Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ebola ekyasattiza amawanga

Ekibiina ky’ebyobulamu ekyensi yonna kisisinkana akadde konna okukubaganya ebirowoozo ku bulwadde bwa Ebola obusenkanyezza enkumi mu mawanga agatali gamu Olukiiko luno olutudde mu Geneva lwakutunuulira engeri y’okunywezzamu ensalo n’engeri gyekiyinza okuyambamu Bino bizze nga mu America, abo bonna abava mu mawanga agalimu Ebola balina okukeberebwa ku bisaawe obutatambuza bulwadde Yo mu ggwanga lya Sierraleone tekyaali kumala gatayaaya oluvanyuma…

Read More

KCCA etusabe eddagala- NMS

Ekitongole ekitereka ebikozesebwa mu malwaliro kisabye aba KCCA okuwaayo okusaba kwaabwe okufuna eddagala Kiddiridde aba KCCA okutegeeza ng’omujjuzo bwegubayitiriddeko okuva eddwaliro lye Mulago lweryatandika okukolebwaako nga kati n’eddagala lya kwekuba mpi. Akulira ebyobulamu mu KCCA Dr.Daniel Okello agamba nti eddagala lyebasinga obutaba nalyo lyeeyo elikola ku ndwadde za bulijjo ng’omusujja Kati omwogezi w’ekitongole ekigaba ebikozesebwa mu ddwaliro Dan…

Read More

Abakyala bonna bakeberebwe kokoolo w’amabeere

Abakyala bonna basaanye okukeberebwa kokoolo w’amabeere Akulira ekibiina ekiyamba ku bakyala abafuna kokoolo, Rebecca Mayengo agamba nti kirina okufuulibwa eky’etteeka nti abakyala bonna bakeberebwa kokoolo ono okusobola okufuna obujjanjabi nga bukyaali Mayengo agamba nti gvaumenti eyinza okukulemberamu omulimu guno ng’ekikola mu malwaliro gaayo gonna. Okusinziira ku kibiina ky’ebyobulamu eky’ensi yonna, kokoolo w’amabeera yeeyakasinga okutta abakyala ng’emitwaalo 45 beebafa…

Read More

Kkooti egobye okusaba kw’abagambibwa okuba abatujju

Kkooti etaputa ssemateeka egobye okusaba okwakolebwa abagambibwa okubeera abatujju nga bawakanya eky'okuwozesebwa mu Uganda Abantu bano 11 babadde bawakanya eky'okubajja mu ggwanga lya Kenya ne Tanzania okuvunaanibwa mu kkooti za wano Abalamuzi abataano aba kkooti ya semateeka nga bakulembeddwaamu Steven Kavuma bategeezezza nga bwewataliiwo tteeka ligaana muntu kuvunaanibwa mu ggwnaga gy'aba addirizza omusango Abalamuzi era bagambye nti Uganda…

Read More

Laddu ekubye abaana

Mu disitulikiti ye Tororo laddu ekubye abaana b’essomero 9 .   Bano bonna bayizi mu ssomero lya  Abubakari Primary School  nga era baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.   Omu ku bakozi b’essomero lino Rose Atabong  nga y’abaddusizza mu ddwaliro ategezezza nga bano laddu bwebakubye nga bazanyira mu luggya nga n’enkuba tetonya.   Omu ku basawo b’eddwaliro abaana bano gyebatwaliddwa Dr.…

Read More

Omusajja eyakula n’awola

Kati munsi waliyo abasajja abatawena. Mu ssaza lya Florida waliwo omusajja eyakula n’awola akwatiddwa nga atwalibwa mu kkomera wabula n’alema okuja mu kamotoka ka poliisi. Howard Hendrix  nga azitowa pawundi 500 era nga muwagguufu yewunyisizza poliisi nga emmotoka gyebaleese okumuteekamu tagyamu. Okukakana batumizza mmotoka kika kya kigaati okutwala omusajja ono mu kkomera. Wabula naye olulabye nga poliisi etidde sayizi…

Read More

Ogwa Namubiru gujulidde

Okuwulira okujulira kw’omusawo eyasibwa emyaka 3 olw’okukuba omwana empiso ya siriimu kwongezeddwayo okutuusa nga 6 November. Rose Mary Namubiru awakanya ekibonerezo kino nti kikakali Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu Festo Nsenga ategezezza nga ensalawo ku musango guno tenategekebwa nga n’omulamuzi ali mu mitambo gy’omusango guno Alrbert Rugadya taliiwo. Namubiru y’aggalirwa omulamuzi wa kkooti ya Buganda Olive Kazarwe oluvanyuma…

Read More

asangiddwa ne muk’omusajja akubiddwa mbooko

E Buyende kkooti y’ekyaalo etanzizza omusajja kimeeme w’embuzi 3, ente 1 saako n’okumuswanyula embooko 12 lwakwenda ku muka muliraanwawe. Magno santos y’akwatiddwa nga yekejja ne muka muliraanwa wabula poliisi nemutaasa ku batuuze ababadde bagala okumumiza omusu okukomya ejjoogo. Nanyini Mukazi Abdul      Muwuma abanjizza omutwalo gweyasasula omukyaala ono okuva eri omusiguze nga agamba akwatiddwa alina siriimu.   wabula mukyalawe…

Read More

Obukadde 15 eri amanyi eyatta Kasiwukira

Ab’ekibiina ekitaba abaggagga ekya Kwagalana bataddewo obukadde 15 eri omuntu anawa amawulire agakwata ku Muntu eyatomera kasiwukira Nga basisinkanye aduumira poliisi, gen Kale Kaihura, abagagga bano abakulembeddwaamu Bulayimu Kibirige bagambye nti bakusiima omuntu yenna anabayamba okutegeera kalibutemu eyatomera Kasiwukira Mu nsisinkano yeemu, Gen Kaihura alagidde abaduumizi ba poliisi bonna okuttukiza okulawuna ebifo ebisinga okubaamu ettemu Kaihura asabye n’aduumira…

Read More

Ayingidde mu Kkomera ng’aliyita bbaala

Omukyala enzaalwa ya America abadde atamidde akwatiddwa bw’ayingidde ekkomera ng’aliyita baala. Omukyala ono atatuuddwa mannya kyokka nga wa myaka 39 abadde agenze mu bbaala kukima lulenzi lwe nga luno lwamusuubizza nti bakusisinkana mu bbaala Omukyala basoose kumuwulira ng’awunya omwenge kyokka bagenze okumussaako kawunyemu nga takyalina na maanyi gakafuuwa olwo nebasiba

Read More