Poliisi mu Kampala ekutte omusawo w’ekinnansi abadde ayambako abakukusa abantu okubatwala ebweru.
Akulira poliisi erwanyisa okukusa abantu Moses Binoga omusawo ono amumenye nga Joseph Kyeyune omutuuze we Najjanankumbi mu kampala.
Abakukusa abantu babadde bamuleetera abantu bano mbu abanazaako ebisiraani ebibabadde bibalemesa okufuna emirimu ebweru
Kino nno babadde bakisasulira wakati w’emitwalo 30 n’ataano.
Kati poliisi etandise omuyiggo gw’omukyala ategerekeseeko erya…
Omulimu gw’okuzimba enyumba z’abasawo be Mulago gusemberedde okuggwa
Enyumba zino zakuyamba okutereeza empereeza mu ddwaliro e Mulago kubanga bangi bava bweru, ekikalubya emirimu gyaabwe
Yinginiya wa minisitule y’ebyobulamu Henry Matega agamba nti enyumba 100 zeezigenda okusooka okumalibwa kyokka ng’ekigendererwa kyaabwe kya nyumba 2000 ezijja okukomekkerezebwa mu myaka 10 egijja
Eng Matega agamba nti enyumba ezinaatera okuggwa zeezo zebatandikako…
Abakyala bakyasanga obuzibu okufuna byebetaaga nga bali embuto ekyongedde omuwendo gw’abafa
Bannakyeewa abali mu byobulamu by’abakyala n’abaana bagamba nti abakyala 17 beebafa buli lunaku ate nga bwegutuuka ku baana abawerera ddala 282 beebafa buli lunaku olw’obutafuna ddagala
Omu ku bakulu mu mukago gwa bannakyeewa mu byobulamu Esther Nasikye agamba nti amalwaliro agasinga naddala ag’omubyaalo ,teri ddagala liweebwa…
Abantu ababeera okumpi n’eddwaliro lye Masaka bakooye kasasiro ava mu ddwaliro lino
Eddwaliro lino lirina ekipipa kya kasasiro ebweru omusuulibwa kasasiro okuva ku ddwaliro nga kino kiri kumpi n’oluguudo olugenda e Katwe Kasajjagirwa
Abatuuze ababeera ku byaalo ebiri okumpi n’ekipipa kino bagamba nti kasasiro abayitiriddeko okuwunya ate ng’ali na mu bbanga
Nga bakulembeddwaamu ssentebe w’ekyaalo Patrick Muyobo,abatuuze bagamba…
Ab’omukutu gwa yintaneti ogwa Google batandise okunonyereza ku ngeri y’okutegeeramu nti omuntu agenda alina kokoolo, bulwadde bw’omutima oba okusanyalala n’endwadde enzala ezitasiigibwa
Bagaala kuyiiya ekyuuma ekiyinza okussibwa ku mukono gw’omuntu nekitegerekeka nti mulwadde.
Ekyuuma kino kyakukolagana n’empeke ezimiribwa olwo omubiri neguzuukuka
Okutegeera abantu obulwadde bwa Kokoolo, omutima n’obulala kisobola okuyambako okukendeeza ku bantu abafa endwadde zino.
Akakiiko akagenda okukunganya wamu n’okusaanyawo ebintu byonna eby’obuseegu kakutondebwawo ku nkomerero y’omwezi ogujja.
Kino kyasangusiddwa minisita w’empisa n’obuntu bulamu Rev Simon Lokodo oluvanyuma lw’abantu okwemulugunya nga bwekaluddewo okutekebwawo.
Lokodo eky’okulwawo akitadde ku bekikwatako kulwawo kuwaayo mannya gaabo abalina okubeera ku kakiiko kano wabula nga kati amannya 9 yagafunye dda era gaakutwalibwa mu kabineti gakakasibwe.
Abatuula ku kakiiko kano…
Mininista akola ku by’amateeka Gen Kahinda Otafiire atabukidde bannamawulire abalondoola eyabadde ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi okutuuka mu bulamu bwe obwabulijjo.
Otafiire ategezezza nga bannamawulire kati bwebatakyasaka mawulire ga mazima ku Mbabazi okugyako okumuyiganya.
Agamba n’abakozi ba gavumenti balina eddembe okubeera mu bulamu bwabwe awatali kubuyingirira nga era kino kisaanye okuteekebwamu ekitiibwa.
Omukulembeze w’eggwanga lya Zambia Michael Sata afudde.
ono afudde ekirwadde ekitanategerekeka ekibadde kimubala embiriizi okumala akaseera.
Amawulire mu Zambia galaga nga Sta bweyafudde ku lwokubiri ekiro.
Tekinamanyika ani agenda okudda mu bigere by’omugenzi wabula nga kabineti essaawa yonna etuula okulaba ekyokukola.
ku ntandikwa y’omwaka guno amawulire gaafuluma nga Sata bweyaddusibwa mu Bungereza okujanjabibwa wabula nga abalala bagamba nti embeera…
Yadde ng'omuntu okwegatta ku maggye alina kubeera n'ebbaluwa ya siniya y'okuna , e Karamoja okusinga batutte baawanduka mu p6 ne p7 mu kuwandiisa abayingira amaggye okwakaggwa.
Eyakuliddemu okuwandiisa abantu bano Col. John Waswa ategezezza nga bwebalemereddwa okufuna abalina obuyigirize obwetagisa kwekusalawo bwebatyo okwewala ekitundu kya Karamoja okuviiramu awo mu kuwandiisa kuno.
Omwogezi w’amaggye ga UPDF ow’ekibinja ekyokusatu …
Amaggye ga Uganda mu Somalia gafunye omuduumizi omuggya.
Omwogezi w’omukago guno Major Deo Akiiki agamba nti Col. Frank Kyambadde y’azze mu bigera bya Brig. Dick Olum.
Akiiki agamba nti Col Kyambadde wakukulira kibinja kya 14 ekituuse mu Somalia enkya ya leero.