Omuyiggo gutandise ow’omuntu eyasse abadde kaputeni wa tiimu ya South Africa Senzo Meyiwa
Bataddewo ekirabo kya doola emitwalo 22,800 eri omuntu yenna awa amawulire ku batemua basse emunyeenye ya South Africa
Meyiwa yalumbiddwa abazigua bayingiridde enju ya mwagalwa we
Abadde omutendesi wa Meyiwa agambye nti abadde mwetowaaze eta ng’abadde afuuse omuzira
N’abekibiina ky’omupiira ekya FUFA kikungubagidde Meyiwa gwebogeddeko ng’abadde…
Omusajja eyanywedde n’agangayira kimuweddeko bw’azuukuse nga yeebase na Muntu gw’atamanyi
Omusajja onno atuukidde mu maka gatali gage era poliisi n’eyitibwa mbagirawo
Omusajja ono basoose kumwegayirira afulume n’agaana ng’alumiriza nti ali wa nyina era neyesogga obuliri neyebaka
Omusajja ono abasirikale bamukutte nebamutwala mu kaduukulu era agenze okudda engulu nga yeebase na musibe munne enduulu n’eraya
Omuwala abadde yalimba muganzi we nti kiggala abikooye n’amubuulira amazima
Omuwala ono agamba nti nga yakalaba muganzi we yamugamba nti kiggala mu by’okusaaga ng’amulemesa kyokka kyamuggwaako omusajja ate bwekyamusanyusa n’ayongera okumwagala
Omuwala ono agamba nti wabula abadde akooye okwebuzabuuza ng’alina okwefuula atawulira
Agambye nti oluusi ayita ku mbwa neziboggola neyekaza ng’atawulidde ng’afa entiisa era nga…
Gavumenti yetondedde akulira abakyaala mu kibiina kya FDC Ingrid Turinawe olwabaserikale ba poliisi abaamunyiga ebbeere.
Poliisi yanyiga Turinawe ebbeere n’okwonona emmotokaye bwebaali bamukwata mu April wa 2012 wali e Nansana.
Munnamateeka wa gavumenti George Kalemeera ategezezza kkooti enkulu nga ekikolwa kino bwekyali ekibi era ekiswaza eri mukyaala Turinawe nga era n’asaba ensonga bazimalire wabweru wa kkooti.
Turinawe y’awaaba…
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye olukiiko lwa Buganda okutandika okwekenenya ebituukiddwako okuva omwaka oguwedde mu alipoota namutayiika gyeyalangirira eri obuganda.
Gyebuvuddeko Ssabasajja azze akubiriza olukiiko obutayisa buyisa biteeso wabula byonna bitekebwe mu nkola.
Mayiga era asabye poliisi okwongera amaanyi mu kunonyereza ku ttemu erikudde ejjembe mu ggwanga naddala mu bitundu bye Mpigi, Kabula n’ebitundu ebirala.
Bino…
Omwana omuto muzibe kyokka nga takuba nnanga bitooke by’ebigwa afuuse ekyelolerwa
Omwana ono wa Myaka esatu nga kyokka ayagala nnyo okuwuliriza enyimba
Omwaka guno emabega, Branko ono eyazaaliwa nga muzibe yatandika okukuba ennanga era buli lukya ayongera okuyiga .
Gavumenti ya Misiri erangiridde akaseera akakasigizigi mu ssaza lye Sinai oluvanyuma lw’abajaasi 31 okufiira mu bulumbaganyi bwamirundu 2 mu kitundu kino.
Omukulembeze wa Misiri Abdul Fattah al-Sisi alangiridde enaku 3 ezokukungubagira abajaasi abafiridde mu bulumbaganyi buno.
Government era egaddewo ekitundu kya Rafah ekiyingira mu luwananda lwe Gaza.
Buno bwebulumbaganyi obukyasinze okuba obw’amaanyi mu ggwanga lino, obukoleddwa ku bajaasi…
Ekitongole ekitereka ensimbi z’abakozi ekya National social security fund kyenyamidde olw’omukyala ayettidde ku ofiisi zaakyo olwaleero
Omukyala ono ategerekese nga Annet Ashabanga we sembabule abuse kuva ku mwaliro gwe 14th ku kizimbe kya Knight Frank n’afiirawo
Ekiwandiiko ekivudde mu NSSF kigamba nti Ashaba awaddeyo paasipoota ye ng’abagenyi abalala era nebamukkiriza okunyingira .
Omukyala ono awalampye okutuuka ku mwaliro…
Omuyimbi wa Kadongokamu Abdul Mulaasi kyaddaaki ayimbuddwa
Kiddiridde Mulaasi ono okusasula obukadde obuna bweyewola ku yali mukwano gwe John Kabanda
Kabanda yatwala mulaasi mu kkomera era omusango negumusinga era bw’atyo n’alagirwa okusasula
Ono olunaku lwajjo bamusindise e Luzira yebakeyo emyeezi mukaaga olw’okulemererwa okusasula.
Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu Mohammed Kasakya yeeyalagidde mulaasi agende e Luzira
Okumukwata bamujje mu maka ge…
Enkayaana eziri mu kibiina kya FDC zikyagenda mu maaso ng’abakulembeze ab’okuntikko basongeddwaako okuzikumamu omuliro.
Eyali omuwanika wa FDC Jack Sabiiti awakanyizza ebigambibwa nti yalekulira ekifo kye byona n’abissa mu bamulwana
SSabiiti ewedde, amawulire agava mu FDC gaalaga nga Ssabbiiti bweyali alekulidde ne Mukama we Nandala Mafaabi
Wabula ng’ayogerako eri bannamawulire ku palamenti, Ssabbiiti agambye nti bino byonna bizanyibwa…