Abantu mu nsi abalina ebizibu bangi naye ebizibu ate era bikirana
Mu ggwanga lya Bungereza waliwo omusajja ng’atuuka ku ntikko emirundi egisoba mu 100 olunaku
Obuzibu buno tebumutandise kati nga bwamuva mu mwaka gwa 2012 nga bwaava ku buvune bweyafuna ku mugongo
Omusajja ono agambye nti embeera abadde ajja agimanyiira kyokka ekyasinze okumuluma kwekubeera ng’ali mu kuziika kitaawe…
Tiimu ya Manchester United ekyetaaga okusasanya obukadde bwa pawunda 100 ku bazannyi bw’eba nga yakuwangula ku bikopo omuli n’ekya pulimiya
Bino byogeddwa eyali omuzibizi Phil Neville
United yakubiddwa Leiceister city goolo 5 nga yyo erina ssatu ku lunaku lw’omukaaga
Omuzikiti oguwagira ebisiyaga ogusookedde ddala okuggulawaawo mu ggwanga lya South Africa guggaddwa
Omuzikiti guno gubadde kukkiriza abakyala okukulmeberamu esswala
Omu ku ba kansala ku Lukiiko oluddukanya ekibuga Cape Town ategeezezza nti omuzikiti guno bagugadde kubanga tegulina paakingi emala.
Omuzikiti guno gwaggulwaawo wakati mu kwemulugunya okuva eri abayisiraamu abategeeza nti kuno kwaali kubayisaamu maaso.
Omuwendo gw’abantu abatabufu b’emitwe beyongedde mu ggwanga
Akulira ekiwayi ekikola ku balwadde b’emitwe mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Sheila Ndyanabangi agamba nti wakati w’omwaka 2009 ne 2012, abantu omutwalo gumu mu kasanvu beebalina ebizibu ku bwongo .
Dr.Ndyanabangi agamba nti kino kisinze kuva ku mbeera etali nyangu kweyimirizaawo, enkulakulana n’obukubagano mu maka.
Dr.Ndyanabangi ategeezezza nti abantu balowooza nnyo ku…
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyaalo Apoli mu disitulikiti ye Lamwo abaana babiri bwebakubiddwa amasanyalaze neebafiirawo.
Abaana bano amasanyalaze agabakubye babadde ku kyuuma ekikuba ebinyeebwa
Kigambibwa okuba nti abaana bano babadde bazannyira mu nkuba era olwavuddeyo nebakwata ku kyuuma ekyabaddeko amasanyalaze negabakanula
Aduumira poliisi ye Lamwo Kimera Seguya, agambye nti babategeezezza mangu nga tewali yaakutte ku baana bano era…
Abatuuze mu disitulikiti ye Nwooya baakeredde mu maziga oluvanyuma lw’omu ku batuuze okutta mukyala we n’omwana naye neyetta.
Simon Opiyo ow’emyaka 22 asse mukyala we ow’emyaka 19 ategerekese nga Prossy Adoch ne bebi waabwe ow’omwaka ogumu.
Omusajja ono okutta mukyala we kigambibwa nti akozesezza nyondo gy’abakubye mu mutwe
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Aswa Jimmy Patrick Okema…
Ebitongole bya poliisi ebitali mu olwaleero byolesezza kyebirinawo eri abantu
Ebitongole bino era byogedde eria bantu butereevu
Ng’ayogerako eri bannamawulire, akulira poliisi ekolera mu bantu, Stephen Musoke agambye nti kino kigendererddwaamu kumala luwonko wakati w’abantu ne poliisi
Anyonyodde nti bino byonna babikola nga bateekateeka okukuza nga bwegiweze emyaka 100 bukyanga batandikawo.
Nga twogera ku poliisi okudda mu bantu, e…
Omukyala eyatomera bba n'amutta,Jackline Uwera Nsenga asibiddwa emyaka 20.
Omulamuzi Duncan Gaswaga agambye nti ekibonerezo awadde kitonotono kubanga yeetonze.
Omukyala ono nga tebannamusalira kibonerezo akulukusizza amazga n'asaba aba famire ya bba ne kkooti bamusonyiwe kubanga teyagenderera.
Omukyala ono agambye nti bukubagaano mu aka bwebuvaako embeera eno
Palamenti olweggulo lwa leero esuubirwa okukakasa Dr.Ruhakana Rugunda ku bwa ssabaminisita bw’eggwanga.
Rugunda yalondebwa pulezidenti Museveni olwokutaano oluwedde nga yazze mu bigere bya Amama Mbabazi .
Rugunda y’abadde minisita w’ebyobulamu nga yye ekifo kye tekinafunibwamu musika.
Akawayiro namba 108 mu ssemateeka kakilambika nga omuntu alondeddwa ku bwa ssbaminisita bweyeteega ababaka abasamusaamu okumukakasa ku kifo kino.
Amyuka loodimeeya w’ekibug Sulaiman Kidandala awakanyizza ebigambibwa nti ayagala kusigukulula mukama we
Kidandala era avumiridde engeri Erias Lukwago gyeyamugobyeemu ku bwa loodimeeya
Kidandala agambye nti ky’aliko mu kadde kano kwekutaasa ofiisi ye ng’ayita mu mateeka n’okuteesa
Lukwago yagoba Kidandala ssabiiti ewedde ng’alanga kumuyita mabega n’akukuta ne NRM
Bbo nno na bakansala mu KCCA bagamba nti tebajja kukkiriza byakoleddwa Lukwago…