e Mulago ng'eddwaliro litandika okuddabirizibwa
Abalwadde bonna ababadde mu waadi 1 1A, 2 A, 3 A, 4A, 5 A ne 6A basenguddwa okudda ku kizimbe okuli B ne C.
N'awatuukira abayi ( casualty ) nawo bakyusiddwa nga kati abalwadde batuukira mu waadi 2B
Mu kino, abalwadde bangi n'ababalabirira basigadde bemagazza
Omwogezi w'eddwaliro lye Mulago Enock Kusaasira…
Mu kibuga Oakland ekya California embwa yesimbyeewo ku bwa meeta
Embwa eno ewagiddwa abamu ku bakulu ku kyaalo abagamba nti ejja kutegeera bulungi esonga zaabwe
Abakulu bano abatambula n’embwa eno nga bagiyiggira akalulu bagambye nti kino bakikoze okujja obuyinza waggulu okubuzza mu bantu
Ekitebe kya Uganda Muslim Supreme Council kifulumiza entekateka za Eid Adhuha olunaku lw’enkya.
Okusaala kwakutandika ku saawa 3 ez’okumakya wali ku muzikiti gwa Old Kampala era nga kwakulemberwamu mufti wa Uganda sheikh Shabana Ramadham Mubajje.
Omwogezi wa Uganda Muslim supreme council Hajji Nsereko Mutumba asambye abantu okukuuma ebiseera.
Yye akulira abatabuliiki Sheikh Sulaiman Kakeeto asabye abayisiraamu okukozesa olunaku…
Entiisa abuutikidde abatuuze be Kalerwe mu Kibe zone bwebagudde ku mulambo gw’omwana ow’emyaka 5 nga gusuuliddwa mu Kabuyonjo.
Jaaja w’omwana ono ategerekese nga Birungi agambye nti omwana ono Samutha Talida yabula enaku 5, oluvanyuma lwokuwambibwa omusajja atanategerekeka.
Kiteberezebwa okuba nti omwana ono yasoose kusobezebwako ngatanatibwa.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yoomu ku bawereddwa emidaali mu bikujuko bya poliisi eby’okuweza emyaka 100.
Museveni awedde omudaali olw’okubeera ekyokulabirako ekirungi eri abakulembeze abalala.
Bw'abadde agaba emidaali gino, ssentebe w’akakiiko akagaba emidaali Gen Elly Tumwine asabye bannayuganda okuyiga okusiima abantu abakoze ebirungi nga tebanafa
Abalala abawereddwa emidaali mwemuli Ssabadumizi wa poliisi Gen Kale Kayihura, eyali ssabaduumizi wa…
Omusawo munnayuganda ayatwalibwa mu ggwanga lya Sierra Leon okujanjaba ekirwadde kya Ebola akwatiddwa ekirwadde kino.
Omusawo ono kati addusiddwa mu ddwaliro mu kibuga Frankfurt mu ggwanga lya German era ng’ayawuddwa ku balwadde abalala.
Abantu abasoba mu 3,000 beebakafa ekirwadde kya Ebola mu mawanga ga West Africa ate ng’abantu abasoba mu 7,000 beebakakwatibwa ekirwadde kino.
Mu…
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akunze bannamakolereko okubeera abasaale mu kutumbula enkulakulalana mu ggwanga.
Museveni okwogera bino abadde aggulawo omwoleso gw’abannakolera wali mu kibangirizi ky’abwe e Lugogo.
Museveni agambye nti gavumenti yakwongera okulaba nga ebeeyi y’amasanyalaze eyongera okukka, okusobozeza bannamakolero okukola obulungi emirimu gyabwe.
Museveni era atendereza omugenzi James Mulwana olw’omulimu gweyakola okutumbula amakolero mu ggwanga.
Amakampuni agasoba mu…
Waliwo Omuyizi okuva mu ssomero lya Nalufenya primary School mu disitulikiti ye Pallisa agobeddwa lwakusangibwa nga alina siriimu.
Shakulu Bakubwe ow’emyaka 10 y’agobeddwa ku ku bigambibwa nti obulamu bwe butadde obw’abayizi abalala mu katyabaga.
kigambibwa nti nebazadde b’omwano ono baafa siriimu, nga maama we yaffa mu 2011 ate kitaawe mu 2013.
wabula omukulu w’esomero lino Sikola Emanut ategezeza…
Okwekalakaasa mu Hong Kong kwongedde okunyikira nga kati poliisi bugyefuka n’abeekalakaasi.
Abayizi bano bazinze ekitebe kya gavumenti nga bagala omukulembeze alekulire
Abayizi bano baweze okuyingira ebizimbe bino bawambe gavumenti ssinga ensonga zaabwe teziwulirwe
Abeekalakaasi bawakanya ekya China okubasalirawo ani anesimbawo mu mwaka 2017 nga bbo balumiriza nti betongola dda tebetaaga ate China kudda
Ssabalabirizi wa Uganda eyawumula Mpalanyi Nkoyoyo ategeezezza ng’omulimu gw’okuzimba ekifo omuterekebwa ebyafaayo ku biggwa by’abajulizi e Namugongo bwegutambula obukwakku.
Ssabalabirizi okwongera bino abadde alambuza ssabasumba Stanley Ntagali wamu n’olukiiko oluzimba ekifo kino omulimu w’egutuuse wakati mu kwetegekera okukyala kwa pulezidenti Museveni .
Museveni wakusimba e Jinja mu kifo kino ku lunaku lwa Sande nga 5.
Mpalanyi Nkoyooyo agambye…