Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Amalwaliro gafunye emifaliso

Minisitule y’ebyobulamu olwaleero etandise okugaba emifaliso mu malwaliro ga gavumenti Emifaliso gino akanaana gimazeewo akawumbi kamu mu obukadde 250 nga gyaguliddwa oluvanyuma lw’ababaka ababadde balambula amalwaliro ga gavumenti okulagira nti gigulwe Ababaka bano bakizuula nti yadde amalwaliro galina ebitanda, tekuli mifaliso era gyebigweera ng’abalwadde beebase wansi Ng’awaayo emifaliso gino, minisita omubeezi akola ku byobulamu Ellioda Tumwesigye agambye nti…

Read More

Aba Palamenti basanyukidde omusika wa Kagina

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga baniirizza omukulembeze w’ekitongole ekiwooza omuggya era nga bagamba nti bamulinamu essuubi ppitirivu Doris Akol yasikidde Allen Kagina abadde yakabeera mu kifo kino okumala emyaka 10. Akol yawereddwa ekisanja kya  myaka ena era nga bamusuubira okugaziya ensulo z’omusolo okutuuka ku busiriivu 14 Ababaka abatali bamu okuli Gerald Karuhanga, Alex Byarugaba, Simon Lokodo ne Nandala…

Read More

Poliisi ekyanonyereza ku wa sipeya eyatta abantu

Okunonyereza ku musuubuzi wa sipeeya eyatta abantu babiri mu Ndeeba kukyagenda mu maaso. Godfrey Muhirwa avunaanibwa gwakukuba abantu babiri amasasi n’abattirawo ng’abalanga kugezaako kumutta. Omuwaabi wa gavumenti Beatrice Alok ategeezezza omulamuzi wa kkooti ye Makindye George Watyekere nti bakyanonyereza ku mugagga ono. Muhirwa abantu beyatta kuliko Muhammad Kiwaana ne Deo Jaaya agambibwa okuba omupoliisi alwanyisa abalina emmundu ate…

Read More

Bannayuganda besunga paapa

.Bannayuganda batandise dda okwesunga okukyala kwa paapa omwaka ogujja Olunaku lwajjo paapa yategeezezza nga bweyesunga okujja mu Yuganda nga bino yabyogedde asisinkanye omukulembeze w’eggwanga. Ababaka ba palamenti beebasoose okwaniriza ekyasaliddwaawo paapa nga bagamba nti paapa ajja n’emikisa Twogeddeko n’ababaka Medard Ssegona, Margaret Kiboijana ne Joseph ssewungu wabula nga bagamba nti gavumenti efune eky’okuyiga ku paapa ng’ekolagana bulungi nebwebatakwatagana…

Read More

Gavumenti ebanjibwa obuwumbi 116 mu masanyalaze

Gavumenti ebanjibwa obuwumbi 116 mu masanyalaze Ensimbi zino zeeyongedde okuva ku buwumbi 89 omwaka oguwedde Minisitule ekola ku by’okwerinda yeeyakasinga obutasasula masanyalaze ng’ebanjibwa obuwumbi 54. Poliisi y’eddako awo ng’ebanjibwa obuwumbi 26 ate ab’amakomera babanjibwa obuwumbi 15 Ebitongole bya gavumenti ebirala ng’obigasse bibanjibwa obuwumbi 17 Wabula ekyewunyisa nti ebitongole bino biweebwa ensimbi z’okusasula amasanyalaze kati nga tekitegerekeka oba ziraga wa Omwaka oguweddde,…

Read More

Ani asinga ekirevu

Kati ebiseera ebisinga tuwulidde empaka nyingi ezewunyisa okuli n’ezabasinga okunywa omwenge. Kuluno mu kibuga Portland mu ggwanga lya Amerika abasinga okubeera n’ebirevu ebiwanvu bebavuganyizza. Ba mandeevu abasoba mu 300 besowoddewo neboolesa ebirevu era buli musono gubadde wali okuvira ddala ku bilimu envi n’ebirala. Madison Rowley y’anywedde ,mu banne akendo nga ono era kati ye mandeevu wa Portland.

Read More

Omuliro gukutte essomero

Ebintu bya bukadde bisaanyewo mu nabambulira w’omuliro akutte essomero lya  St Charles Lwanga secondary school e kalungu. Omuliro guno gukutte ekisulo ky’abawala abali eyo mu 200 nga musulamu ba s1,s2,s3, ne s5 nga era bakazi battu batunudde butunuzi nga ebintu byabwe biggwawo. Omukulu w’essomero lino  Brother Anthony Lubwama ategezezza nga mpaawo afiiridde  mu muliro guno kubanga wegwakwatidde…

Read More

Bannamawulire babanja

Bananyini mikutu gy’amawulire batiisizza okukuba gavumenti mu mbuga z’amateeka lwakulemererwa kubasasula ku by’okukunga abantu okujumbira okwewandiisa okufuna endagamuntu okwakaggwa. Ssentebe w’ekibiina ekigatta bananyini mikutu gino  Azim Tharawi ategezezza nga bwebazze batuukirira omuwandiisi w’enkalakalira mu minisitule y’ensonga z’omunda w’eggwanga n’abalala abakwatibwako okubasasula nga mpaawo kavaayo. Ono kati eby’okusimba akaggo agamba babikooye nga baagala basasulwe ensimbi zaabwe akawumbi 1.5…

Read More

Doris Akol asikidde Kagina

Ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority olwaleero kifunye omukulembeze omuggua Doris Akol azze mu kifo kya Allen Kagina akulmbedde ekitongole kino okumala emyaka 10. Ono ayanjuddwa minisita w’ebyensimbi eri bannamawulire amakya galeero. Okutuuka wano Akol abadde muwandiisi ku lukiiko lwe kitongole kino, era nga aweereddwa ekisanja kya myaka 4. Nga akwasibwa offiisi eno, Akol aweze okukolagana n’ebitongole ebirala  nga…

Read More