Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Senyiga mulwanyisa na mazzi

Obadde okimanyi nti omuntu amala ennaku bbiri ng’anfunye ssenyiga kyokka nga talaga Senyiga omu ku mutendera guno oluusi abula ate n’adda omuntu n’ataggwaako lunyira Omusawo mu ddwaliro e Mulago Dr Charles Kasozi agamba nti senyiga w’ekika kino akwata abantu abalina ebizibu mu nyindo zaabwe naddala abo abasanga obuzibu mu kussa Dr Kasozi agamba nti senyiga bw’ati atera okuleeta…

Read More

Eddwaliro lye Kabale lyakutereezebwa

Minisitule y’ebyobulamu ewaddeyo ettaka okugenda okuzimbibwa leeba ku ddwaliro lye Kabale Akola ku by’obulwaliro mu minisitule y’ebyobulamu Dr Jacinto Amandua agamba nti omulimu gwakumala emyezi 14 Dr Amandua agambye nti gavumenti ya Japan yeeyabaddukiridde n’obuwumbi 370 okukola ku malwaliro agawera okuli n’erye Hoima ne Fortportal. Bano era baboongera obukadde 199 ez’okugula ebyuuma eby’okussa mu malwaliro gano Dokita alina essuubi…

Read More

Hepatitis B atabukidde abe Lango

Minisitule y’ebyobulamu ekakasizza ng’obulwadde bwa Hepatitis B bwebuzzeemu ate okutawaanya abe Lango Abayizi bana okuva ku ssomero lya Aduku Secondary School mu disitulikiti ye Apac beebamaze okukakasibwa okuba n’ekirwadde kino era nga bassiddwa mu nkambi yaabwe ku Aduku health center IV. Ku ntandikwa y’omwaka guno abantu bana beebafa obulwadde buno obwabalukawo mu disitulikiti ye Lira Abantu abalala abalina…

Read More

Kokoolo w’amabeere ekimusibyeewo butamanya

Obutamanya busongeddwaako ng’ensibuko y’obulwadde bwa kokoolo w’amabeere obweyongera buli lunaku Abali mu byobulamu bagamba nti abakyala bangi tebamanyi bikwata ku kokoolo wa mabeere ng’abasinga batuuka n’okugenda mu basawo b’ekinnansi mu kifo ky’okugenda mu malwaliro. Akulira ekibiina ekiyamba abakyala abalina kokoolo, Rebecca Mayengo agamba nti abakyala abali wakati we 300 ne 400 beebafuna kokoolo buli mwaka ate ng’abasinga…

Read More

Abagambibwa okuba abatujju baddiziddwaayo e Luzira

Abavunaanibwa ogw’obutujju 10 basindikiddwa ku alimanda e Luzira. Bano balabiseeko maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road  Simon Kintu abasindise mu mere okutuusa nga 23 October. Kino kiddiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Edward Muhumuza okutegeeza kkooti nga okunonyereza ku musango gw’abano bwekukyagenda maaso ku kitebe kya poliisi ekinonyereza ku misango e Kireka. 9 ku bano basomali nga kuliko…

Read More

Abajaasi ba Uganda 2 balumiziddwa

Abajaasi ba  UPDF 2 beebalumiziddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa mu Somalia nga amaggye gano gawamba ekibuga kya Barawe okuva eri abakambwe ba Al shabab olunaku olw’eggulo. Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olunaku olwaleero, omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Lt Col Paddy Ankunda ategegezezza nga bano bwebagenda okuddizibwa okwaboobwe essaawa yonna bajanjabibwe. Agamba nti okuwambibwa kw’ekibuga kino kitegeeza nti ebitundu…

Read More

Abayizi bateekedde enyumba omuliro

Abayizi b’essomero lya  Maliba Secondary School e Kasese batekedde ennyumba z’abatuuze 2 omuliro nga babalumiriza obulogo. Ssentebe wa disitulikiti eno  Robson Magoma agamba abayizi bano baasibidde nanyini nyumba emu mu nyumba n’oluvanyuma nebajiteekera omuliro wabula baliraanwa nebakuba enduulu eyatemezza ku poliisi etaasizza omukyaala ono. Awonye amagombe  ategerekese nga  Gladys Biira ow’emyaka  62.. Abayizi olulabye poliisi nebajikanyugira amayinja nga…

Read More

Ekirwadde kya Marburg kitabuse- abalala munaana bandiba nakyo

Ekirwadde ky’omusujja gwa Marburg kyongedde okutabuka ng’abantu 8 abasemberera eyafa ekirwadde kino nabo bafunye obubonero bw’ekirwadde kino. Minisitule y’eby’obulamu yasindise dda omusaayi gw’abantu bano okukeberebwa mu kitongole ekikebera endwadde enkambwe entebbe Ku 8 bano, 4 bava Mpigi, 2 Kasese n’abalala 2 okuva wano mu Kampala. Enteekateeka z’okwaawula 8 bano ku bantu abalala zigenda mu maaso okwewala ekirwadde kino…

Read More

Kkooti enaawozesa Kenyatta yetegese

Kkooti y’ensi yonna mu Kibuga Hague Omukulembeze w’eggwanga  lya Kenya Uhuru Kenyatta wakufuuka omukulembeze w’eggwanga asookedde ddala okulabikako mu kkooti y’ensi yonna mu kibuga Hague mu ggwanga lya Netherlands. Kkooti eno yakutwala ennaku bbiri nga etandika okuwulira omusango guno. Kenyatta avunaanibwa kutyoboola dembe lyabuntu mu kitta bantu ekyaliwo mu mwaka 2007 omwafiira bannakenya abasoba mu 1000. Bbo bannamateeka…

Read More

kasattiro mu spain lwa Ebola

Mu ggwanga lya Spain kasattiro oluvanyuma lw’omusawo omu okukwatibwa ekirwadde ekyefananyirizaako ekya Ebola Omusawo ono oli mu ddwlairo ekkulu  mu Kibuga Madrid yali yajjanjaba abalambuzi babiri abaafa ekirwadde kyekimu Yye omukulembeze w’eggwanga lya America Barrack Obama alangiridde enteekateek y’okwekebejja abo bonna abayingira eggwanga ly’akulira Abantu abakunukkiriza mu 3500 beebakafa ekirwadde kino mu bugwanjuba bwa Africa.

Read More