Entiisa ebuutikidde ku kyaalo Kyakadaali mu gombolola ye Kitenga Mubende,omwana bw’agudde mu luzzi n’afirawo.
Omwana afudde ye Justine Nakaweesi wa myaka munaana
Nakaweesi abadde ne banne basatu nga bagenze okusena amazzi wabula ono mu kusena aseeredde n’agwa mu luzzi.
Banne badduse mangu okuyita taata waabwe Joseph Serugo n’abatuuze kyokka nga basanze omwana ono amaze okufa
Akulira ba mbega ba…
Poliisi e Mubende eri ku muyiggo gw’abatemu abateeze owa Bodaboda nebamukuba enyondo nebamutta olwonebakuulita ne pikipiki ye
Ettemu lino libadde ku kyaalo mugungulumu mu Gombolola ye Bageza e Mubende.
Omugenzi ye Gadi Muyimbise nga wa myaka 30
Omulambo gw’omugenzi gulabiddwa abatuuze ababadde bagenda mu nnimiro nga gusangiddwa nga gugangalamye mu kitaba ky’omusaayi
Poliisi omulambo egujeewo n’egutwala mu ddwaliro ekkulu…
Gavumenti mu ggwanga lya bufaransa eyanjizza enteekateeka y’omuggundu mw’egenda okuyita okulwanyisa omuze gw’okufuuweeta sigala
Bano bagenda kukaka abakola sigala okumussaako ebigambo beimulabula abamunywa n’okusomesa abavubuka
Mu ggwanga lya Bufaransa , abavubuka beebasinga okukozesa sigala era nga bangi ate bamufuuweetera mu kinyumu
Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga lya Bufaransa Marisol Touraine agamba nti bagenda kukoppa ebyakolebwa gavumenti ya Australia mu…
Abazadde bajjukiziddwa ku bulungi bw’okuwa abaana baabwe emmere erimu ebiriisa byonna nga bawezezza emyezi mukaaga
Omusawo w’abaana mu ddwaliro lya MildMay Dr Jane Kaweesi agamba nti abakyala abasinga naddala abasoose okuzaala bagaana okuwa abaana baabwe emmere yadde nga bawezezza emyezi mukaaga kale nga baba babakotoggera.
Dr.Nakaweesi agamba emmere kikulu nnyo mu kuzimba omubiri.
Ebyuuma ebifafaafa mu ddwaliro e Mulago byakulongosebwa kati mu bwangu
Ekitongole ekikola ku ndwadde ezibuna amangu kifunye emmotoka eriko buno byuuma ebikozesebwa mu kulabirira ebyuuma by’eddwaliro.
Akulira ekitongole kino Alex Cotino agamba nti emmotoka eno ebalirirwaamu obukadde 600 yakuyamba mu kulongoosa ebyobulamu kubanga ebyuuma bija kuba bikola bulungi
Yye akulira ekkolero lye Wabigalo central maintenance Eng. Sam Wanda…
Pulezidenti Museveni wakwanirizibwa nambuutu oluvanyuma lw’okulonda Ssabaminisita omujja .
Abawagizi ba NRM e Wakiso ne Kampala wowulirira bino nga bategekedde omukulembeze w’eggwanga akabaga olw’okubalondera Dr.Ruhakana Rugunda nga ssabaminisita omujja oluvanyuma lw’okufuumula Amama Mbabazi.
Nga bakulembeddwamu ssentebe w'abavuibuka ba NRM e Wakiso Andrew Kiryoowa, ekibinja ky’abantu bano bakukanganira ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe okwaniriza pulezidenti nga ava mu Kibua…
Amaggye ga UPDF gategezezza nga bwegalwawo okujjayo abajaasi baago ababadde bakuuma eyali ssabaminisita Amama Mbabazi.
Olunaku olw’eggulo amaggye gaggyeyo abajaasi baago mu maka ga Mbabazi e Kololo n’asigaza abaserikale ba poliisi abakuuma abantu b’ebitiibwa.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olunaku olwaleero, ssabadumizi w’amaggye g’eggwannga Gen Katumba Wamala ategezezza nga bwewatali kyanjawulo kwekyo ekyakoledwa.
Awadde eky’okulabirako nga muk’omukulembeze w’eggwanga naye…
Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga agamba nti Buganda Lwazi, si nva ndiirwa nti ejja kuwotoka.
Kamalabyonna bino abyogedde ayogera eri abantu be saabagabo mu kufundikira okusolooza ettofaali.
Katikkiro agambye nti waliwo abantu abalemesa ettofaali nga balyogerera naye nga terivudde kati kubanga ne bajjajja ffe basaasulanga envujjo
Bino nno agamba nti tebijja kumuyigula ttama nga omulimu gwe…
Palamenti ekubiddwa mu mbuga z’amateeka lw’ababaka okwebulankanya mu kuyisa etteeka ku bisiyaga nga 20 December omwaka oguwedde
Etteeka lino lyasazibwamu kkooti lwababaka abaaliyisa okuba nga baali tebawera bassalira.
Peter Nalonda nga Yinginiya era omu ku baziyiza obuzzi bw’emisango ku kyalo Kirombe Butabika mu division ye Nakawa ayagala Kkooti eyimirize gavumenti okukozesa ensimbi y’omuwi w’omusolo okusasula abaawaaba omusango…
Abantu abalina obulemu ku mibiri gyaabwe bakyasanga obuzibu bwa maanyi okufuna obuyambi okuva mu bibiina by’obwegassi
Okusinziira ku kibiina ekikola ku bantu b’ekika kino, abawerera ddala emitwalo 20 beebatayambibwa
Akulira ekibiina kino Edison Ngirabakunzi, agamba nti amagoba agasabwa ebibiina bino nago gali waggulu nga bangi tebagasobola.
Kuno kw’ossa n’emisingo egisabwa olwo nebalekebwa emabbali