Okuwulira okujulira okweyali akulira ekitongole ekitereka ensimbi z’abakozi ekya NSSF David Chandi Jamwa, olwaleero tekugenze mu maaso oluvanyuma lw’omu ku balamuzi okubulawo.
Omulamuzi Richard Buteera talabiseeko mu kooti nga kigambibwa nti yagenze kuziika maama we, ekiremeseza abalamuzi okuli Steven Kavuma ne Kenneth Kakuru okulemererwa okuwulira omusango guno.
Jamwa kati ng'alya butaala, yasalirwa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 12, oluvanyuma…
Ekibiina ky’ebyobulamu mu nsi yonna kirabudde nti eky’obulwadde bwa Ebola okutuuka mu bibuga mu mawanga agakoseddwa kyanditabula embeera
Amyuka akulira ekibiina kino Bruce Aylward agamba waliwo okugayaala ng’obulwadde buno bwakatandika mu Guinea, Liberia ne Sierra Leone.
Amawanga gano gaasabye dda nti gongerwe ku buyambi okusobola okulwana obulungi.
Obulwadde buno bwakatta abantu abasoba mu 3800 nga ku bano kuliko…
Amaggye ga UPDF gagumizza nga bwewatali Muntu yenna ayinza kutabangula mirembe mu bitundu bye Kasese.
kino kiddiridde amawulire agaafulumye nga bwewaliwo ekibinja ky’abayeekera abazzemu okwekunganya mu buvanjuba bwa Congo n’ekigendererwa eky’okulumba Uganda.
omwogezi w’amaggye mu bitundu bya Rwenzori Capt.Ceasar Olwenyi agamba buli kimu kibali muttaano kale nga mpaawo kibinja kiyinza kulumba ggwanga
Gyebuvuddeko omubaka wa pulezidenti e Kasese …
Teri muwagizi wa mupiira nga ayambadde lugoye oluriko ebigambo by'obufuzi agenda kukkirizibwa kuyingira kisaawe ky’eNamboole okuwagira Cranes nga ettunka ne Togo olunaku olw’enkya.
kino kiddiridde abamu ku bawagizi gyebuvuddeko okwambala emijoozi egiriko obubaka bw’ebyobufuzi nga ate buvvoola.
Akulira FUFA Moses Magogo yesigamye ku buwayiro namba 3 ne 4 obulwanyisa obusosoze mu muzanyo gw’omupiira .
yye aduumira ebikwekweto bya…
Poliisi ye Kibinge e Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’omukazi atanategerekeka,nga ono yasudde omwana gweyabadde yakazaala ku ofiisi z’egombolola , nga ono azuuliddwa omuyise atemezza ku b’obuyinza abamugyewo.
Jane Nabweteme nga y’avunanyizibwa ku nsonga z’abakyala avumiridde ekikolwa kino era n’asaba okukaliriza amaaso ku bannakawere bonna abali ku kyaalo nga tebalina baana baabwe.
Ono obuvunanyizibwa abutadde ku basajja abalagajalira…
Mu kawefube w’okulongoosa ebyobulamu mu ggwanga, minisitule y’ebyobulamu ereese enkolaku yinsuwa y’obulamu
Bino byogedddwa kamisona akola ku by’okutekeerateekera minisitule eno Dr. Francis Runumi Mwesigye bw’abadde ayogerako eri bannamawulire
Agamba nti abantu bajjanga kuba basasula ssente ez’omwaka olwo bwebalwaawo nebajjanjabwa
Dokita Runumi agamba nti kino kijja nakukendeeza abantu abaddukira mu malwaliro ga gavumenti gokka
Dr. Mwesigye agamba nti kino okubaawo,…
Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Mukono bakuzzaawo enkambi z’ebyobulamu eri abakadde.
Nkambi zino zabangawo buli mwezi era nga zibeera ku bagombolola kyokka neziyimirizibwa olw’ebbula ly’ensimbi.
Amyuka ssentebe wa disitulikiti ye Mukono Kigundu Musa agamba nti bakyakola ku by’ensimbi olwo baddemu kubanga abakadde beetaga obujjanjabi buno
Pulezidenti Musweveni agamba nti endwadde ezizze zibalukawo nga Ebola ne Marburg zivudde ku bantu kwesenza ku bibira
Pulezidenti agamba nti abantu bano basemberera ebisolo by’omunsiko ng’enkima nga bino bibasiiga endwadde nebazitambuza
Asabye abakola ku bibira okunyweeza amateeka ku besenza ku bibira okukendeeza ku ndwadde
Agamba nti abakuuma ebibira balina omulimu ogukuuma n’abantu.
Bino pulezidenti abyogeredde ku mikolo gy’amefuga egy’omulundi…
Palamenti ezizzaawo omusolo gwa shs 200 ku buli liita y’amafuta g’ettaala
Kino kiddiridde pulezidenti Museveni okugoba ebyasooka okusalibwaawo nti omusolo guno guveewo ng’agamba nti gavumenti eyagala kutumbula kukozesa masanyalaze ga njuba mu kifo ky’amafuta
Omu ku babaka ku kakiiko kano Henry Musaasizi anyonyodde nti basazeewo okuzzaawo omusolo guno gwebaali bagoba okusobola okukungaanya obuwumbi 68 ez’okugula sola
Mu kukubaganya…
Bannayuganda abagenda ebweru okukuba ekyeeyo basabiddwa okutondawo enkolagana n’ebitebe bya Uganda mu mawanga gyebakola kko n’ebibiina ebibatwalayo
Kiddiridde omuwendo gwa bannayuganda abavundira mu makomera okweyongera mu mawanga agatali gamu
Bino byogeddwa akulira poliisi erwanyisa abakukusa abantu Moses Binoga bw’abadde asiibula bannayunga abasindikiddwa okukolera mu ggwanga lya United Arab Emirates.
Binoga bano abakuutidde obutayimirira bokka wabula bakole omukwano ku…