Omuyizi eyaddukira mu kkooti olw’okumumma okukola amateeka e Makerere afunye akaseko ku matama.
Omulamuzi wa kkooti enkulu Yasin Nyanzi alagidde abe Makerere mu bwangu okuwa Jonny Murungi ekifo kubanga yatuukiriza gavumenti byonna by’eyagala
Omuvubuka ono nga yali asomera Naalya SSS yawaaba abe Makerere lwakumumma koosi y’amateeka ate nga yayita ebigezo byonna kyokka nebamuwaamu byabusuubuzi
Abe…
Abatunda emmere abasoba mu 15 beebayoleddwa mu kibuga olunaku lwaleero
Amyuka omwogezi wa KCCA, Robert Kalumb agamba nti abakyala bano bakwatiddwa lyakukolera mu bifo bijama
Kalumba agambye nti bagaala abantu bano bave mu bifo ebikyaamu kubanga kati babateerawo obutale
Bino bizze nga KCCA era yakaggala emidaala egitunda emmere egisoba mu 200 mu bitundu bye Kinnamwandu, Arua Paaka ne…
Gavumenti efunye yiika z’ettaka 2,800 okusengulirako abantu ababeera ku nsozi za Elgon
Ettaka lino liridde obuwumbi munaana era nga lifuniddwa mu bitundu bye Bunambutye e Bulambuli
Minisita akola ku bigwabitalaze, Hillary onek agambye nti balina essuubi nti ettaka lino lijaako abantu abasoba mu lukumi abayinza okubikkibwa ettaka
Buli maka gakufuna yiika bbiri n’ekitundu okulimirako
Ettaka lyakoma okubumbulukuka ku lusozi…
Ensimbi ezitamala zikyamesezza enteekateeka z’okutumbula empereeza ey’omulembe eri abalwadde mu ddwaliro lye Masaka
Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku mbalirira y’ensimbi z’omuwi w’omusolo, addukanya eddwaliro lye Masaka , Dr Florence Tugumisirize agambye nti wadde balina abalwadde bangi, ebikozesebwa bitono nga n’abakozi batono
Tugumisirize agambye ku basawo 30 beebetaaga, balinako 10 bokka
Ateeezezza nti oluusi babulwa n’ezisasula amazzi…
Muyizi tasubwa wa Manchester United Wayne Rooney alondeddwa nga kaputeni wa Bungereza omudda
Rooney ow’emyaka 28 alondeddwa omutendesi wa Bungereza Roy Hodgson.
Ono azze mu kifo kya munna Liverpool, Steven Gerrard eyalekulira oluvanyuma lwa Bungereza okuwandulwa mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna
Rooney yakateeba goolo 40 mu mipiira 95 gyeyakasamba nga ne mu United, era yalondebwa okubeera Kaputeni omutendesi…
Abasawo bakola kyonna ekisoboka okutaasa omwana eyazaaliddwa me feesi bbiri mu ggwanga lya Buyindi
Omwana ono yazaalibwa nga 22 omwezi guno era ng’embeera gy’alimu ssi ya bulijjo
Omwana w’ekika kino tatera kuzaalibwa nga mu buli baana emitwalo 10 omu y’azaalibwa era nga mu nsi yonna, abaana b’ekika kino 36 beebakazaalibwa kyokka nga teri yali alamye
Omwana ono alina…
Wetwogerera nga kubala abantu kusaasanidde eggwanga lyonna, era nga enteekateeka zonna zigenda bukwakku mu buli kasonda ka ggwanga.
Pulezidenti Museveni y'asoose okubalibwa
Mu bitundu ebye Busoga , mu disitulikiti ye Kamuli okubala abantu kutandikidde mu lubiri lwa kyabazinga omuggya e Gabula.
Twogedeko ne sentebe wa disitulikiti eno Matia Lwanga Bwanika n'atutegeeza nti abantu bajumbidde okubalibwa, era nga mpaawo…
Eggwanga lisuze bulindala ng’okutandika okubala abantu kutandika olunaku olw’enkya.
Okubala abantu kutandika kwakumala enaku 10 era nga government erabudde abo abanagaana okubalibwa nti bakuvunanibwa.
Byo ebyokwerinda biywezeddwa okwetolola eggwanga lyona.
Minister w’obutebenkevu mu ggwanga Muluuli Mukasa, agambye nti mu district omuli obutalli butebenkevu, nga e Yumbe , ababala abantu bakuwerekerwa poliisi.
Sim card
Kooti eragidde abakozi ba kampuni ya MTN 2 bakwatibwa lwakunyaga ensimbi z’abantu obukadde 2.3 okuva kumukutu gwa mobile money.
Muhammed Kajubi ne Alex Munyambabazi era bavunaniddwa okugala emikutu gya Mobile money mu bukyamu ngabayambibwako banabwe okuli Denis Kagabo, Rogers Maliga ne Atim Harriet a omuyizi mu ntendekero lye Makerere.
Kigambibwa wakati wa November 2012 ne December…
Abasiramu nga basaala
Abakulembeze b’abayisiramu batandise kawefube owokukyusa mu Ssemateeka afuga ediini y’obuyisiramu.
Kino kidiridde akakiiko akakulira Prof, Tasis Kabwegyere akatekebwawo okutawuluza enkayana mu basiramu okulagira okukola ssemateeka omujja okulambika ediini y’obusiramu.
Amyuka supreme Mufti we Kibuli Sheikh Muhamound Kibaate agambye nti ebiwali byombi ekye Kibuli ne Old Kampala byakuleeta abantu kikumi kikumi, okukola ssemateeka omujja.
Kibaate agambye nti…