Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ogwa Sejusa gutandise

Okuwulira omusango oguvunanibwa abantu mukaaga abagambibwa okuvuunika gavumenti kutandise Ku bavunaanibwa kwekuli n’eyali akulira bambega b’amaggye Gen David Sejusa ne private Frank Ninsiima Ninsiima n’abalala bavunaanibwa kugezaako kuvuniika gavumenti nga bayita mu bikolwa by’ekko n’okusiiga gavumenti eziro Bano era bavunaanibwa gwakulya mu nsi yaabwe lukwe era ng’omusango guno ekibonerezo kyaagwo kalabba ssinga omuntu gumukka mu vvi Kigambibwa okuba nti…

Read More

abaana babikkiddwa ekizimbe

Abaana babiri bakubiddwa ekizimbe ekikadde nebafiirawo Bino bibadde bakasongola ng’abagenzi bategerekese nga Winnie Muduwa ow’emyaka omusanvu ne mwanyina Gift Nicholas. Ayogerera poliisi mu kitundu kino Lameck Kigozi atuubulidde nti enyumba esse abaana bano eri ku ttaka ly’amaggye nga lino lyafuumulwaako abantu abaali balyesenzaako Kigozi era awakanyizza ebigambibwa nti abaana bano bafudde amaggye gasengula abantu

Read More

Babakubye amasasi

Poliisi etandise okunonyereza ku bantu abatannaba kutegerekeka abalumbye abantu babiri nebabakuba amasasi ng’ensi eraba Bino bibadde mu kitundu kye Rwizi Mbarara ng’atwala okunonyerezza Jackson Tumwine akakasizza amawulire gano Abagenzi bategerekese nga Kasim Nsamba ne Saidat Nabukeera Tumwine agamba nti ababiri bano babadde batudde mu mmotoka, omuntu n’abasasirira amasasi n’oluvanyuma n’adduka Ab’enganda z’abagenzi bagambye nti Kasimu y’abadde avuga nga yakatuuka…

Read More

Abakyala bonna bakeberebwe kokoolo

Sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga ayagala kifuuke kya buwaze abakyala okukuberebwa kokoolo wa nabaana. Kadaga agamba nti eno y’engeri yokka ey’okulwanyisaamu ekirwadde kino. Sipiika agamba nti abakyala bangi batuuka mu ddwaliro kikereezi gyebigweera nga tewali kya kutaasa. Mu malwaliro ga gavumenti kokoolo ono akeberebwa bwereere kyokka nga mu malwaliro amalala abantu basasula Abakyala 2,464 beebafa mu Uganda buli…

Read More

Dr Rugunda alayiziddwa, amaggye geeganye okuketta Mbabazi

Ssabaminisita w’eggwanga omuggya Dr Ruhakana Rugunda  alayiziddwa mu butongole okukkakkalabye emirimu Ono alayiziddwa mu maka ga pulezidenti Entebbe, kumukolo ogwetabiddwaako pulezidenti, n’abenganda za Rugunda Rugunda yeeyamye okukwatagana obulungi ne ba minister okulaba nti emirimu gya gavumenti gitambula bulungi. Yye pulezidenti Museveni amwogeddeko ng’omusajja omuganzi era akimanyi nti emirimu ajja kugisobola Bino bibadde biri biti ate amaggye negawakanya ebigambibwa nti…

Read More

Akabenje e South Sudan- Emirambo gifunise

Kyaddaaki  abafiiriddwa abaabwe mu kabenje akaagudde e Nimule mu south sudan bafunye emirambo gy’abantu baabwe. kinajukirwa nti emirambo gino gyasooka kukandalirira mu kkubo olw’akiloole kya kampuni ya Bakulu coach okusooka okukwamira mu kkubo e Gulu. Gyebuvuddeko abantu ab’enjawulo bakedde kweyiwa ku ddwaliro ly’eMulago okukima emirambo gy’abantu baabwe egyatuuse akawungeezi akayise wabula nga bemulugunya olw’okulwawo okubaweebwa. 9 ku bantu…

Read More

Katikkiro abakakkanyizza- amasiro gajja kuggwa

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agumiza Obuganda ku mulimu gw’okuzimba amasiro ge Kasubi. Kino kidiridde abantu abenjawulo omuli  Nalinya w’amasiro Beatrice Namikka ne Katiro Ssalong George Mulumba okwemulungunya kungeri omuli guno gyegutambulamu. Okusinzira ku entekateka eyasooka enyumba ya Muzibu azzalampanga  yalina okumalirizibwa mu mwezi gwokusatu omwaka guno, kyoka n’okutuusa kati tenaserekabwa. Katikiro Mayiga agambye nti wadde ebisomooza…

Read More

Emotoka za gavumenti zakukwatibwa

Emotoka za gavumenti ezinaddamu okusangibwa nga zitambula okusukka ssaawa kkumi n’emu zakukwatibwa Aba’obuyinza e Namayingo bamaze okuyisa ekiteeso kino okukoma ku ba gavumenti abakozesa emmotoka zino mu byaabwe Omubaka wa pulezidenti e Namayingo Mpimbaza Hashaka, agamba nti emotoka nyingi zirabibwa mu bifo ebikyaamu ate nga n’obudde bwenyini bwayiseewo dda.

Read More

Abasomesa batabuse

Ekibiina ekigatta abasomesa kitegeezeza nga bwekitagenda kwetaba ku mukolo ogw’okuggulawo kibiina ky’obwegassi eky’abasomesa nga bano bagamba nti abategese emikolo gyino bagala kuwudiisa omukulembeze w’eggwanga. Kinajukirwa nti  minisituke y’ebyenjigiriza etegese okukyaaza omukulembeze w’eggwanga okuggulawo ekibiina ekigenda okufuna ezimu ku nsimbi obuwumbi obutaano pulezidenti zeyasuubiza abasomesa Akulira omukago gw’abasomesa James Tweheyo ,atubuulidde nti basazeewo okwebalama entekateeka zonna , kubanga …

Read More