Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Olunaku lw’abatalaba- omuggo gwebakozesa mukulu

Kkampuni ya monitor publications yegasse ku bakuza olunaku lw’okutumbula omuggo ogukozesebwa abalema Olunaku luno lukwatibwa buli nga 14 omwezi gw’ekkumi nga lukwatagana n’olw’okulwanyisa endwadde z’amaaso Kati abakozi ba monitor bayambye ku bantu bano okutambula okuva ku centenary park okutuuka e Lugogo ku katikati Omu ku bakulu mu monitor publication Joseph Beyanga agamba nti ekigendererwa kutegeeza bantu nti abantu…

Read More

Omulala afunye Ebola mu America

Omusawo omulala akakasiddwa okuba n’ekirwadde kya Ebola mu ggwanga lya America Kati abasawo babiri beebakafuna obulwadde buno nga bonna baakwata ku musajja enzaalwa ye Liberia eyafa ekirwadde kino ssabbiiti ejja Yye akulembeddemu olutalo ku Ebola okuva mu kibiina ky’amawanga amagatte agamba nti ensi ezze emabega mu kulwanyisa obulwadde buno nga buli omu alina okusitukiramu. Ekibiina ky’ebyobulamu ekyensi yonna…

Read More

Uganda cranes yetegese- Serunkuuma mulwadde

Team yegwanga eri munsiike leero negwanga lya Togo mukibuga Lome akawungeezi ka leero mu mpaka ez’okusunsulamu abaneetaba mu kikopo kya Africa muggwanga lya Morocco omwaka ogujja. Agava mu nkambi ya Uganda Cranes e Togo galaga nti omuzanyi Yunus Sentamu tagenda kusamba olw’omusujja ogwamuyiikidde Okusinziira ku munamawulire wa team eno Fred Katende,ategezezza nga Sentamu Bweyaweredwa obujanjabi wabula nga…

Read More

E Gulu Kasattiro ka Marburg

Mu ddwaliro lye Lacor bwerinde bwenyini oluvanyuma lw’omulwadde atwaliddwawo nga ateberezebwa okubeera n’ekirwadde kya Marburg. Akulira eddwaliro lino , Dr Cyprian Opira agamba omulwadde ono ayawuddwa ku balala nga bwebalinda ebinaava mu kukeberebwa. Omulwadde ono yatwaliddwa mu ddwaliro lino nga alina obubonero bw’abalina Marburg nga omutwe ogubobba, omusujja, okulumwa mu lubuto okusesema n’embiro. Abasawo bonna kati baweereddwa amagezi…

Read More

Mbabazi agobwe- abavubukaba NRM

Bamusaayi muto b’ekibiina kya NRM baagala ssabawandiisi w’ekibiina kyabwe  Amama Mbabazi nga bamulumiriza okukukuta n’abamu ku bannakibiina mu nkiiko ezitategerekeka. Ssabawandiisi w’ekiwayi kyu’abavubuka bano , Robert Rutaro agamba Mbabazi takyalina kipya kyayongera ku kibiina kyabwe nga era takyasaana kukungabannakibiina. Rutaro alumiriza Mbabazi okusimbila ekkuuli ekya pulezidenti Museveni okwesimbawo awatali amuvuganya. Mbabazi yasuulibwa okuva ku bwa ssabaminista omwezi oguwedde…

Read More

Obubizzi bwa kyenvu butwaliddwa makerere

Waliwo obubizzi obulala obusuuliddwa ku mugukkirizo gw’ettendekero ly’e Makarere nga butereddwako ekiwandiiko ekyemulugunya ku bbula ly’emirimu mu bavubuka. Tekinamanyika ani asuddewo obubizzi buno obuleeteddwa mu bookisi nga abayise baagala kugisumulula. Abantu bbo nno obwedda bakungaanira ku bubizzi buno nga kyebagaala poliisi esumulule ekibokisi mwebubadde basobole okubulako Kyadaaki poliisi ebujjeeyo. Abavubuka wansi w'ekisinde kyaabwe eky'abatalina mirimu bazze basuula obubizzi buno…

Read More

Suarez yejjusa

Muyizi tasubwa wa Barcelona Luis Suarez agamba nti naye takikkirizanga nti yaluma munne bwebaali mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna Suarez yegatta ku Barcelona okuva mu Liverpool mu mwezi gw’omusanvu era nga yaweebwa ekibonerezo kya myezi ena nga takoona ku kapiira Omukulu ono agamba nti naye asanze obuzibu okukkiriza nti yakola ekikolwa kino kyokka ng’agamba nti naye Muntu…

Read More

Munnakatemba bimuweddeko

Omuzannyi wa Katemba abadde ku siteegi ng’asanyula abantu bimukalidde ku matama poliisi bw’eyingiddewo n’ekwata omu ku b’abadde asanyusa Adam Newman ow’omu kibuga Newyork asoose kukola mu ba poliisi bano katemba ng’alowooza banaleka omuwagizi we kyokka nga ssibwegubadde Aba poliisi bano nno abatawena ate beebamuwogganide nga bamusaba alekere awo okwekola obusolosolo kubanga babadde bakola gyaabwe

Read More

Endwadde z’amaaso- Mulye emmere erimu ebiriisa

Okulya emmere erimu ebiriisa byonna kiyamba okulwanyisa endwadde z’amaaso Atwala eby’amaaso mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Steven Bubikire agamba nti endwadde z’amaaso zisobola bulungi nnyo n’okutawaanya abaana abato kavuna baba nga tebalya bulungi Bino Dr.Bubikire abyogeredde mu nkambi ekubiddwa okukebera n’okulongoosa amaaso kko n’okutunda galubindi eri abazeetaga Enkambi eno ekwatagana n’olunaku lw’amaaso

Read More