Poliisi ekkakanyizza emitima gy’abantu egibadde gyewanise oluvanyuma lw’okugwa ku kintu kyebatebereza okuba bbomu e Lugogo.
Abantu abali okumpi ne supamaketi ya Shoprite e Lugogo bakedde mu kasattiro oluvanyuma lw’okulaba ekyuuma kyebatategeera
Bano bayise poliisi mu bwangu era nayo n’esitukiramu
Omwogezi wa poliisi Polly Namaye, agamba nti ekyuuma kino bakijjeewo awatali buzibu bwonna
Agamba nti ebyakava mu kunonyereza biraga nti…
Pulezidenti Museveni asabye bannaddiini okukulemberamu olutalo ku bulwadde bwa Marburg
Kiddiridde obulwadde buno okubalukawo mu ggwanga nga buno bwakatta omuntu omu ate abasoba mu 99 bakyalondoolwa okulaba oba baabufuna
Ng’ayogerera mu kusabira eggwanga , pulezidenti Museveni asabye bannadiini okusaba abantu okukoma okwekwata mu ngalo n’okwegwa mu bufuba okwewala ekirwadde kino
Pulezidenti y’asoose okussa mu nkola obubaka bwe nga…
Ab’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu katale ka St Balikuddembe bakontodde akulira abakozi mu kibuga olw’okuwera empooza
Musisi yaweze okukwata omuntu yenna anetantala okuwooza abasuubuzi.
Abasuubuzi nno beebamulumbye okumulojjera ennaku gyebayitam u okusasula empooza ebajjibwaako
Kati atwala eby’amateeka mu kibiina kya SSLOA Fred Kalema agamba nti Musisi tayinza kubasalirawo kubanga akatale kaabwe
Agambye nti abasuubuzi bonna bakkiriza okuwa empooza okusobola okukulakulanya…
Yuniti z’omusaayi 300 zeezisuubirwa okuva mu kawefube w’okukunga abantu okugaba omusaayi akulembeddwaamu aba Quality Chemicals.
Omusaayi guno gugenda eri bamaama abazaala nga beetaga omusaayi
Akulira Cipla Quality Chemicals Emmanuel Katongole agamba nti eggwanga lifuulwa abantu bangi olw’obutabaawo musaayi gubassibwaako
Katongole agamba nti kawefube w’okusonda omusaayi bakukoze nga bakuza nga bwegiweza emyaka omusanvu nga bawereeza bannayuganda
Omusawo enzaalwa ya Spain eyafunye ekirwadde kya Ebola kigambibwa okuba yekwata mu maaso ng’amaze okukola ku mufaaza eyali efa
Teresa Romero, ye muntu asoose okufuna obulwadde buno ng’ali wabweru w’obugwanjuba bwa Africa.
Omusawo ono yakola ku balamazi okuva mu Spain babiri nga bano baafa mwezi oguwedde
Ekibiina ky’ebyobulamu mu nsi yonna kyalabudde dda nti obulwadde buno bwakwongera okutta…
Team yegwanga eya Cranes ezzeemu okutendekebwa enkya ya leero e’Namboole nga yetegekera omupiira gwa Togo kulwomukaaga lwa week eno mukisaawe e’Namboole mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa omwaka ogujja mugwanga lya Morocco.
Team ya Togo efulumiza olukalala lwabazanyi 24 abagenda okujja e’Kampala okusamba omupiira guno nga kuno kuliko Emmanuel Adebayor aguzanyira mu team ya Tottenham mu’Bungereza.
Okusinziira…
Omusajja gwebatwaala mu kkooti oluvanyuma lw’okukwata ebifananyi by aba poliisi alabiseeko mu kkooti ng’ayambadde T-shirt eriko ebigambo ebibavuma
Michael Burns owe Florida ategeezezza omulamuzi nti tamanti lwaki abapoliisi bamwetikka ate nga baali mu kifo kya lukale
Omusajja ono yadde T-shirt ye ebaddeko ebigambo ebivuma, omusango aguwangudde
Abajaasi ba UPDF 2 beebalumiziddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa mu Somalia nga amaggye gano gawamba ekibuga kya Barawe okuva eri abakambwe ba Al shabab olunaku olw’eggulo.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olunaku olwaleero, omwogezi w’amaggye mu ggwanga Lt Col Paddy Ankunda ategegezezza nga bano bwebagenda okuddizibwa okwaboobwe essaawa yonna bajanjabibwe.
Agamba nti okuwambibwa kw’ekibuga kino kitegeeza nti ebitundu byonna…
Abantu 11 kw’abo abakwaase ku Muntu eyafudde ekirwadde kya Marburg kikakasiddwa nti tebalina kirwadde kino
Bino byebivudde mu kukebera omusaayi gw’abantu bano ku ddwaliro erikola ku buwuka obw’akabi ennyo Entebbe.
Atwala ebyobujjanjabi ebyawamu Dr.Jane Acheng agamba nti yadde abantu bano babadde n’obubonero obwefananyirizaako obw’abalina Marburg, obulwadde bwenyini tebabulina
Ku balubuyiseeko kuliko abasawo babiri okuva ku Mild may, musanvu…
Abantu bangi bagayaalirira amatu gaabwe.
Kati mu ggwanga lya Buyindi, omusajja amaze ebbanga ng’akutu kumuwuuma kimuweddeko , bw’agenze mu ddwaliro nebamusangamu ekiwuka ekyakuula
Ekiwuka kino ekyefananyirizaako ekiyenje kyasooka yo mutwe era nga bakozesezza byuuma okukisikayo.
Ekiwuka kino kigambibwa okuba nga kirabika kibadde kitandise okumanyiira nga kirwaanye okwenyweeza obutasikibwaayo