Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abagaala okuva ku buseegu-wuuno

Abantu bangi abanyumirwa okulaba obuseegu nga bwebatakikola bajula okufa Kati mu Kibuga Newyork waliwo omukyala atandise kkampuni eyamba abantu b’ekika kino okuva ku buseegu. Ekyewunyisa nti omukyala ono Sarah white akweyambulira n’omutunuulira nga bweyakola obusolosolo Omukyala ono nga mubalagavu muzibu era ayamba n’abalina ebizibu mu mukwano Ba kasitoma asinze kufuna basajja

Read More

Tiimu y’abato etendeka

Tiimu ya Uganda eyabato abali wansi wemyaka 17 eddamu okutendekebwa akawungeezi ka leero e’Namboole nga yetegekera omupiira ogwokudingana ne Zambia week ejja mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa Under 17 omwaka ogujja mugwanga lya Niger. Zambia yakuba Uganda goals 2-0 weeke ewedde wabula wetwogerera nga Uganda yawaabye dda mu CAF alwa Zambia okuzanyisa abazannyi abakulu. Omupiira ogwokudingana Fufa…

Read More

Omuwendo gw’abafiira mu sanya gweyongedde

Ekigendererwa ky’ekyaasa eky’okukendeeza omuwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya kyandigaana okutuukirira Abali mu byobulamu bagamba nti ng’ebulayo omwaka gumu gwokka nsalessale atuuke, abakyala abafa nga bazaala kati batuuse ne ku 17 okuva ku 16 ababadde bamanyiddwa Omukugu mu by’empuliganya mu kibiina kya White Ribbon Alliance Faridah Luyiga agamba omuwendo gw’abakyala abafa bakyaali bangi nga wabaddewo okwesiba mu kukendeeza…

Read More

Abaalya abantu basigadde mu nkomyo

Abagambibwa okulya abantu e Rakai bagaaniddwa okweyimirirwa Asaf Tumuhimbise ow’emyaka 50 ne mukyala Nuwaga 28 basigaddeyo mu kkomera ku biragiro by’omulamuzi Margaret Oumo Oguli. Baali basaba nti beyimirirwe kubanga balwaddelwadde nga tebasobola mbeera ya kkomera Tumuhimbise ategeezezza kkooti nti n’emyaka alina mingi ng’alina Asima kale mu kkomera tasobola kufunayo buyambi Yye omukyala yategeezezza nti abadde ali mu nsonga okumala…

Read More

Temwemulugunya nga mugaana okulonda- Kadaga

Nga Uganda yegatta kunsi yonna okukuzza olunaku lwa Democracy mu Uganda, abalonzi balabudwa okwevuma abakulembe bebalina, songa benyini bebagaana okwenyigira mukulonda. Kuno okulabula kukoledwa speaker wa uganda , Rebecca Kadaga bwabade agulawo emikolo  emikulo egy’okukuzza olunaku luno. Kadaaga akaladde, nategeeza nga abalonzi bwebatasaana kudamu kunyega ku nsonga  z’abakulembeze abatatuukirizza mirimo gyabe, songa benyini bwebatuuka mukadde k’okulonda tebalabikako. Ono…

Read More

Kaihura atabukidde abawa amawulire ku butujju

Ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura ayisizza okulabula eri aba poliisi obutaddamu kufulumya mawulire ku bikwekweto ebikolebwa ku batujju Obubaka buno busindikiddwa ku poliisi zonna era ng’anavvoola ekiragiro kino wakubonerezebwa Kaihura agamba nti omwogezi wa poliisi yekka y’akkirizibwa okuwa amawulire. Bino bizze nga poliisi ky’ejje ekwate abantu 19 abagambibwa okuba nga babadde bategese okulumba Uganda Bino byaaliwo ku lunaku…

Read More

KCCA etabukidde abamenya amateeka, ab’enviiri basibiddwa

Abasajja bibiri abasuula kasaasiro mu luguudo batanziddwa emitwalo 90 buli omu. Francis Mukiibi  nga mukungaanya wa Kasasiro ne Moses Mugula nga bonna babeera Bakuli basimbiddwa mu maaso ka kkooti ya Cityhall ebasalidde ekibonerezo. Ababiri bano baggulwaako misango gyakufuuna byeneena n’okujamawaza ekibuga Okuvaako era mu kkooti yeemu, omukyala w’emyaka asatu asibiddwa wiiki ssatu lwakuyingirira ddembe lya balala. Prossy Namutebi naye…

Read More

Eyekubizza ebifananyi n’omulambo talina mulimu

Kati buli Muntu alina okuwa omulimu gwe ekitiibwa anti gwegumuyimirizaawo. Mu ggwanga lya Spain omusimuzi w’abafu ayimiriziddwa ku mulimu lwakutyobola ddembe ly’abafu oluvanyuma lw’okusimulayo omulambo neyekubya nagwo ekifaananyi ebifaananyi. Omusajja ono ategerekeseko erya  Clemente,olwamaze okusimulayo omugenzi ebifaananyi nebiruma . Yabadde aweereddewa omulimu gw’okugaziya ku ntaana y’omugenzi.

Read More

Mwerinda amataba- Enkuba egoyezza abe Luweero

Gavumenti erabudde ng'amataba bwegakyazingako eggwanga olw’enkuba ekyafudemba. Minisita omubeezi owa minisitule y’ebigwa tebiraze n’ebibamba Musa Ecweru agamba yyo enkuba ekyatonya okutuusiza ddala mu December. Bino minisita yabyogedde awaayo obuyambi eri abantu abakoseddwa amataba ku kyaalo Tajar village mu disitulikiti ye Bukedia. Eno amayumba, amasomero n’amalwaliro agamu gabikiddwa amazzi nga era abayizi banji bali waka bakuba misota nga tebagenda…

Read More