Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Omusajja atemyeko mukyala we omutwe lwa bwenzi

E Sembabule Lwemiyaga omusajja akkidde mukyala we n’amutemako omutwe ng’amulanga bwenzi. Julius Agaba kati aliira ku nsiko oluvanyuma lw’okusanjaga kabiite we  Molley Kyalimpa. Kigambibwa nti ababiri bano baludde nga banenengana okutuusa ekiro ekikeesezza olwaleero Agaba bw’akomyewo ewaka n’akuba mukyala we nga amulumiriza obwenzi oluvanyuma n’amusalako omutwe. Abatuuze beebagudde ku mulambo gw’omugenzi oluvanyuma lw’okulaba omusaayi nga gukulukuta okuva mu…

Read More

Paapa Francis afunye ebbaluwa emuyita

Paapa Francis akkirizza okufuna ebbaluwa emusaba okukyalako mu Uganda mu mwaka ogujja Okusinziira ku kibiina ekigatta abakatolika, papa yamaze okuwandiikira pulezidenti Museveni ng’akakasa nti afunye ebbaluwa Paapa singa akkiriza ajja kuba akyaala mu Uganda okweaba ku mikolo gy’abajulizi e Namugongo omwaka ogujja Pope Francis yali asuubirwa mwaka guno kyokka n ga tekyasoboka

Read More

Obulwadde bwa Marburg- Gavumenti tetudde

Omuwendo gw'abantu abateberebezebwa okubeera n’ekirwadde kya Marburg gwongedde okulinnya. Abalala 17 baawuddwa mu bantu abalala nga kati abateberezebwa okubeera n’ekirwadde kino bali 97 Alondoola endwadde ezibalukawo mu minisitule y’ebyobulamu Dr.Isa Makumbi agamba nti batandise n’okusomesa abasawo e Mengo ku ngeri gyebayinza okukwatamu abantu abalina ekirwadde kino. Makumbi agamba nti abantu basaanye okubategeeza amangu ddala nga waliwo gwebekengedde Olunaku lwajjo,…

Read More

Omuyizi eyagobwa ku ssomero- bannakyeewa batabuse

Ekyamangu kirina okukolebwa okubonereza abaagobye omuyizi olw’okubeera n’obulwadde bwa mukenenya Abalwanyisa obulwadde bwa Mukenenya bagamba nti ekikolwa ky’okugoba abalina obulwadde bwa mukenenya tekikkirizika era kirina okuvumirirwa Kino kiddiridde omuyizi ku ssomero lye Nalufenya Primary school e Pallisa okugobwa ku ssomero lwakubeera na siriimu. Akulira ekibiina ekigatta abalina obulwadde bwa mukenenya, Margret Happy agamba nti ekikolwa kino kyalinyirira eddembe…

Read More

Essomero lya Philly

  Ab’enyumba y’omugenzi Philly Lutaaya batongozezza eddimu ly’okusonda ensimbi ez’okuzimba essomero erinasomesa n’okulabirira abayizi abalina obulwadde bwa Mukenenya Akulira ekibiina kya Philly Lutaaya foundation Tezra Lutaaya agamba nti essomero lino lyakuzimbibwa Gomba omugenzi gyeyazaaliba Agamba nti essomero eno lyakukolanga ku bavubuka  nga bisatu nebannamwandu ababonaboona Omukulu ono agamba nti ekigendererwa mu kino kutuukiriza birooto by’omugenzi Philly eby’okulwanyisa obulwadde bwa…

Read More

Omwana awasizza nyina

Ebyempuna tebiggwa mu nsi eno Omuvubuka awasizza nyina omuto nga nekitaawe alaba Bano nno basoose kulemesebwa kubanga mu Bufaransa, obufumbo bw’omwana ne nyina tebukkirizibwa Wabula baddukira mu kkooti era n’ebakkiriza okufumbirwagana kyokka ng’ekyewunyisizza kwekulaba nga ne kitaawe yeetabye ku mikolo

Read More

Mbabazi awaddeyo ofiisi

Abadde Ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi ategezezza nga abakozi ba gavumenti bwebakola eky’amaanyi okulaba nga gavumenti etuukiriza bulungi emirimu gyaayo. Mbabazi ategezezza nga bwagenda okuwandiika ku mirimu gy’abakozi b aba gavumenti okulaga ebirungi byebakolera eggwanga. Bino Mbabazi abyogedde awaayo ofiisi eri eyamudidde mu bigere Ruhakana Rugunda era neyeyama okubeerawo buli kiseera okujuza emiwatwa gyonna ku byatatadde mu alipoota…

Read More

abasoba mu 180 baayoleddwa mu bikujjuko bya Kampala

Poliisi etandise okukumunta abo bonna abaakwatiddwa nga benyigira mu buzzi bw’emisango mu ntujjo ya KCCA eya  Kampala city festival eyabaddewo olunaku lw’eggulo. Abantu abasoba mu 180 baayoleddwa nga abasinga baakwatiddwa banyakula obusawo bw’abakyaala n’obusimu. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano  Patrick Onyango ategezezza nga mu baakwatiddwa bwemulimu n’abo ababadde ku bibaluwa bya poliisi bibakuntumye obuteyanjula nga bwebaali…

Read More

Pulezidenti alagidde ku musujja gwa Marburg

Pulezidenti Museveni alagidde minisitule y’ebyobulamu eyanguwe mangu okusomesa bannayuganda ku musujja kattira ogwa Marburg. Minisitule y’eby’obulamu y’alangiridde nga ekirwadde kino bwekyasse omuntu omu olunaku olw’eggulo nga omulala ateberezebwa okubeera nakyo  y’akebeddwa nga era ebyavuddeyo bisuubirwa okufulumizibwa olwaleero. Pulezidenti era asabye abantu bonna okubeera bulindaala n’okwewala okukwata buli Muntu mungalo n’okweriranya buli gwebasanze. Mungeri yeemu ssabaminisita w’eggwanga omujja  Dr.…

Read More