Poliisi ewakanyizza ebigambibwa nti enonyereza kw’abadde ssabaminisita Amama Mbabazi3
Kiddiridde ebigambibwa nti poliisi ebadde enonyereza ku bigambibwa nti abavubuka ba NRM abeekalakaasa bawagirwa Mbabazi ono
Ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti poliisi terina nsonga lwaki enonyereza ku Mbabazi kubanga teri yamuwaabye
Kaihura wabula agamba nti basanyufu okubeera nga beebakuuma Mbabazi kubanga mukakafu nti bakumukuuma bulungi
Omuwendo gw’abatugiddwa akabenje akagudde okumpi n’ekibuga Juba gutuuse ku 35
Okusinziira ku ssentebe wa bannayuganda ababeera mu South Sudan, Nsubuga Mubiru , abasinga ku bano bafiiridde mu ddwaliro lye Juba olw’ebbula ly’omusaayi.
Abakoseddwa abalala abasoba mu 40 bakyajjanjabibwa
Mu bakoseddwa akabenje kano kubaddeko bannayuganda, bannakenya ne bannansi ba South Sudan.
Akabenje kano keetabiddwaamu baasi ya Bakulu etomeraganye ne ki…
Omukyala eyategeeza nga bweyali afunye ebbeere ery’okusatu okukendeeza ku basajja baali bamukwana kizuuliddwa nti yali alimba
Omukyala ono ebipya bimuzuuliddwaako nti aliko n’omwana omuto omuwala gweyali yaggalira mu nju ye olwo n’amukulusanya mu mukwano.
Omukyala ono Jasmine Tridevil kigambibw aokuba nti ebbeere ly’okusatu yalia sibyeewo ssibe era okumukebera ng’alina amabeera abiri ng’abakyala abalala
Alipoota afulumiziddwa ebibiina b’obwa nakyeewa eraga nti ababaka ba palamenti tebakoze mulimu gwaabwe ogw’okulondoola ebikolebwa gavumenti
Alipoota eraga nti bannayuganda abaweza ebitundu 18.6 ku kikumi bagamba nti ababaka bebalondoola nsansaanya ya gavumenti naddala abakulu mu gavumenti ne wofiisi zebatuulamu
Alipoota era eraga nti abantu ebitundu 50.4 ku kikumi balowooza nti ababaka bafuna omusaala munene nnyo bw’ogerageranya n’emirimu…
Abantu 16 beebafiiridde mu kabenje akagudde ku kyaalo Nistu kilomita nga 35 okutuuka mu kibuga Juba.
Akabenje kano keetabiddwamu baasi ya Bakulu coaches no. UAS, 073P ekonaganye ne Tuleera no, UAD, 300 E.
Tuleera eno ebadde ava mu ggwanga lya South Sudan okudda e Kampala ate nga Bakulu ebadde egenda mu kibuga Juba
Aomwogezi wa poliisi mu kitundu…
Omu ku basawo abakulembeddemu okujjanjaba abalina ekirwadde kya Ebola mu ggwanga lya Liberia assiddwa mu nkambi oluvanyuma lw’omuyambi we okufa ekirwadde kya Ebola
Minisita omubeezi akola ku byobulamu mu ggwanga lya Liberia agamba nti omusawo ono bamwawudde mu bantu kubanga yadde talina bubonero bwonna naye okwerinda kikulu
Ekibiina ky’ebyobulamu ekyensi yonna kigamba nti abantu abasoba mu 3000…
Gavumenti ng’eyita mu minisitule y’ebyobulamu eriko abasawo abakugu 3 b’ewerezza okukola mu ddwaliro ekkulu e Mubende.
Abasawo abawerezeddwa mwemuli omukugu mu ndwadde z’amagumba,omukugu mu kunonyereza ku ndwadde ez’enjawulo saako n’omukugu wa x ray.
Akulira eddwaliro lino Dr Edward Nkurunziza ategezezza nga bwebatabadde na bakugu bano ekibadde kivirako emirimo gy’eddwaliro obutatambula bulungi ng’abalwadde abasinga basindikibwa Mulago.
Ssentebe wa disitulikiti…
Kazambi ayanjadde ku ddwaliro lye Nebbi ekireese okutya nti abalwadde ate bandyeyongera okulwaala
Kazambi ono era akulukuta butereevu okutuuka mu mugga Nyacara ate nga guno abantu gwebasenamu amazzi.
Omudumu gwa Kazambi ogwaabise gwaddabirizibwa emyaka esatu emabega nga gumase emyaka ebiri nga guli mbeera eno.
Omu ku batuuze ku kyaalo Aksi e Nebbi Esther Masendi agamba nti olw’obwaavu ng’abantu…
Kyaddaaki essomero lya Namwaya primary school mu disitulikiti ye Tororo lifunye kaabuyonjo.
Kino kiddiridde Olupapula lwa Daily Monitor okufulumya eggulire ery’omwana wa primary one okukalira mu ssentebe wa diditulikiti eno lwassomero lye butaba na kabuyonjo.
Messy Omalla yeewunyisa buli omu ku paleedi y’essomero bweyesimbye butoogo maaso ga ssentebe wamubuuza lwaki basoma nga tebalina kabuyonjo.
Ssentebe Emmanuel Osuna yasuubiza…
Abaziyiza wamu n’okulabula poliisi ku buzzi bw’emisango gwonna abasoba mu 1,200 ssibasanyufu n’engeri gyebaasibiddwamu .
Okwemulugunya kuno baakukoledde ku matikira gaabwe mu disitulikiti eye Ngora.
Bano ssibasanyufu olw’obutasasulwa nsimbi yonna oluvanyuma lw’emyezi esatu nga batendekebwa.
Yye aduumira poliisi y’e Ngora Emmanuel Mafundo abaanukudde nga eky’okubasasula bwekitaatekebwa munkola.
Mungeri yeemu omu ku baatikiddwa Agnes Akiror agamba yali asuubira okufuna certificate…