Waliwo abafumbo babiri abafiiridde mu muliro ogugambibwa okuba nga gukumiddwa ow’omutima omubi.
Bino bibadde ku kyaalo Rwamutonga mu gombolola ye Bugambe nga kiteberezebwa nti kino kyandiba nga kivudde ku nkayaana ku ttaka
Enock Dara Karim ow’emyaka 55 ne mukyala we Margret Yunice beebafudde oluvanyuma lw’enju yaabwe okutekeerwa omuliro
Omwogezi wa poliisi mu bugwanjuba bw’eggwanga Lydia Tumushabe agambye nti…
KKampuni ya MTN yewozezzaako ku ky’okukozesa amaloboozi g’eyali meeya Alhajji Nasser Ntege Ssebagala ku buyimba bwaayo ku masimu
Omukungu mu MTN Christopher Ssali ategeezezza kkooti amaloboozi gano gabaweebwa kkampuni ya SMS Media nga nabo omusango ssi gwaabwe
Ng’ali mu maaso g’omulamuzi Christopher Madrama Ssali agambye nti ssinga omusango gubasinga, aba SMS Media beebalina okusasula kubanga beebawa amaloboozi
SSali…
Kkooti y’amaggye ekyalemereddwa okuddamu okuwozesa abe kasese ng’obuzibu ssente
Kkooti eno ebadde erina okuwulira emisango gy’abantu 54 agambibwa okuvaako ekitta bantu e Bundibuggyo kyokka nga ssibwekibadde olw’ebbula ly’ensimbi.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Rwenzori Capt. Ceaser Olweny agamba nti bategeezeddwa kkooti nti bakyanoonya nsimbi nga tebannaddamu kuwozesa bantu bano
Bano beebamu ku basoba mu 100 abakwatibwa ku…
Omuwendo gw’abaana abato abanywa omwenge gulinnya buli lukya
Okunonyereza okukoleddwa mu kampala kulaga nti abaana abato abaweza ebitundu 52 ku kikumi banywa omwenge
Abaana aboogerwaako beebali wakati w’emyaka 10 ne 19
Ssabwandiisi w’omukago ogulwanyis aomuze gw’abaana abato okunyw aomwenge Rogers Mutaawe agamba nti ekisinze okuleeta kino kinyumu ng’abasinga balabira ku banaabwe
Yye akulira ekibiina kino agamba nti obuzibu bwonna…
Ababaka ba palamenti abava mu Buganda beevumbye akafubo emisana ga leero, ku okukkiriziganya ku biki ebirina okukubaganyibwaako mu nsisinkano yaabwe ne Katikkiro.
Katikiro Charles Peter mayiga wakusisinkana ababaka bano,okuteesa ku ngeri Buganda gy’esobola okuganyulwa mu nongosereza mu ssemateeka wa Uganda ezinatera okutandika.
Bano era bagaala ndagaano eyatekebwaako emikono wakati wa Buganda ne gavumenti wa wakati
Ssentebe w’ababaka bano…
Abayizi abeekalakaasa bayingiridde ebigezo bya siniya y’okuna ebigenda mu maaso mu disitulikiti ye Lwengo
Abayizi abeekalakaasizza ba ssomero lya Modern High school Mbirizi ng’eno ebigezo biyimiriziddwa okumala ssaawa nnamba n’omusobyo
Abayizi aba siniya y’okuna beebalumbye banaabwe ababadde bakola ebigezo nga bagamba nti bbo babalese mabbali
Abayizi bagamba nti akulira essomero Najib Ssozi yabalagira okusasula shs omutwaalo gumu buli…
Abayizi kkumi aba siniya y’okuna ku essomero lya Kalumba Standard SS basobeddwa eka ne mu kibira oluvanyuma lw’akulira essomero okubabulako
Essomero lino lisangibwa kumpi n’ekibuga kye Matugga ng’omukulu ono abalinze nebayingira n’ekifo mwebagenda okutuulira ebigezo
Atwala poliisi ye Bombo Richard Emuna agamba nti abayizi bano babakakasizza nti ebigezo bakubituulira e Bombo ku kitebe era bano nabo nebakkiriza
Omukulembeze…
Omukadde abadde anoonya erinnyo lye agudde wansi mu kinaabiro aseeredde n’agwa mu kabuyonjo
Abaziinya mooto bayitiddwa bukubirire okutaasa namukadde kano ow’emyaka 85 ng’omukono gwe gumaze essaawa kumpi nya nga gulaalidde mu kabuyonjo
Omukadde ono asangiddwa muzukkulu we akubye enduulu esombodde abantu
Ono bamuyiyeeko sabuuni w’amazzi omukono negusereera olwo nebagusikayo nga tafunye buvune
Omukadde ono we China kyokka nga tekitegerekese…
Mu ggwanga lya Japan waliwo akabumbe k’omukyala akassiddwa mu kibuga ng’omwenge gayiika okuva mu bbeere lyaako
Akabumbe kano era kaliko n’abakyakaze nga banyiga ebbeere ly’akabumbe , nga balembese ne giraasi okufuna ku mwenge
Buli ayita ku kabumbe kano asigala awunikiridde ng’abakakoze tekinnategerekeka lwaki bayiiyizza bwebati
Kampala capital city authority etandise okutunda ku nyondo ebintu byeyawamba okuva ku batembeeyi
Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju agamba nti basanze obuzibu bw amaanyi okutereka ebintu bino nga y’ensonga lwaki batunze
Kawuju agamba nti basoose kusaba abatwalibwaako ebintu byaabwe okubikima kyokka nebatakikola nga y’ensonga lwaki babitunze
Ebintu ebitundibwa byawambibwa emyezi mukaaga emabega nga muno mwemuli engatto, ensawo, emisipi,…