Amagye ga AMISOM e Somalia
Mu Somalia amagye ga AMISOM gawambye ebibuga bisatu, nga bino bibadde bikajjademu bayeekera ba Al-shabaab.
Akolanga omubaka ow’enjawulo ow’akakiiko ka Africa mu Somalia omukyala Lydia Wanayoto, agambye nti ebibuga ebiwambidwa kuliko ekya Bulo Barer ,Goolweyn ne Jerlio.
Bino okuwambibwa kidiridde ekikwekweto ekya Operation Indian Ocean okutongozebwa gyebuvudeko.
Agavaayo gooleka nga bino ebibuga bwebibade bikolanga oluggi…
Minisita omubeezi akola ku kikula ky’abantu kko n’ebyobuwangwa Hajjati Rukia Nakadama, azeemu okukunga banna-Uganda bonna okukomya okusosola abantu abalina obulemu ku mibiri gyabwe nadala abalema.
Minisita agambye nti ebiseera ebisinga okusosola abantu nga bano kuviira dala waka, mumasomero pakka mubantu babulijjo.
Ono kaakano akaladde, nategeeza nti amateeka amakakali gagya, era nga buli anaakwatibwanga wakuvunaanibwa.
Omulwadde w'envuza
E Busoga government esabidwa okuwa abatuuze ente balunde, kino kibayambe okuzigyamu obusa obunaagoba envunza mukitundu kyabwe.
Bino byogedwa omubaka Beatrice Rusaniya akiikirira e kitundu ekya Kiruhura.
Ono agambye nti ,nga ogyeko abatuuze okufuna amata mu nte zino, bagenda kugyamu obusa bwebanaamaala mumayumba gaabwe okugoba enfuufu omuzaalira envunza
Kati ono ayagala government eky’okubawa ente ekibayambe, bbo ogw’okumaala gubeere…
Taxi mu Kampala
Kyadaaki ekitongole kya KCCA kko n’abavuzi ba taxi mu Kampala, batandise okuteeka munkola ebyasalibwawo mu lukiiko olw’amalawo okwekalakaasa sabiiti ewedde.
Kinajukirwa nti bano baasalawo okutondawo olukiiko lw’abantu 20, nga luliko ababaka okuvva kunjuyi zonna , nga luno lwelugenda okutegeka okulonda mu banga lya myezi gumu gwokka.
Mustafa Mayambala nga ono yakullira ekibiina ekigatta abagoba ba taxi…
Katikkiro w’eggwanga lya Lesitu addukidde mu ggwanga lya South Africa ng’agamba nti obulamu bwe buli mu matigga
Thomas Thabane agambye nti agudde mu lukwe lw’amaggye okumumaza emmere era nga tajja kuddayo okutuusa ng’akakasizza nti obulabe bwe tebuli mu buzibu
Amawulire agava mu Lesitu galaga nti ekibuga ekikulu Maseru kyo kikkakkanyemu oluvanyuma lw’abajaasi okwezza ebizimbe ebiwera
Kaliisoliiso wa gavumenti omukyala Irene Mulyagonja agamba nti olutalo ku nguzi terusaanye kuyingizibwaamu byabufuzi
Ng’awayaamu ne Dembe FM, Mulyagonja agambye nti wofiisi ye ye nnetegefu okunonyereza ku buli kika kya nguzi awatali kittira Muntu ku liiso kyokka nga tatuukirira
Agambye nti abantu bangi bamala googera nti kaliisoliiso atya abanene naye nga teri yali awaddeyo kwemulugunya mu butongole.
Bw’atuuse…
Omuntu omu yafudde n’abalala 25 nebalumizibwa mu bubenje bubiri obwenjawulo mu ggwanga lya South Sudan
Aduumira poliisi mu bukiikakkono bw’eggwanga Wislon Kwanya agamba nti akabenje akasoose kabadde mu kifo ekimanyiddwa nga Golden Hill kilomita nga 15 okuva e Nimule
Kano keetabiddwaamu baasi ba Baby coach eremeredde omugoba waayo neyevulungula abantu 25 nebalumizibwa
Akabenje ak’okubiri kko keetabiddwaamu baasi ba…
Abantu abamu baaba tebafiirwa
Omukyala abadde anuuna ice cream ekinyonyi nekimuwalukako tayimirizaamu asigadde anuuna
Bino bibadde mu ggwanga lya New Zealand
Omuwala ono ekyewunyisa takyusizza yadde ne ku feesi okulaga oba kalimbwe abadde akaawa ekiraga nti awoomeddwa
Poliisi e Bukomansimbi ekutte omusajja akubye omu ku babala abantu lwa kwogera na mukyala we
Vincent Dumba y’alumbye Sulaiman Ssezibwa.
SSezzibwa agamba nti Dumba amusanze ayogera ne mukyala we ng’amubuuza ebibuuzo wano n’atandikidde okuyomba n’okumubuuza lwaki abadde abala abantu be.
Amulagidde okuyuza by’abadde awandiise n’agaana eta bw’atyo n’amukwatira ejjambiya olwo musajja wattu n’adduka okutaasa obulamu bwe
SSentebe we ggombolola…
Baasi ya safari coaches esabaadde abayizi ba Kasasa sss ababadde bakuba bandi.
Abayizi bano babadde ku bikujjuko bya poliisi eby’okuweza emyaka 100 .
Akabenje kano kabadde mu kitundu kye Bajja nga dereeva wa baasi eno amaze okukwatibwa
Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo bwa Buganda Noah Sserunjogi agamba nti abayizi bana beebalumiziddwa mu kabenje kano
Serunjogi agamba nti omugoba wa…