Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Bukenya wakusasula eza biici

Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya alagiddwa okusasula obukadde 40 olw’ettaka lyeyagula mu mancoolo nga ku lino kweyassa biici ye Kitomi Bukenya abadde yasabye dda kkooti nti ateese n’eyamuwaaba Charles Kiddu ng’ono amulumiriza okumubbako ettaka erisangibwa e Kagolomolo mu disitulikiti ye Wakiso Bukenya ng’ayita mu munnamateeka we Wandela Ogalo agambye nti naye bamufera bwebamuguza ettaka lino kale…

Read More

Amateeka amakakali lu bisulo by’abayizi

Poliisi eyisizza amateeka amakakali ku bannayini bisulo by’abayizi ku ttendekero lye Makerere Kiddiridde omuyizi ali mu mwaka gwe ogw’okubiri okusangibwa ng’attiddwa n’asuulibwa okumpi n’omwaala ku kisulo lya Daglous Villa mu Kikoni. Atwala poliisi ye Makerere Tomas Kasimo agamba nti ebisulo 89 bimaze okulagirwa okufuna abakuumi wakiri babiri n’okugula obuuma obukebera Kasimo agamba nti poliisi era eyongedde okulawuna ekiro …

Read More

Eby’eggaali y’omukka biranze

Eby’okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka byongedde okulanda nga kati babiyingizzaamu n’omukulembeze w’eggwanga Ababaka okubadde Theodore Ssekikubo, Wilfred Nuwagaba ne Barnabas Tinkasimire bagamba nti pulezidenti Museveni yalagira minisita omubeezi akola ku byenguudo John Byabagambi okukola oluguudo luno mu bwangu nebabuuka emitendera egyetaagisa. Nga boogerako eri bannamawulire ku palamenti, ababaka bano bagamba nti pulezidenti Museveni yasisinkana n’akakiiko akakola ku by’okugaba…

Read More

Lunaku lwa butambala buleega

Olwaleero mu nsi yonna lunaku lwabutayambala buleega eria bakyala Olunaku luno lwassibwaawo okukwatagana n’omwezi gw’okulwanyisa kokoolo w’amabeere Bannasayansi bagamba nti omuntu tasobola kwogera ku bbeere n’aleka akaleega era nga bakuutira abakyala okutwala akaleega ng’ekikulu. Ekyewunyisa nti yadde olunaku luno lwa bakyala, lusinze kusanyula baami mu Uganda  

Read More

Essalambwa libozze omwana n’afa

Abatuuze boku kyalo Kasoolwe mu disitulikiti ye Kamuli bazuukukidde mu kikangabwa oluvanyuma lw’omusota ekika ky’ensera okubojja omwana n’afiirawo. Ono kati wakusatu nga abojebwa omusota ku kyalo kino mu mwezi gumu gwokka. Afudde ya Kenneth Lyagoba abadde asoma ekibiina kyamukaaga ku ssomero lya  Buyamba Memorial School . kigambibwa nti omugenzi yali yateeka omufaliso kumpi n’empuku y’omusota guno mu nyumba…

Read More

Abazirwanako basenguddwa

Abasuubuzi abakolera egyabwe mu katale kaba nazilwanako ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa gebakaaba gebakomba oluvanyuma lw’okufuumulwa mu kifo ekyo. Bawanyondo ba kkooti mu bukuumi obw’ekitalo bazinzeeko akatale kano nebamenya obuyumba bwonna n’emidaala egyatekebwawo abasuubuzi. Ekifo kino kigambibwa okuba nti kya mugagga John Bosco Muwonge. Poliisi ekulembeddwamu akulira ebikwekweto mu bukiika kkono bwa Uganda  Samuel Omala nga era abaserikale…

Read More

Ebigezo bya Siniya y’okuna bitandise

Nga abayizi ba siniya ey’okuna batandise ebigezo byabwe ebyakamalirizo enkya ya leero, abakulu b’amassomero wansi w’enkola ya bonna basome eya secondary bakaaba lwansimbi ezirina okubaweebwa okulwayo. Bano bagamba bukyanga lusoma luno lutandika tebafunanga yadde ennusu ekibawalirizza okwewola okuva mu zi banka kubanga tebalina nsimbi ziddukanya mirimu nga kati amabanja gabali mu bulago. Ssentebe w’ekibiina ekigatta amasomero g’obwananyini…

Read More

Abakozi ba Kenya airways beediimye

Abakozi ba kampuni y’enyonyi eya Kenya airways batadde wansi ebikola lwamusaala mutono. Abediimye kuliko badereeva, ssaako n’abali bakasitoma webatukira,. Bano bagamaba basasulwa busamambiro nga bbo bannaabwe e Kenya bayoola mudidi. Kati bano baagala basasulwe kyekimu ssaako n’ensako endala bagifune nga banaabwe e Kenya bwebakola. Bangi ku bakozi bano baasigadde waka nga abalala bali wabweru wa ofiisi balasa luboozi awatali…

Read More

Bataano bateberezebwa okubeera ne Marburg

Abalwadde 5 abateberezebwa okubeera n’ekirwadde kya Marburg bakyayawuddwa . Babiri bali mu ddwaliro ekkulu e Mulago gyebaayawuddwan nga abasatu bali Ibanda n’Entebbe. Minisita omubeezi ow’ebyobulamu avunanyizibwa ku bujanjabi obusookerwako , Sarah Opendi era asambazze ebigambibwa nti abaafudde e Bukwo ne Mubende baafudde Kirwadde kya Marburg. Opendi agamba eyafudde e Mubende yanwedde mwenge munji ogwamusse nga ate ow’e Bukwo…

Read More

Kakensa Mazrui afudde

Kakensa mu byenjigiriza era omusomesa kayingi  Ali Mazrui afudde. Mazrui afiiridde mu ggwanga lya Amerika ku myaka 81. Omu ku ba seneta w’ekibuga kya Mombasa Hassan Omar ne gavana waakyo  Hassan Joho  bakakasizza okufa kakensa ono. enteekateeka z’okuzza omulambo gw’omugenzi  e Mombasa zigenda mu maaso wabula nga ekyamusse tekinategerekeka. omugenzi awandiise ebitabo ebisoba mu 20 nga era mu 1963…

Read More