Omufubutusi w’embiro omulema munanansi w’eggwanga lya South Africa Oscar Pistorius aggaliddwa emyaka 5 mu kkomera lwakusingisibwa musango gwakutta muganzi we Reeva Steenkamp.
Omulamuzi Thokozile Masipa ategezezza nga ono bwasibiddwa olw’okubeera n’ekissi n’amusiba emyaka 5 yadde nga oludda oluwaabi lw’abadde lwagala asibwe emyaka egitakka wansi wa myaka 10.
E Kasese abatuuze basatidde oluvanyuma lw’enjovu okutoloka okuva mu kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National Park kumpi n’essomero lya Karambi Secondary School.
Omu ku bakulira ekkuumiro lino , Nelson Guma akakasizza nga enjovu eno bweyawaguzza wabula n’asaba abatuuze okusigala nga bakkakamu kubanga ab’ekitongole ky’ebisolo byomunsiko ensonga eno bagikolako.
Essomero lino liwezaamu abayizi abasoba mu 1000 nga era…
Ssabapoliisi w’eggwanga Gen. Kale Kaihura ategezezza nga eky’abakulira ettedekero lino okwongeza ebisale by’okutikira abayizi bwekyabadde tekyetagisa era kisaana okuyimirizibwa mbagirawo.
Nga ayogerako nebannamawulire, Kayihura ategezezza nga abakulira ettedekero lino bwebatalina lukusa kwongeza bisale byonna awatali kukakasibwa okuva eri gavumenti.
Ono era aswazizza musajjawe abadde aduumira poliisi okukakkana abayizi ababadde bekalakaasa nga bwekibadde tekyetagisa kukozesa manyi kugumbulula bayizi…
Kkooti e Masaka esibye omukyala eyasonseka obujirita mu mbugo z’omwana wa mujjawe owa wiiki 3 omwaka gumu gwokka.
Omulamuzi Mary Ikit y’akalize Stella Namuwonge ebbanga lino n’ategeeza nga obujulizi bwonna bwebumulumise kale nga asana kubeera mu kkomera.
Omulamuzi asinzidde ku alipoota y’omusawo Dr. Francis Ssenyonjo Kalevu eyategeeza kkooti nga bweyajja obujirita mu mbugo z’omwana ono ssaako n’obujulizi…
Abapoliisi abaasooka okutuuka mu kifo awaali akabenje omwafiira naggagga Kasiwuukira bakunonyerezevwaako
Ekiwayi ekikwasisa abasirikale empisa kimaze okulagirwa okunonyereza lwaki abasirikale bano bakkiriza abantu okusalimbira mu kifo ekyaali kibaddemu akabenje
Kasiwuukira yakoonwa mmotoka eyamuttirawo ku lw’okutaano oluwedde bweyali akola dduyiro okumpi n’amaka ge e Muyenga
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti musango omupoliisi yenna okutuuka awabadde akabenje n’ataggalawo…
Abakulembeze b’ettendekero lye Makerere bategeezezza nga bwebagenda okuvaayo n’eky’okukolera abayizi abeekalakaasa olunaku lw’enkya
Kiddiridde abayizi okwekalakaasa olunaku lwaleero nga bawakanya eky’okwongeza ebisale by’okutikkirwa okuva ku mitwalo 9 okutuuka ku mitwalo 22
Mu kavuvungano, abayizi babiri beebalumiziddwa nga poliisi egezaako okulemesa abayizi
Kati amyuka ssenkulu Prof Barnabas Nawangwe agamba nti bagenda kutuulamu ng’abakulu n’oluvanyuma baveeyo n’ekiwandiiko olunaku lw’enkya
Bbo abayizi…
Poliisi ekyagumbye ku ttendekero lye Busitema ng’eno nayo abayizi baali beekalakaasa
Ettendekero lino lyaggalwa ssabbiti ewedde oluvanyuma lw’abayizi okukulungula ennaku ssatu nga beekalakaasa
Abayizi bano beekalakaasa nga bawakanya eky’okwongeza ebisale by’okutikkirwa okuva ku mitwalo 10 okudda ku 20 ate nga yyo ensalo ebaweebwa yakendeera okuva ku mitwalo 45 okudda ku mitwalo 35
Ayogerera poliisi ye Bukedi Michael Odongo…
Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Amama Mbabazi awandiikidde abakulembera ekibiina ng’asaba bamukkirize okuwummulamu.
Mu bbaluwa eriko ennaku z’omwezi 20th October omwaka guno, Mbabazi agambye nti ayagala kumuwuulamu okuva olwaleero okutuuka nga 31st December kubanga amaze emyaaka mwenda nga tawummulamu
Mu bbaluwa etabadde mpanvu, Mbabazi agambye nti omumyuka we Dorothy Hyuha ajja kugira akola emirimu gye.
Mbabazi wabula mu bbaluwa…
Eggwanga lyava dda ku luguudo okutuukiriza ekigendererwa ky’ekyaasa namba ttaano nga kino kikwata ku kukendeeza omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya
Akulira ekiwayi ekitekeerateekera essomero ly’ebyobulamu e Makerere Prof Fred Sengoba agamba nti yadde omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya bakendeddde nga kati bakyala 146 ku mitwaalo ekkumi beebafa, emiwendo gino gikyaali waggulu nnyo
Prof Sengoba agamba nti abakyala…
Ssabasajja Kabaka asiimye okulabiko eri obuganda ng’aggalawo empaka z’ebika bya Baganda nga 15th omwezi ogujja.
Kyo ekisaawe omunazanyibwa empaka zakamalirizo kyakulangirirwa week eno.
Omupiira ogwazanyiddwa eggulo,ekika kye’Nte kyesozze semifinals oluvanyuma lwokuwandulamu e’Ffumbe mukakadyo ka penalties 4-1.
Kati Ente yakuzanya e Mamba Gabunga nga 22nd omwezi guno mu luzannya oluddirira olwakamalirizo.