Okubalukawo kwa Poliyo mu mawanga agaliraanye Uganda okuli Somalia, Central African republic ne Mu Kenya kwandikosa olutalo ku bulwadde buno mu uganda
Okusinziira ku musawo omukugu okuva mu minisitule y’ebyobulamu Dr Bakyaita Basajja Tebadiba, obulwadde buno bwandituuka ne wano olw’ensalo ezitaliiko nnyo natti
Dr Bakyaita agamba nti Uganda yeewa omwaka gwa 2018 okubeera ng’obulwadde buno buweddewo kyokka…
Poliisi ezinzeeko woteeri ya Serena n’ewamba ebipande ebibadde bisuuliddwa wabweru nga kuliko ebigambo ebigamba nti enkyukakyuka ejja.
Tekinamanyika wa bipande bino gyebivudde era ani abikubye.
Aduumira poliisi ya CPS Henry Kintu agmba okunonyereza kwatandise dda.
Omukyala eyatomera bba n’amutta asingisiddwa omusango gw’ettemu
Omulamuzi Duncan Gaswaga agambye nti abantu bakozesa ebissi ebitali bimu okumaza banaabwe emmere nga ne kuluno Uwera yakozesa motoka.
Omulamuzi Gaswaga era agamba nti ebigambo by’omugenzi Juvenile Nsenga ng’akyaali mu ddwaliro lya Paragon Hospital nti mukyala we yali amusse bikulu nnyo
Agenze mu maaso n’ategeeza nti eky’omugenzi okugoba mukyala we mu…
Abayizi mu ggwanga lya Hongkong bazize okugenda mu bibiina okumala wiiki namba nga bawakanya eky’eggwanga lya China okugaana ennongosereza mu mateeka g’eby’okulonda mu ggwanga klino.
Enkumi n’enkumi z’abayizi okwetolola eggwanga lino baweze obutalinya mu kibiina wakati mu kwekalakaasa.
Gavumenti ya China yagaaanye okusunsula abaneetaba ku bukulembeze bw’ekibuga kino ekinyiizizza ennyo abatuuze..
Abayizi bano era abategese enkungaana mu bifo…
Okujjako nga amateeka gateekeddwawo, abawala abatoabagyamu embuto mu ggwanga baakweyongera.
Alipoota y’ekibiina ekinonyereza ku by’obulamu ekya White Ribbon Alliance yalaze nga abakyaala abafiira mu ssanya bwebeyongedde okuva ku 16 okutuuka ku 17 buli lunaku.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta ababaka abakyaala Betty Amongi agamba abawala abafuna embuto nga tebaneetuuka bebavuddeko abakyaala abafiira mu ssanya okweyongera.
Ono agamba minisitule y’ebyobulamu esaana…
Poliisi ye Lukaya mu disitulikiti ye Kalungu eriko omusajja gwekutte nga yeyita omukozi mu maka g’omukulembeze w’eggwanga.
Ismail Ssentamu omutuuze mu Lukya Tawuni Kanso akwatiddwa nga agezaako okukwata abasawo b’ekinanasi obujega okubagyako ensimbi mu lukujjukuju.
Ono abadde asuubiza abasawo b’ekinanasi okubawandiisa mu kibiina ekigatta abasawo b’ekinanasi mu ggwanga.
Norah Nakuya nga ye ssentebe w’ekibiina ekigatta abasawo b’ekinanasi mu…
Abantu abasoba mu bitaano abeewayo oluvanyuma lw’obulumbaganyi obwakolebwa mu bitundu bye Rwenzori baweereddwa ekisonyiwo oluvanyuma lw’emyeezi 3 nga babudabudibwa.
Kino kibukuddwa ssenkagale wa poliisi y’eggwanga Gen Kale Kayihura bwabadde ayogerako eri abavubuka mu disitulikiti ye Kasese.
Ebitaani bano beewaayo eri ab’obuyinza nga omu yye yafudde mu kiseera ky’okubudabudibwa n’abalala 3 abaafuna ebisago mu kulwanagana.
Abantu abasoba mu 100…
Abagoba ba Taxi mu kibuga basazeewo okuddayo buto eri ssabapoliisi Gen Kale Kaihura ku nsonga z’emmotoka zaabwe ezaboyebwa
Okwemulugunya kwaabwe kuddiridde okuboyebwa kwa taxi eziwera lwabutasasula fayini.
SSentebe w’abagoba ba Taxi ne ba kondakita, Mustapaha Mayambala agamba nti batuuka ku ndagaano ne KCCA okubaddiza taxi zaabwe kyokka nga aba KCCA bakyagaanye nga bali wamu ne poliisi.
Omwezi oguwedde,…
Abanyaga abagoba ba bodaboda bongedde okutabuka nga bongedde okunyweeza.
Bano kati bakozesa emisumalai emiwanvu okukuba mu mitwe gy’abo beebanyaga
Jimmy Mujuzi akolera e Namasuba alozezza ku bukambwe bwa bano bwebamusabye ssente nga tazirina
Mujuzi nga mugoba wa bodaboda, bamubazizza nga yakasimba piki ye w’esuula nebamuzingako era awo nebamukuba omusumaali mu mutwe
Omusajja ono ali mu ddwaliro e Mulago ng\ababe…
Bana kibiina kya Democratic Party balabudde government okwewala okutulugunya abadde Prime Minister Amama Mbabazi singa nesimbawo ku bwa president mu mwaka gwa 2016.
Muna mateeka wa Fred Mukasa Mbidde agambye nti government eyinza okukozesa akakisa kano okusiba ku Mbabazi emisango sango okusobola okumulemesa okwesimbawo mu 2016.
Wabula Mbidde asabye Mbabazi okuvaayo ngabukyali ategeze eggwanga wa wayimiridde ku…