Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Obubaka ku mukenenya bukyuukemu

Abakulembeddemu olutalo ku mukenenya basabiddwa okukyuusa mu bubaka okutambula n’embeera z’abantu. Akulira okutekerateekera essomero ly’ebyobulamu e Makerere prof. Fred Ssengoba agamba nti abantu bafuna ekirwadde kya mukenenya enkya n’eggulo kubanga ekikoleddwa kitono okuziyiza ekirwadde kino Prof Ssengoba agamba nti mu kadde kano Uganda yeesibye bwegutuuka ku lutalo ku mukenenya kale ng’ekyamangu kirina okukolebwa Agamba nti obubaka obutunuulidde embeera…

Read More

URA tesasula za bupangisa

Ekitongole ekikola ku ntambula z’enyonyi kiragiddwa okufumuula ab’ekitongole ekiwooza mu wofiisi Entebbe lwabutasasula za bupangisa Bano nno yadde bazipeeka abalala, naye nga nabo babanjibwa obuwumbi butaano mu z’omupangisa Ofiisi y’abawooza Entebbe tebagisasula era nga baludde nga babanjibwa naye nga tebenyenya Akakiiko ka palamenti akakola ku bitongole bya gavumenti keekalagidde nti ofiisi wa Uganda Revenue authority eggalwe Bino byonna biri…

Read More

Amaggye geesambye Mbabazi

Amaggye g’eggwanga galumbye bannamawulire olw’okugayingizaamu eby’obufuzi Kiddiridde amawulire agafulumye nga galaga  Gen Kale Kaihura, Maj Gen Jim Muhwezi, ne Brig Ronie Barya balabe b’eyali ssabaminista Amama Mbabazi ate nga yye Brig James Mugira bamwogeddeko nga nfanfe we. Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Lt Col Paddy Ankunda agamba nti bino byakwawula mu maggye Ankunda agamba nti bakusigala nga bakola ogwaabwe ogw’okukuuma…

Read More

Eyali yasanyalala atambudde

Omusajja eyali yasanyalala amagulu gonna olwaleero azzeemu okutambula  oluvanyuma lw’okulongoosa Kuno kwekulongoosa kw’ekika kino okusoose okuvaamu ebibala Darek Fidyka yali yasanyalala okuva mu kifuba okukkira ddala okutuuka ku magulu oluvanyuma lw’okufumitibwa ekiso mu mwaka gwa 2010. Abakugu okuva mu ggwanga lya Poland beebakoze ku musajja ono nga bakutte obusomyo obuli mu musuwa gw’okunyindo nebabumussa mu nkizi ekimuyambye okujja…

Read More

Kabuyonjo tezimala

Abakulembeze mu gavumenti z’ebitundu basabiddwa okukulembera olutalo okulaba nti buli maka gaba ne kabuyonjo Minisita omubeezi akola ku by’obujjanjabi ebisookerwaako Sarah Opendi agamba nti mu kadde kano abantu abaweza ebitundu 74 ku kikumi beebalina kabuyonjo naye nga basobola okweyongera Opendi agamba nti obutaba na kabuyonjo kivaamu abantu okumansa empita mbi ekivaamu endwaddde ng’ekiddukano ne Hepatitis E

Read More

Masaka yetaaga ssente kuzimba kitebe

Abakulembeze mu disitulikiti ye Masaka beetaga akawumbi kalamba okumaliriza ekitebe kya disitulikiti Disitulikiti ye Masaka yadde yeemu ku zisinga obukulu mu ggwanga, terina kitebe oluvanyuma lwa Buganda okweddiza ebizimbe byaayo mweyali etuula Omulimu gw’okuzimba gwatanidka mu mwaka gwa 2012 ku ttaka erisangibwa mu Kizungu kyokka nga buli kimu kyeesiba olw’ensimbi. Ssentebe wa disitulikiti ye Masaka Joseph Kalungi agamba…

Read More

Amataala g’obwereere gajja

Mu kawefube ow’okutumbula amataala agatanywa nnyo masanyalaze, ekitongole ekirondoola ebyamasanyalaze mu ggwanga kyakugaba amataala gano eri abakozesa amasanyalaze Kino bagenda kukikola nga bali wamu ne minisitule ekola ku by’amasanyalaze kko UMEME Ng’ayogerako eri bannamauwlire mu kampala, omukulu mu kitongole kino Eng. Ziria Tibalwa Waako agambye nti balina amataala emitwalo 42 nga bagenda kutandika okuzigaba mu January w’omwaka…

Read More

Aba pioneer babawaabye

Babiri ku baali baddukanya kkampuni ya Pioneer easy Bus bakubiddwa mu mbuga za mateeka lwa mabanja. Eyabawola muyindi ategerekese nga Arvind Partel ng’ono ababanja obukadde 75. Ng’ayita mu balooya be aba Kaggwa and Kaggwa advocates, Patel agamba nti mu mwaka gwa 2009, yawa David Baingana ne Fred Ssenoga ebbanja lya bukadde 75 nebasingayo baasi era nga balina…

Read More

Mu kisenyi bakaaba

Abasuubuzi b’omu Kisenyi abafiiriddwa emmaali mu muliro bambalidde abakulembeze ku mitendera egitali gimu olw’okubavaamu mu kaseera ka kazigizigi Bano emmaali yaabwe yakutte omuliro olunaku lwajjo era nga bangi leero balabiddwaako nga bazzaawo embaawo zaabwe Abasuubuzi bagamba nti babadde basuubira ku bakulembeze abamu okubakubagiza kyokka ekyewunyisa nti tebannalabako yadde omu

Read More

Abakolera mu paaka enkadde tebakyebaka

Abantu abakolera mu paaka enkadde emitima gibewanise oluvanyuma lwa KCCA okuddamu okubajjukiza nti balina okusengula ebyaabwe Bano baali baweebwa ennaku 28 okwamuka paaka eno kyokka nga kati bongeddwaayo obudde okutuuka nga 31 omwezi gwa December. Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bamaze okufuna kontulakita agenda okuddabiriza paaka eno omwezi ogujja era nga bano bakukkirizibwa okukola Christmas…

Read More