Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Zebulakulosingi-abazinyooma bakukwatibwa

Poliisi egenda kutandika okukwata emmotoka zonna ne pikipiki ezitassa kitiibwa mu Zebra Crossing Kiddiridde obubenje obuyitiridde mu bifo ebyenjawulo bino ebisalibwaamu ng’abantu nebwebabituukamu, basigala bavulumula emmotoka Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti abapoliisi bonna bamaze okulagirwa okukwata abo bonna abattaasa kitiibwa mu zebula kulokisingi Onyango agamba nti kino kiremeddeko nga kati balina kukozesa maanyi Okukoona…

Read More

Paapa ajja omwaka Gujja- Musumba bamukunya

Paapa Francis amaze okukakasa nga bw’ajja okukyala mu Uganda omwaka ogujja Paapa asuubirwa kwetaba ku mikolo gy’abajulizi omwaka ogujja e Namugongo nga Eklezia erangirira nga bwegiweza emyaka ataano bukyanga balangirirwa mu lubu lw’abeesiimu. Paapa okukakasa abadde asisinkanyeemu pulezidenti Museveni mu kibuga Vatican Ekiwandiiko ekifulumiziddwa ofiisi y’omukulembeze w’eggwanga kiraze nti papa yesunga okujja wano kubanga omukolo mukulu Nga bino nno…

Read More

Mukomye enkayaana mu bika- Katikkiro

Katikiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga alabudde abakulu b’ebika okwewala okutondawo ennono wamu n’obukulembeze obutagoberera bwa buwangwa bwa Buganda. Katikiro okwongera bino abadde mu lukiiko lwa Buganda E mengo,gy’asinzidde n’ategeeza abakulu b’ebika nti Ssabasajja Kabaka yasalawo eky’enkomeredde ku bukulembeze bw’ebika. Katikiro agamba nti abakyalina okwemulugunya bakutwale mu ofiisi ye. Kamalabyonna era ategeezezza ng’akakiiko akateekebwawo okukulakulanya enyanja lya…

Read More

Siriimu mungi mu bavubuka

Kizuuliddwa nti abantu 70% abakwatibwa ekirwadde kya siriimu bavubuka. Okusinzira ku kunonyereza, sirimu asaasanira ku bitundu 4.2% ku bawala okusinga ku balenzi abali wakati w’emyaka 15- 35. Wano minisitule y’ebyobulamu n’ekitongole kya Uganda Aids Commission webasinzidde nebatongoza kawefube w’okusasanya obubaka obuggya obw’okulwanyisa siriimu mu bavubuka. Minister omubeezi akola guno naguli Sarah Opendi agamba nti bakizudde nti kati abavubuka…

Read More

Kananura yegaanye emisango

Omusuubuuzi w’erinnya Andrew Desh Kananura yeeganye emisango gy’ettemu egimuvunaanibwa Kananura ng’ali wamu ne muganda we Raymond Kananura balabiseeko mu maaso g’omulamuzi we Nakawa Masalu Musene n’abasomera emisango. Omulamuzi wabula omusango agwongezezzaayo okutuuka ku lw’okuna luno okuguwulira lwekugenda okujjibwaako akawuuwo Kananura avunaanibwa kukuba mukozi weku baala ya Panamera  Badru Kateregga ng’amulanga kubba omutwalo gumu Desh ne muganda we bavunaanibwa wamu…

Read More

Ebiku biremesezza abayizi okusoma

Ebiku ebiyitiridde mu masomero naddala mu disitilikiti ye Mpigi bikoseza nyo ensoma y’abaana okusinzira ku kunonyereza okukoleddwa abali abayizi mu district eno wamu n’abasawo. Abasoose okubirozaako beebayizi ba St Balikuddembe Mitala Maria. Ng’afulumya alipoota ekwata ku biku n’engeri gyebikosezzaamu abayizi, akulira abaali abayizi Remmiguis Kasozi agambye nti bafubye okulaba nti bakyaala ku ssomero okulaba nti obuzibu buno…

Read More

Abazigu balumbye essinzizo

Poliisi e Lyantonde eli ku muyiggo gw’abazigu ba nkuyege tetya ssabo abalumbye kkanisa nebakuulita n’ebirabo Ekibinja ky’abazigu bano kyalumbye eklezia ya Kijukizo Parish nebatwaala emizindaala, engoma, evviinyo n’ebirabo nga byonna bibalirirwaamu obukadde mukaaga Bwanamukulu w’ekigo kino Rev. Fr. Venasio Kivumbi agambye nti kibaweddeko bwebaguddewo enkya ya leero nga balaba Eklezia nkalu Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Noah…

Read More

Abakozi ba Daily Monitor balongosezza eddwaliro lye Kisubi

Mu nkola ey’okuddiza abantu, abakozi mu kkampuni ya Monitor olwaleero balongosezza edwaliro lye Kisubi Hospital Entebbe road. Abakozi bano balongosezza waadi empya omugenda okudda abalwadde abamu nga kw’otadde n’okugabira abazadde n’abaana amata ga Mega Milk n’omugaati gwa Superloaf Atwala eddwaliro lino Doctor Robert Asaba asiimye omulimu ogukoleddwa monitor n’asaba n’abantu abalala okubalabirako. Mu ngeri yeemu ategezezza nga eddwaliro…

Read More

Ekikulukuto kikyaaliwo

Abantu abalina obulwadde bwa Fisitula bakumalibwa mu myaka 80 egijja ssinga tewabaawo kikyuuka Minisita omubeezi akola ku byobulamu Dr. Elioda Tumwesigye agamba nti abakyala emitwalo 20 beebalina obulwadde buno obwekikulukuto nga ku bano bakalongoosaako abakyala enkumi bbiri mu bitaano. Minisita agamba nti eggwanga lirina abasawo abalongoosa fisitula 20 bokka nga basobola kukola ku bantu lukumi bokka Minisita bino…

Read More

Pistorious ajulidde

Bannamateeka ba Oscar Pistorius bategeezezza nga bwebagenda okujulira ensalawo ya kkooti mu musango gw’omuntu waabwe Bawakanya eky’okumusingisa omusango n’ekibonerezo ekyamuweebwa Ssabbiiti ewedde, Pistoruius yaweebwa ekibonerezo kya myaka etaano mu kkomera lwakutta muganzi we mu butanwa era nga wakubeera mu kkomera okumala emyezi kkumi , ebbanga erisigadde atwalibwe mu kifo ekibudabuuda abantu.

Read More